Zafaran – Gyeguli Lyrics

Zafaran
In a Swangz Avenue
Oh my God, Bomba made my beat

Abaana ba city nali nabata
Bwoteegendereza bakuttira awo
Tebalina nsonyi nabatya
Bano baatulugunya ne Falaawo
Omukwano bwe basusa bakuwa bikuta
Bo nebasigala eyo ku pilaawo
Ondaze nti for worse and for better
Ondaze nti love yaffe nnungi ya kubaawo
Sirikugoba nti wendi vvaawo
Guno omukwano gwali gwa kubaawo
Sirikugamba nti awannyu waawo
Onzibudde maaso

Omukwano gyeguli
Woowe maama gyeguli
Nze nkakasizza era ndabyeko
Maama gyeguli
Mwanawattu gyeguli
Ondaze nti gyeguli
Nze nkakasizza era ndabyeko
Maama gyeguli, eh

Agannyabo gyeguli (gyeguli)
Bulijjo bye ndaba ku ttivvi gyebiri (gyebiri)
Nze naanyumirwa ntya wootoli?
Toba nga love gy’olina
Wagiggya mu Bayibuli!
Laba, love yange yali yabbira (ddala)
N’ekisawo ky’obusungu kyali kyajjula (uuh)
Naye omukwano wagukwekula
Bwe wajja bwotyo mukwano n’oguvumbula

(Gyeguli)
Woowe maama gyeguli
Nze nkakasizza era ndabyeko
Maama gyeguli
Mwanawattu gyeguli
Ondaze nti gyeguli
Nze nkakasizza era ndabyeko
Maama gyeguli, eh

Bwe ngwa mu ttagali gw’ayanguwa
N’amaziga gw’asangula
Gwe manya gw’akandula
Mu kazannyo k’omukwano gw’awangula
Yeah you got, yeah you got, yeah you got it all
Yeah you got it babe, yeah you got it all
Ondaze nti for worse and for better
Ondaze nti love yaffe nnungi ya kubaawo
Sirikugoba nti wendi vvaawo
Guno omukwano gwali gwa kubaawo
Sirikugamba nti awannyu waawo
Onzibudde maaso

Omukwano gyeguli
Woowe maama gyeguli
Nze nkakasizza era ndabyeko
Maama gyeguli
Mwanawattu gyeguli
Ondaze nti gyeguli
Nze nkakasizza era ndabyeko
Maama gyeguli

Ooh gyeguli
Omukwano gyeguli
Nkakasizza era ndabyeko
Maama gyeguli
Nze ŋŋamba gyeguli
Guno gyeguli
Eeh nze ndabyeko maama gyeguli
Yeah

Sound Change

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.