Yeggwe Munnange Lyrics – Joseph Ngoma

Yeggwe Munnange Lyrics – Joseph Ngoma

Olugendo lw’obulamu lubeera luwanvu
Ba nnyabo ne ba ssebo
Mulimu abamu webakaabira
Ng’ate abamu basanyuka
Mulimu bingi ebinyigiriza abaavu
Nga n’abagagga bibakosa
Mulimu ebiseera lw’onoonya okuwummula
Naye ne kubula
Nze bino by’ebimu ku bibadde
Mu lugendo lwange olutuuse wano
Nakula na maama
Ebya taata sibimanyi nnyo nnyo
Twabeeranga awo ne maama
Ng’ennaku ezunza
Yali mukazi mukozi ayagala abaana
Afiirawo ku lw’abaana
Eby’okulya nga bibula lwe mufunye nga mulya
Lwe bibuze nga muguma
Abaaloganga baalogo
Endwadde zaaluma abaali obulungi baseka
Kale nze okubeera wano, okubeera kino
Yesu y’annyambye era ye munnange

Yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Nkuyita munnange (yeggwe munnange)
Wafuuka munnange (yeggwe munnange)
Taata yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Nkuyita munnange (yeggwe munnange)
Ba ssebo abatudde eyo (yeggwe munnange)
Ba nnyabo abatudde eyo (yeggwe munnange)
Musembere mbalage munnange (yeggwe munnange)
Ono ye munnange (yeggwe munnange)
Eeh yafuuka munnange (yeggwe munnange)
Yeggwe munnange (yeggwe munnange)

Ebigambo bya maama bwe yabanga anyiize
Byammalangamu amaanyi
Ndi mukazi munaku, ndi masikini
Ntambula mpita mizimu
Teyalina ayamba, teyalina ssuubi
Teyalina future
Singa nali nkuzeemu oba nandikoze ssente
Ne nsanyusa maama
Naye nali muto abange nga ne nnusu ataano
Ssi kyangu kya zifuna
Aah naye Mukama, olina amaanyi
Gwe akyusa obulamu
Wanneerabiza ebikadde nze
Laba wasangula amaziga ga maama
Yeggwe munnange

Yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Nkuyita munnange (yeggwe munnange)
Wafuuka munnange (yeggwe munnange)
Taata yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Nkuyita munnange (yeggwe munnange)
Ba ssebo abatudde eyo (yeggwe munnange)
Ba nnyabo abatudde eyo (yeggwe munnange)
Musembere mbalage munnange (yeggwe munnange)
Ono ye munnange (yeggwe munnange)
Eeh yafuuka munnange (yeggwe munnange)
Yeggwe munnange (yeggwe munnange)

Ofunangayo akadde n’olowooza
Gy’ovudde ne weebaza Mukama (aaah)
Bwe nakulaakulamu maama wange
Yannyumiza ku biseera by’entalo (aaah)
Ebiseera ebyo byali bya nnaku
Abalungi abaatugendako nfaafa
Abamu byabatwalira ssente
Balala byabatwalira ŋŋanda
Abantu nga battibwa mmundu
Ne maama wo oyo yandifudde era
Wandikuze nga taata taliiwo
Naye Mukama y’eyayamba oyo
Kyova olaba muyita munnange
Aah nze yamponya nnyo nnyo
Yeggwe munnange

Yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Nkuyita munnange (yeggwe munnange)
Wafuuka munnange (yeggwe munnange)
Taata yeggwe munnange (yeggwe munnange)
Nkuyita munnange (yeggwe munnange)
Ba ssebo abatudde eyo (yeggwe munnange)
Ba nnyabo abatudde eyo (yeggwe munnange)
Musembere mbalage munnange (yeggwe munnange)
Ono ye munnange (yeggwe munnange)
Eeh yafuuka munnange (yeggwe munnange)
Yeggwe munnange (yeggwe munnange)

Yeggwe Munnange Lyrics – Joseph Ngoma

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *