By using this site, you agree to the Privacy Policy and Terms of Use.
Accept
Musiclyfer
  • Music
  • Lyrics
  • News
  • Biography
  • Trash
  • Upload
Musiclyfer
Search
  • Music
  • Lyrics
  • News
  • Biography
  • Trash
  • Upload
Follow US
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Tip Us
© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.
Lyrics

Obusika Lyrics by Herman Basudde

lyfer
Last updated: 2022/03/08 at 4:19 AM
By lyfer Published November 9, 2021
Share

Ndi mwana w’ani nze atuuza n’abagagga
Ne mbafuuza ensawo zaabwe
Baggyemu akalungi bambi ak’okwebaza!
Ddala mmwe bange
Ate abange be baki mbalamusaako?
Okwerabira abanyumirwa obuyimba obuntuuyanya
Kino ekidongo y’entabaluganda
Buli we nkuba omutwe ndi wa kika
Eyo yonna gye mpita k’abe munubbi tanneewala
Kale Mukama w’ensi mmunenya ntya?
Nti wannyima ebirungi mba mukyamu
Sitoma nina emikwano Mungu wampa ndya biyiiyize
Nataddewo e motto ne bw’oseka otya
Buli kye nkola nkirya nterekera ani?
Tetwajja balongo anti najja bw’omu tombuulira
Abaana ba nnyabo ebiriba bifisse
Buli omu ky’alikwata n’akinyweza
Y’envujjo ye ekyo ky’ekiraamo kyange sirikiddamu
Abeekemba nkolera baana
Abaana ba luno tuzadde byoya
Ssi wange ssi wuwo ssi w’e Busujju n’owe Ssese
Munampita mubi ssibawakanyizza
Naye nga go amazima amatuufu
Omwana wa luno akulesa byonna byoba okola
Wentuukidde okulayira nti
Ebyange ka mbirye nabooluganda
Mbadde olulifa be mbirekedde ne beetundira
Nze bwe nkola nga bwe ndya
Ne mmazaawo tonnenya ndeka
Abaana bammazeeko ebyewungula

Abaana b’abafu nga bwe ndowooza
Ekyandibamaze amaziga ku maaso
By’ebintu bya kitammwe byaleseewo ebyamutuuyanya
Aah bw’obitunuulira ne wefunyaako
Nti owange yafa yandeka bulungi
Naawe okule ng’entandikwa yo w’eri kw’oyongera
Naye endowooza ya mufu agabudde
Eyazinda emitima gy’abalekeddwa ssikiwaayira
Nze bwe mmenya abatunze mmalawo engalo
Olaba abamu batunda biggya
Obuwangwa bw’enda ye n’abutunda
Ng’alinga agamba nti ababikuuma baali beebafu
Olumu nno ofudde waleka baana
Abalenzi obalese ne bannyinaabwe
Oleseewo ekikolo buli alemwa ensi w’awaŋŋama
Gwe olannamye e magombe weegolodde
Weeyagala kuba olese obutuulo
Bw’abaana b’enda yo bakuŋaane n’okwegeya
Wabanga weerumya olya na bunyeebwa
Wewuubira mu butundu bw’obukanzu obwa Japan
Ng’okolerera abo abatalyebaza
Bwoba olina emmunye ezirengera ennyo
Toyitanga ku nnyama nkikulagudde
Omwenge bw’ogunywa empaawo ginyweze onywa ntuuyo zo

Ekirala kye nazudde nkiwa nammwe
Bw’olaba abugumyeko ku by’amuzaala
Mpozzi ng’abifunye amuzaala waali n’amwebaza
Naye bino nnyinimu afudde kitalo nnyo
Tugabanyize abasigadde by’aleseewo
Biba ng’ebinyage buli abikwata n’asattira
Kale weefuge enkumu ozifuule banno
Nga bw’okolerera abalikuswaza
Batunde n’amalaalo go basinge olw’ebintu byo
Gwe awadde abalamu okoze bulungi
Era nkuwagidde oli na mutuufu
Kale ne bw’olifa olikaabirwako olw’ebintu byo
Gwe atabigabye oliba mu ddiiro
Ng’olannamye olibulwa n’akukuuma
Ng’abaana bo bali mu kugabana ebyo byotaagaba!
Olwo ennaku eribula mu kufa kwo
Ne liba essanyu okugabana omusimbi gwotaagaba
Ngokolerera abo abatalyebaza
Oba okyazaala bw’otuuka awo n’otenguka
Ng’olabye eyazadde abadobonkanye

Ate ennaku ku luno erumye abazaala
Bw’olowooza okufa n’oleka namwandu
Asigale ng’ajeera nnyabo awo n’ensi n’otenguka
Ate ennaku ku luno erumye abazaala
Bw’olowooza okufa n’oleka namwandu
Asigale ng’ajeera nnyabo awo n’ensi n’otenguka
Leero nga ffe abaagwa ku bibamba
Ba nnyina b’abaana ne batufaako
Ne tuwasa abalala bakuze abaana abatusumbuwa
Omukazi yafuba okwola gw’atazadde
Kuba nnyaabwe bambi yabafaako
Labayo bbaawe bw’ofa bambi
Mukazi wattu ne bakubuukira
Laba bw’ofa n’agobwa mu bintu n’enju
Munno eyakkuuma mu bulwadde n’ofa
Kale mukazi wattu abiraze wa gy’aseegera?
Kyova olaba kati abakazi bangi
Ebya bba abinyaga abitwala waabwe
Azimbeyo akayumba totegedde mw’aliseegera
Tuyombye nnyo abakazi batubba
Naye nze kye ndabye ku bannamwandu
Bw’ofa emirembe gyo ne gw’oleseewo ne gisanguka
Abaana ku kino mutwenyiyizza
Naddala nze kandye byange n’ankuuma
N’alijja okunyaga alisanga byoya n’atenguka
Era buli alina amaka agatudde
Mukyala wo muwe ebibye bulamba
Obyawule ebbali olwo lw’olivaawo n’aluŋŋama
N’abaana bawe bamwebazeeko
Bavunaanyizibwe ku byabwe by’obawadde
Nga naawe wooli olondemu bulungi atalulunkana
Oyo gw’olikwasa n’okukuuma banne
Ng’omaze okulaba engeri gy’ayisaamu
Kisingako okulinda lw’olivaawo ne babirwanira

Okuzaala bingiko ebitutawaanya
Ebijja nga yazaala totegedde
N’ekyabasika ky’ekimu kw’ebyo ebitusumbuwa
Ekigambo busika nga bwe ntegeera
Omusika nkakasa asikira musaayi
Londa oyo gw’olaba alikuuma banne ne baluŋŋama
Abazadde abamu alaba siringi
Nti oyo azirina y’alikuuma banne
Sso ssente n’empisa enjawulo weeri tebigattikwa
Muzadde munnange bangi b’olabyeko
Owa ssente gw’amanya mugagga munne
Balamu migyi kale alirambula atya ab’eŋŋanda ze?
Oyo aliyita ewuwe nga yasobeddwa
Abuulire munne ebimutawaanya
Gw’alyetikka nti andabye bugagga n’akwetuka
Walekawo asobola okukuuma banne
Ne bakwasiza wamu kababe baavu
N’alambula abalwadde n’abayombye n’abagattika
Sigambye nti omugagga tasikanga
Omugagga omugezi asikire banne
Ssi magezi masome naye amazaale agatabaganya
Na kino kikulu nsaba abazaala
Olekere eddembe abaana be wazadde
Bo balonde gwe balaba nti ye mutuufu alibaluŋŋamya
Gwe gaba ebibyo obaawulizeemu
Bo balonde gwe balaba nti y’abagyamu
Enkaayana enkumu ne bw’olivaawo nga bisanguse
Kyoterabiranga ye nnamwandu
Okuggyako ebibye ate mu lujjudde
Kabiite wo afune okuweera bwe luliba lukuwunzise
Tulabe ate omwana alireega banne
Nga buli omu ky’alina yakyebazaako
Olabe emirembe egiriba mu lumbe lw’oliziikibwa

Njagala mpumbe
Njagala mpumbe bwenti bye njogedde
Abooluganda muggyemu oluwenda nammwe
Eyo gye bujja olulinsiimisa
Nti bano ssi baana be tuzadde
Okuggyako ago ge mbawadde
Nga ssi ekyo wano essanyu ly’okuzaala lidobonkanye
Ka mpe n’akalowoozo eri bannamwandu
Abawasiza mu maka nga lutututte
Munnange ssi kibi naye ku baana tekibawoomera
Abaana be wazaala ku musajja
Ogatteko abo be yazaala gy’ayitidde
Obateekamu omusajja nga bayombye tobanyiigira
Balo oba afudde okyali mutiini
Gwe okwekuuma ekyo kizibu nnyo
Genda fumbirwa oba bbali eyo ne weewungula
Naye mu maka oyitibwa nnamwandu
W’otadde ne kabiite aweeweeta!
Abaana baliggoba osule ku nkande n’omuntu wo
Basudde mummanyi nti nkisa bya ndya
Tewali kye ndikisa ku bisigadde
N’ebyo mbibawadde era we ndifiira nga mubikkuse
Kantwalire nnyabo ekiwalume kye
N’ekkooti ya ssebo emubugumyeko
Abampa ebyange nga bali ku nsi ne mbeebaza
N’ebyange ntemamu ngabira baana
Buli omu n’akake awatanyizeeko
Ebisigaddewo ka tubiwuute n’anfumbira
Ebyange bwebityo anti biggwa byokya
Bwe naafunangayo ndi mwangu kujja
Tuwaye ebitujuna

Read Mukyala Kandida Lyrics by Herman Basudde

Share Obusika Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

TAGGED: Herman Basudde Lyrics
Share this Article
Facebook Twitter Whatsapp Whatsapp Telegram Copy Link
Previous Article Mukyala Kandida Lyrics by Herman Basudde
Next Article Mweraba Ngenze Lyrics by Herman Basudde
Leave a comment

Leave a Reply Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Top Chart

Liam Voice
Dear Bestie – Liam Voice
Music
Mutima by An Known Prosper
Mutima by An-Known Prosper
Music
Matayo Allan Hendrik
Matayo – Allan Hendrik
Music
An Known
Taata by An-Known – Mp3 Download
Music

Trending

Liam Voice
Dear Bestie – Liam Voice
Music
Mutima by An Known Prosper
Mutima by An-Known Prosper
Music
Matayo Allan Hendrik
Matayo – Allan Hendrik
Music
An Known
Taata by An-Known – Mp3 Download
Music
Kansalewo by Sheebah
Sheebah Karungi – Kansalewo
Music
most followed TikTok content creators 1
The 18 most followed TikTok content creators in Uganda 2023
Blog
Zig Zag Fred Owens
Fred Owens Zigi Zaga Mp3 Download
Music
Zzina Awards 2022
Zzina Awards 2022: See the full winners list
News

Top Lyrics

Majje lyrics Azawi ft Fik Fameica
MAJJE Lyrics by Azawi ft. Fik Fameica
Lyrics
Seen Don Lyrics by Ronald Alimpa
Seen Don Lyrics by Ronald Alimpa
Lyrics
TUBATIISA Azawi mp3 image
Azawi – Envision Lyrics
Lyrics
Tujune by Bobi Wine Mp3 Download
Tujune Lyrics by Bobi Wine
Lyrics
Kanzunzu by Fik Fameica
Kanzunzu Lyrics by Fik Fameica
Lyrics
Nkufeelinga Lyrics
Nkufeelinga Lyrics by Ykee Benda ft Chembazz
Lyrics
Ogwo munanansi by Fabie Eraikie
Munanansi lyrics by Fabie Eraikie
Lyrics
Kimuli Kyange Mudra ft Vinka
Kimuli Kyange Remix (Lyrics)-Mudra ft Vinka
Lyrics

You Might Also Like

Herman Basudde
Lyrics

Ekyali Mu Ssabo Lyrics – Herman Basudde

December 4, 2022
Herman Basudde
Lyrics

Herman Basudde – Bus Dunia (Part 2) Lyrics

October 11, 2022
Herman Basudde
Lyrics

Wasa Nju Lyrics by Herman Basudde

February 6, 2022

Abakungubazi Lyrics by Herman Basudde

November 9, 2021
Subscribe to Our Newsletter

Subscribe to our newsletter to get our newest articles instantly!

Follow US

© 2022 Musiclyfer

  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Tip Us

Removed from reading list

Undo
Welcome Back!

Sign in to your account

Lost your password?