Herman BasuddeHerman Basudde

Read Wasa Nju Lyrics by Herman Basudde

Eradde eradde nnyooge mirembe
Mwenna abatudde ku ntebe nammwe abali ku mikeeka
Simanyi mundabye ne muntegeera?
Omanyi nafuukana ndi awo ndi ntyo nagalaale
Bwe nvaayo n’ondaba muli olowooza
Nti apaana muno temuuve kalungi nga wa kimeeme
Sso nkwerabiza nnyoko eyafa jjo
N’otyaba amazina ababeerawo ffe tukubuuza
Nti owange tozina tuli mu lumbe
Kati nno bwe ndifa mujjukiranga
Abalinziika nziikwa ne guitar mmaze okulaama
Nenda okuboggoza guitar e magombe
Ne walumbe yennyini asibe empina azine amafuula
Abansooka ogendayo e magombe
Balinneewunya omufu omupya ow’ekinyumu ennyo!
Simanyi oba walumbe ayiisa ku mwenge
Apaana twandikombye omubissi olwo lwendituuka
Jajja Daliya kko ne Batenda mmwe muludde eyo
Musaawe awagazi we tulituula
Ngya kujja ne guitar mbasanyuseemu
Kiribula omukombi lwendituuka munninde

Gwe anoonya omukazi ow’okuwasa enkya
Munnange lindako nkubuulire nga bwe gubadde
Tonoonya mukazi nkikutegeeza
Noonya nju mw’oggya omukazi oba yakula etya?
Gyetegereze ku bantu baamu
Onoonyereze munnange togwa ku kyokya
Nkyekkaanyiiza teri kulimba
Abakyala bennyini bafaanana enju mwe tubaggya
Omwana wa malaaya okimanyanga
Nti otutte mulere ekkondeere eribuze afuuwa
Teri kunguvvu azaala kasanke
Ekyana ky’enjaba ne bwe kifaanana olulenga
Kibeerera ddala njaba nkugamba
Nti nze Semakula apaana ndabye amageege
Teri mpabaana alina kawoowo
Ssinga bamulya kuba ayita ku lusebenju
Kki ekyamugobako abali olowooza?
Ne basamba enkande bagobe enkwale akatono ennyo!
Bweweddiramu ekyo ojja kuva ku nsi
Onoonye omukazi ng’onoonya nju
N’enkessi osuule okugirondoola
Bw’obulwa awaluŋŋamu ogira obivaako
Embuulire amanyi alwejjulizeewo

Mukazi wo akuze alaba bikeesa
Mukazi wo akuze alaba bikeesa
Nga y’aggulirawo nnyina ku nkya nga bakomyewo
Omwana n’akula alaba bikweno
Ng’anti buli olukya nnyina omusajja aleeta muggya
Mu mwana mw’ayita okulimbalimba
Gundi bw’ajja mugambe twafiiriddwa ndi mu kyalo
Olwo agenze ne Peter amulejjeseeko
Omwana n’abulwa akabi akavaamu
Gw’ate okuva obuto ebyo by’alaba kirabe wamma
Ensi gyebeeredde laba omugwako
Ng’ozinga kakata kwetikka kutwala mu nju
Sirika sirika tolimba banno
Oba totutte mukazi oba otutte kireere ky’envi
Ssebo wadde kinyulu aliko akawoowo
Naye bwotamwanika n’akukula awunya ekivundu
Kinyulu anaawooma ayotezebwaako
N’ensejjere nayo okugiyita enswa
Ng’ogiggye mu kiswa ezomakubo byo bigazanva
Kati nno muwase bye mutegeera
Kati muwase bye mutegeera
Ssi buli alina akabina nti aliba mufumbi
Ogenda okufa ne mmunye etemagana
Olitwala ne ttimba eyakiza emmunye etunuza essimbo
Etunuza essimbo
Abalungi omuba empeke nabo babaayo
Ng’omuggye ku luggya olutaazika naye omuwasanga
Kwata ebyange owone emikunsu
Wasa nju kaakati omuva omufumbi

Bino we bituuse mmaze okutaama
Nze abaana abange ali ne nnyina ngya munona enkya
Gwe olejjesa basajja atudde wali nnyabo mu nsonda
Wenna akulaba bwe weekuteera
Ka maama enkeera kanyumya mu bannaako
Kaabuze kata maama nno ekiro alugwemu
Yagobye Sempeebwa ne nkyewuunya!
N’anti ne Juma yabaddewo naye nga yazze
Ate nno waliwo avuga emigaati
Ha leero eyo twandisuze ku nsava ndowooza
Twandisuze ku nsava ndowooza
Nze yaŋŋambye ne nzigala oluggi
N’adda ku bbalaza ne beereega maama kabiriiti
Kati omwana oyo awasa omugwako
Ng’agenda avubuka oba otutte kiki olowooza?
Obwenzi abuyize amanyi okucanga
Nedda abange mubampe buli amuzadde
Abaana bandibaddemu akapecca
Naye amaka mwetubakuliza byo bisusunku
N’onenya mukyala wo okuba ekiveera
Nootebuuza wali watya yo gye namuggya?
Mu mazima ekibe kifaanana embwa
Naye teri akirunda mu maka kiyiggisanga
Sso singa kati by’ebikuuma n’eka
Kuba bisinga n’embwa ku bukambwe
Kati nkikusaba awasa owase nju
Tonoonya biseera nze akimanyi nkikutegeeza
Buli Katongole aba yeddira nte
N’olituuma mu Lugave Ndugwa omugwako

Nze nekkaanyizza tebakyannimba
Omuntu alimu empeke ne ku mmunye mukutegeeza
Oyo mukyala wo asekaseka ennyo
Nga buli ky’alabye n’amwenya olina mugwagwa
Nga buli gw’alabye amwanguyira nnyo
Muviireko ddala kola bibyo ekyo kisusunku
Omuntu atayawula ye buli kizze
Oyo gw’owa olugoye n’asiima zzipu erubaako
Nti walonze eppeesa linyirira nnyo
N’omutunuulira n’omuzzaawo
Wamma munno wo bwe giba miti aba settaala
Onokyewuunya bino okuva eka
Omuntu okufaanana atyo n’ewaka era by’ebibaayo
Ekisinga okutta amaka kuyomba
Obwenzi mpozzi n’abamu liba ttamiiro
Abaana ba luno gye bakulidde
Emisingi egyo kwekutambulira amaka ge tulinawo
Mwetuwakankula abafumbi b’eka
N’otunuulira kino kyo ki nagalaale
N’obonaabona obuulirira enkwa
Munnange toluma ente osanga erumye ekinywanto
Omuva otuta ate twebanywaako
Omuntu alabidde ku lukalu lw’ensi

Semwanje yawasa Cissy Nalunga
Ewa nazaala we omupangisa eyo mu Kirumba
Nazaala we bukya ava mu bufumbo
Emirundi okujoogera bisaana kaama
Yanoba ne Cissy Nalunga
Nga baabuwe Kato mbu bba yali takyagula nva
Kye yasookerako kola lupiiya
Emisana n’ekiro ye oba kino nkingaziye ntya?
Ng’olumu ka maama akaleka mu nju
Ng’olumu ka maama akaleka mu nju
N’ataayaaya eka wano alabika ku nkya
Leero bano abajja bamunoonya
N’akatendeka n’engeri y’obalimbalimba
Tekaludde kafumbuseemu
Tekaludde kasummuseemu
N’atandika okafuula olusuku afune akatooke
Gwajabagira nga kavumbyemu
Kawereddeko eddala ennyama yali ng’akoze loole
Laba Semwanje bw’agwa ku kiwaawu
N’akyegayirira munnange onyumira n’eka
Ng’akuluppya na ndera alaza eka
Abeerawo wano nandirese ye n’akoleeza
N’abennyonnyolera bukya amutwala
Oli yatwalira ddala mbaki kale ssebo alabye nnyo
Tamanyangako nti n’obwenzi musango
Akitwala atyo gwe akivumirira oba ogereesa
Yakula akiraba mwe muva amata eka
Okwenjeera kuli musaayi
Leero buli kaze akabi Cissy akagabanyeeko
Omusango guno tugusibe kw’ani?

Ng’okutte ebyange okyabirowooza
Kuba ttooci mu mukyala wo wamuggya w’ani?
Ndowooza kaakati ssebo olabyewo
Weeyawulirewo munnange awaka osuza ki
Omukyala yennyini nga kisusunku
Nze nkuwagira okuba omuwuulu
Mukyala wo bw’aba atunula ng’omuto amazeewo
Nkusaasira siringi z’oyonoonye
Naye leka zife zzo Mukama alikuddizaawo
Gwe atannekkaanya wuwo nkugamba
Gwe atannekkaanya wuwo nkugamba
Omukazi eyemwetula tabaamu mpeke yaamwo
Nga buli gw’alabye amwanguyira nnyo
Eyo tule tule nsaba okugizza gye wagiggya
Nsaba okugizza gye wagiggya
Tandikira awo okubutazaama
Oliwunzika ovumbudde obuze obuvundu
Wadde eppaapaali liwoomera alya
Naye ssi gwe muti ogutemebwa ayoya okuzimba
Anyooma ebyange ojja kuwasa nnyo
Owunzike nga wetonze sinyumya mageege
Lw’olijja ewange n’ontegeeza
Nti tokyayimba buyimbi wabula oliko Katonda
Ebintu bino wabimanya otya?

Omukazi omutuufu bawasa nju
Fissa obudde wekkaanye wa gy’ava
Ate olina ssebo okutunulanga
N’amaaso gennyini gakulaga ekiti ekyo mw’agwa
Ye ate kaakati ki ndeekaana?
Buli agya mukyala we londoola wa gye wamuggya
Ssa ku minzaani empisa ze n’eka
Weesalirewo nti oba ono nina mufumbi
Saagala musaagire mu bigambo
Obufumbo buno kya buwangwa kirina okukuumwa
Nga n’amaka amalungi ebigavaamu
Nga n’amaka amalungi ebigavaamu
Eggwanga likula abagavaamu babeera bantu
Naye okuzaala mw’ono nagalaale
Olimba ani nti gw’azadde alibeera muntu?
Amuweese ku mabega atabaala kyalo
Naawe nyinyonnyola omuntu oyo akula amanyi ki?
Amukwese mu bisubi ali mu balenzi
Mu gennyini omwo muba temuyinza kuva muntu
Leka ndekere awo ojja na kuyomba
Tusisinkane nga ndeese ate byendikwasa
Munaabandabira ndaga mu kyalo
Eka eyo nvuddeyo kumpi ndi na muwuulu

Related:
Ennimiro Yokubuganga Lyrics by Herman Basudde
Bus Dunia Lyrics by Herman Basudde
Abakungubazi Lyrics by Herman Basudde

Submit lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.