Zaabike Lyrics by Irene NamatovuZaabike Lyrics by Irene Namatovu

Verse I
Nkwagala okunsinga nekubwolowoza amazima
Nkutelawo omutima nebatema ekyambe,
Watuula nokajjala munze mumusaayi
Oomutima okubye engwaala.
Wasabala mayanja geyo ebuziba,
Nga nkulaba kyamuli ndi kumutala nkulinda,
Mazima lwali lumu,
Nga enjuba egolooba nosuula ennanga
Gwe eyali ankeeza mu suulwe nga emambya ekyaali…
Nga ndowooza nti oba omulungi tatuuke…
Kati nkulina mutaano kazaabike
Ebilaka laba tuli eno twegiliisa

Verse II
I will be your shoulder till the day we cross apart !
Ela oluusi ettumbi ngolokoka,
Nenkuba mu akafananyi akaseera ako
Nga kadaali wembaga mwenaanise nkaada
Nga onyumide mu ka suuti akebeeyi
Omukwano gwo nga mungi nvulubana….
nvulubana
Amapenzi go nga mangi njakilila
Ntala mpola mpola tontwala njabala…
Zaabike ebilaka

Verse III
Ssabalangatira bwe Kkye..
Bwowulira nkuyita ngojja
Nsooka suula nkessi kkye,
Bano abalindilizi bangi ebweru tojja
Owange bwoya, amundabideko takuba aleete
Am ever available,
Lwoba tondabye nkubila ka wuuli
Oli ttuzzi twa ttimpa onkulukutira mutima
Enkalamata wagigoba nkimanyi,
Buli lwenkulaba nentyabula amazina
Mwana mulenzi olinkuta ekiwato zaabike ebilaka

Conclusion
Kino nkibaziza kwanjala, omwana anyilira
Sitta guno omuyigo gwange,
Munalaba ekinaava mu yebiraka
Ngenda kulwana masajja,
Okukuuma nkireko atamidde
Hmm omwana wa boobwe,
mwana ggwe onjogeza amatantanta
Omukwano gulinga nga tonto
Guninye ku jjoba sikyalina apaana
I will be your shoulder till the day we cross apart!

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.