Wandimbuulidde Amazima Lyrics by King Saha
Oh oooh
Naggwamu amaanyi
Nze omusajja eyalina amaanyi
Naggwamu essuubi
King Saha eyalina amaanyi
Yenze Leone Island Soldier
Eeh, uuh uuh
Lwali lunaku lwamukaaga
Nga bw’omanyi lwetutera okuyimba
Nagenda okuyimba
Gye nasanga ono omwana, aah
Eyannimbya amaaso
Yannemya okuyimba, eeh eeh yeah
Bwe natandika okuyimba
Eyali anyiize n’amwenya
Awo nange ne mwesunga, ah ah
Ate bwe waayita akabanga
Eyali amwenya n’atandika okukaaba
Nga ndowooza essanyu limukaabya, ah aah eeh
Bwe namala bwentyo ne mmulumba
Nga njagala manye wa gy’asangwa
Yansiibula nga ndowooza anadda
Yagenda teyadda
Wandimbuulidde amazima
Nti ako k’ogenze, togenda kudda
Wandiyanjudde amazima
Nesikwesunga, ate n’onswaza bw’otyo
Wandimbuulidde amazima
Nti ako k’ogenda, togenda kudda
Wandiyanjudde amazima
Nesikwesunga, ate n’onswaza bw’otyo
Kye saategeera
Nti oba yali yampimyepimye nga nnyimba
Kye saamanya era
Yannimbalimba
Ng’annimbya amaaso agalabika obulungi
Lwaki nnamulaba, eeh
Yali so calm, ayogera mpola ogamba talimba
Yali mweru mu colour
Atukulira ddala nga langi ze njagala,eh yeah
Nasomerawo ky’alya
Waiter nze ne mugamba leeta
Yagenda okuleeta, eeh
Ng’agenze teyadda
Yeah, King Saha aah ah
King Saha eeh eh
Ŋamba muli, olina kye wankweka nti olina akwagala
Ekyo kibi aah yeah, oooh
Eyo gy’oli, obubaka nga butuuse nze baby nnyamba
Ntaasa, aah yi, eeh
Singa nalina ennamba
Ne nkukubirako ndabe gy’osangwa
Wabula olina ettima, oh ooh
Ebigambo byambula, lwe wandeka nzekka
Nga nfa, kale kyannuma aah ooh
Obuzibu, wammwenyeza mu birooto
Lwaki weeyisa otyo
Ne mu kirooto, wagaana era okunsemberera
Nze ntaasa, eh eh eeh
Yenze King Saha
Read Bambi Lyrics by King Saha
Share Wandimbuulidde Amazima Lyrics by King Saha
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.