• Write For Us
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Advertise with Us
  • Tips
Sunday, July 3, 2022
  • Login
Musiclyfer
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech
No Result
View All Result
No Result
View All Result
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech
Musiclyfer
No Result
View All Result

Mukyala Kandida Lyrics by Herman Basudde

lyfer by lyfer
8 months ago
in Lyrics
Reading Time: 4 mins read
0

Nakomyewo muganda wammwe Mukama yantuma okubawanga ebindi ku mwoyo
Nange ne sifuuka kaasa kujeemera Mukama ntuukiriza endagaano yange
Bwe wabaawo eyali ampulidde nga nnyimba mu bibuga ne mu byalo ndi muyigisa nnyo
Lwaleero nkawaŋŋamudde Mukyala Kandida vva ku Jimmy omusukkiridde
Abakazi abakaddekadde okusinga ku nnyabo ate naddala abalina ku bintu
Ye naddala abagumbawadde muzinze n’enkato okwetikka obulenzirenzi
Muleseewo size zammwe nga Muzeeyi Matayo ataakulumyenga muyite mwenna
Weekebera amatama wegaabanga kati nsalosalo n’envi zimeruukiridde
Face ekufufunyadde olw’ensonga y’okkula n’emabega ekuserebenze
Kuva buto otabadde mu nsi ki kyotonnalaba ssi mululu naye ago maddu
Ke kadde wummula ensi olyetunga ku ttutu koma awo n’abato bakwazze
Naye laba bw’ozze kalenzirenzi!
Okagulira empale n’omwenge kati laba ogula bbiya kw’otadde omukoolakoola
Kaakati kasiriwadde ate ggwe oli mukulu ogenda kufa okaleke ku kyalo
Nga n’okuzaala keerabidde kuba ebiseera by’okuzaala gwe wakatawaanya n’okafiiriza

Mpuliddewo abakaddekadde awo abeemulugunya nga baagala nkome awo mangu
Mpuliddewo abakaddekadde awo abeemulugunya nga baagala nkome awo mangu
Nti bo baba batudde obulenzi bwennyini ne bubasooka okubakwana
Nnyabo toyomba mangu anti n’entunula yo era ekulaga obutayitwako
Olulengera omulenzi yenna ng’okyusa ku nkula ng’otunuza obusendasenda
Amatama ogasenzesenze osika embugubugu zinywerere bulungi ku mba
N’amaaso agazigaladde n’ogabbako mpola nga bw’oggyamu obujonjojonjo
Ab’engeri eno mwafuna dda erinnya eribaawula tubanyumyako ne ku mwenge
Linnya ddungi mwana wange ba mukadde anyirira nakyo kika kiri awo kyokka
Kino ekika kyo tolibuuza nti ogenda wa nnyabo baba banoonya baana bammwe
Nagambye yeezira kusanga n’akyamula figure n’olaba bw’anyigiriza enkoggo
Omugongo gwakula dda gusaanamu mpagi n’olaba bw’agucangacanga
Mmwe mukwana obulenzi bwammwe, lwa butoogera mukozesa magezi gokka
Ate olumala okakwana ng’okkirira ttale okanogereyo omukoolakoola
Ng’otereka kigwagwa kyo eka kisiiba mu bulangiti
Kivaayo kwasa ku nku na kwera mu mbuzi
Tekigenda mugga kusanga banyirira
Kale omusibidde eka ate ggwe oli mukulu tokyalina magi na munda
Kati okuzaala yeerabidde ggwe omwongera mmale saasirako ku baamuzaala
Era otyoboola obukadde bwammwe
Mwali ba kitiibwa wabula ako
Ssibavumye mbabuuliridde

And Also

Salawano – Mudra D Viral (Download Music MP3)

Nakudata Lyrics – Radio & Weasel ft. OS Ssuuna

Mwalaba ki ku size ento abazeeyi mmwe mbuuza nsaba tuddeko mu kaama?
Ne mulekawo abasajja be muyinza okulaga mu bantu ne mukumba nga muggumidde
Ggwe ow’emyaka ataano bw’oganza Matayo ow’enkaaga kirungi na nnyo
Naye Jimmy ow’abiri gokka njagala obe n’ensonyi weebikka otya n’oyo mu nju?
Ka kitange okawemudde, lwabutoogera kaguma lwakuba mpale mpya
Saagadde mpemule bantu, nandyatudde ne mukkuta obugwagwa bwammwe
Ekyo nkibalekedde mwekebejje abazeeyi abaami mmwe muba musembera ku mwanjo

Omusajja okuliridde n’awaka oyitwa ssebo agaana ogawunduludde
Wadde tozadde kyokka wazaalwa ku Kabaka Chwa okuze era ogundidde
Laba bw’ojja oludduddu ng’osanze ka nnyabo obubeere bususuukiridde
N’okagamba obutafaayo kabikwate na mpola kakuganze mpola mu kyama
Mbu era wakaagala dda bukyanga okalaba n’emmeeme yo kaagitwala
Kambuuze taata wange bukuvudde wa obwagazi bw’ako k’olaba eggi?
Weepimeemu wooli wenna wadde oli mu ngoye ate otunule ku bbujje liri
Ne Katonda akutunuulidde ali awo ku bbali ggwe tomulaba naye ye waali
Keemodde kakazi kattu anti kakwatwa n’ensonyi
Naawe oswakidde ofuuse ne colour
N’oluusi omulevu gwa nvi bwe kagutulako ne kawulira ekikyamu munda
Keewozezza ssebo by’oŋŋamba nga ssibisobola ko ggwe nze mmanyi tugende
Kati laba okakulembedde bw’ogenda ogaziwa ozimbye olw’okuba ofunye eggi
Ekkooti ekukunukidde anti k’onyumya nako kampi akakukoosakoosa
Abasajja abakulu mmwe mubeere n’ensonyi nga muwemudde baana bammwe
Apaana muddeyo ku gakadde gammwe
N’abato muleke bazannye n’abato envuumuulo

Obusoma mubwebagazze ye naabagamba ki olaba muganza obukola eka!
Nze simanyi gye mwaggya maddu kuganza kakozi ke waleeta ewaka kafumbe!
Laba bw’otuutidde anti otudde mu ntebe kko kali wali kafukamidde
Ne by’okagambye kawulidde naye katya mukyala wo ggwe okagumizza obutafaayo
Ate ennaku yakalaba dda nga mukoozesa engoye n’okuyonja ebiri mu nju
Kati okagamba keetereeze okawadde n’ensimbi kagule ebyakabulanga
Tekakyayinza mwana wange kugondera mukazi kuba kamanyi we kalya w’alya
N’omukazi omukenenudde buli lwe kamulaba kaba kamanyi ku byamutuuza
Akagambye kw’oza bintu nga kafuuka ka ggume
Gy’anaakaloopa yonna kamanyi tokyanyeze
Kubanga kaakukwasa ng’amaddu gakuluma kaakati kawaganyadde
Ebintu ebyo bingi mu nsi nga byonoonye maka kitalo abaami obutateeka

Eby’embi nga binajja otuuyana ku ggolu
Eby’embi nga binajja otuuyana ku ggolu
Ensi etubijjiridde obwana obuwala obuto nabwo bufuuse leenya
Ebintu by’obufumbo edda ng’omala kula nga teri kye wali otegedde
Naye kati akawala konna kasita koogera kamanyirawo omusajja ky’eki!
Yaddeyaddeko mu byalo naye obwomubibuga tekyali gw’oyita na muntu
Anti enju zoomubibuga zonna eddiiro ky’ekisenge enjawulo lutimbe lwokka
We muzaalidde abaana bammwe ggwe ne mukyala wo akulamu mwalira awo wansi
Lwaki taakuguke mu nsi nga mwamuzzaako alaba nkomye awo mpitiridde

Ekibuga twajjirwa nagwo musango muloope ekitaliimu kalungi konna
Ani anampakanya ku lunnabe lw’ekibuga ekyonoonye wano buli kantu
Empisa z’obuwangwa zonna zifiira mu bibuga
Kubanga gw’oliraanye munno tazaagala
Ggwe bw’owamattuka mu nju yo ogenda bugenzi kubanga toomunyege kantu
Anti olulimi lwo talutegeera
Obwana bw’olina awaka kale ne bujja buva buto nga bumanyidde obutabuuza
Osanga kalalambadde kanaakunyega katya wadde eka kyekatalabanga
Bwe buzibu obuzuuse mu nsi lwa kwagala bibuga tebiriimu kalungi konna
Ekintabuli kiyitiridde
N’omuvuyo ogw’ensula yaffe
Mu nnyumba eringa aka latrine, bisaana bagumba

Mbadde mbabuuliridde munaalemwa kuyiga nze ngogola Uganda yattu
Mbadde mbabuuliridde munaalemwa kuyiga nze ngogola Uganda yattu
Ekisooka mukazi wattu Mukyala Kandida vva ku Jimmy akusukkiridde
Naawe omwami okuliridde okuganza abawere ssi mululu naye ago maddu
Njagala mwawulenga omuzigo ku ddibu
Mwawule ekitakambagga ku ppeera n’entula
Saagala mwelogozze njogedde mu lwatu buli alina akaze ke konna
Amannya mpitibwa Basudde
Ery’ekizungu Herman eri ndi mugave
Ŋŋenze abalungi mwenna, mubeere balamu

Share Mukyala Kandida Lyrics by Herman Basudde

Tags: Herman Basudde Lyrics
ShareTweetSend
Previous Post

Touch Me Slow Lyrics by Free Boy

Next Post

Obusika Lyrics by Herman Basudde

YOU MAY LIKE

Nakudata Lyrics by Radio & Weasel

Nakudata Lyrics – Radio & Weasel ft. OS Ssuuna

1 day ago
Metta Love - Vivian Tendo

Vivian Tendo – Metta Love Lyrics

4 days ago
Juliana Kanyomozi

I’m Still Here Lyrics by Juliana Kanyomozi

5 days ago
Juliana Kanyomozi

Right Here Lyrics by Juliana Kanyomozi

5 days ago
Juliana Kanyomozi

Wa Kajanja Lyrics by Juliana Kanyomozi

5 days ago
Omukwano Ogw’edda Lyrics by Juliana Kanyomozi

Zaabu Lyrics by Juliana Kanyomozi

5 days ago
Next Post

Obusika Lyrics by Herman Basudde

Leave a Reply Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

TRENDING

Salawano - Mudra D Viral

Salawano – Mudra D Viral (Download Music MP3)

8 hours ago
Leero by Vyroota

Leero by Vyroota

2 days ago
Amarangamutima by Afrique & Rebo Chapo

Afrique & Rebo Chapo – Amarangamutima

2 days ago
Chozen Blood Husband mp3 download

Chozen Blood – Husband

4 days ago
Sinza by Pastor Wilson Bugembe

Sinza – Pastor Wilson Bugembe

4 days ago
Metta Love - Vivian Tendo

Vivian Tendo – Metta Love

4 days ago
Prev Next

Follow us on Twitter

About

Musiclyfer is a media platform used to promote and deliver Ugandan music, videos and music content. Providing content from over 30 African countries, it is one of the most visited music websites in Uganda.

Recent Posts

  • Salawano – Mudra D Viral (Download Music MP3)
  • Nakudata Lyrics – Radio & Weasel ft. OS Ssuuna

Categories

  • Blog
  • Kenya
  • Lyrics
  • Music
  • News
  • Profiles
  • Relationships
  • Rwanda
  • Trash
  • Videos

Socials

  • Write For Us
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Advertise with Us
  • Tips

© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.

No Result
View All Result
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech

© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In