By using this site, you agree to the Privacy Policy and Terms of Use.
Accept
Musiclyfer
Aa
  • Music
  • Lyrics
  • News
  • Biography
  • Trash
  • Upload
Reading: Tusuza Emyoyo Lyrics by Paul Kafeero
Share
Aa
Musiclyfer
  • Music
  • Lyrics
  • News
  • Biography
  • Trash
  • Upload
Follow US
© 2023 Musiclyfer. All Rights Reserved.
Lyrics

Tusuza Emyoyo Lyrics by Paul Kafeero

By lyfer Published November 2, 2021
Share
Paul Kafeero
Paul Kafeero

Mwebale okusiima bannange
Ng’eggwanga bwe mpeerezza
Ne mundaga okwagala ba maama
Ne ba taata mwenna n’abato
Ne mweresa mufissa n’obudde
Okugubaguba eŋŋendo
Kale awo mbeera mulyazaamaanyi
Mu kifo ky’okwebaza ne neeyitira kkuutwe
Newuunyanga enkola ya maama
Abato twabanga tuva otyaba enku!
Ng’oluba okusuula ensekese
Ng’akkirira olusuku adda n’omunyaala
Mbu gwe gubudabuda ensingo
Gwe gwebaza era bwatyo n’abandagaza
Okuva ensiima y’ekika egamba
Nti okuddiza guba mwoyo
Yatugamba nti omutyabi w’oluku ategana
Era y’asaana ekyogya mumiro
Mbu abeera atuwoze ebbanja
Gyataayanikangako kututuma mu bibira
Kale nno ensiima y’ekika ng’ekyo
Bw’abeera munno wo omwebazangako
N’alambulula ekitiibwa ky’oluku bwatyo
Mbu lwe luboobeza eya nnyinimu
Mbaagadde nnyo mumanyi enjawulo
Enfumba omulya nti y’agyawulawo
Kubanga nange njawula
Agaaya ekimomozo n’abaswankula
N’amafumbiro bwe kuba chimney
Bwe buwoowo anti okubuna ebyalo
Awo n’omuyise ayawula
Eby’ebbabe yadde talingizza
Mwafuuka ndabirwaamu eyange
Mmwe neerabira ebiwoomu n’ebitatuuse
Ky’ekindaga ensobi ezange
Ewatanaggya ne nseesaamu
Mbeera mbaririra obudde bwe mwerese
Oggubaggubanga eŋŋendo
Nammwe musangewo kko ku njawulo
Wakati w’abasajja n’abavubuka
Ebigambo by’ekika nga kino
Mu matu g’awulira mbyatuza buvumu
Ssikyabalwa mu bato aah ah
Yadde nga wewaawo ssinnattuulula
Bino nkusaba obizuulemu enjawulo
Bw’onobeera obyetegerezza
Mbyatudde mbisimbako amannyo
Temugayita amaseneekeera
Adam ekyamugobya Eden
Yali munne we bwe baali bateesa
Gwali musota mukema mu bitabo
Ng’era bwe tujja tubisoma
Ne sitaani okutulyaamu enkwe
Yatuyitira ddala ku wa ku lusegere
Obukyayi ne bujja buvanga awo
Ne gye buli eno kya nkomeredde

Buli lwe twejjukanya abajja batuva ku maaso
Ebiseera ebisinga ziyitwa nnyimbe
Ku w’olukonvuba owatanya
Yadde nga wa genda
Era owadaawadako
Naye ow’ekibwatukira atiisa
Era by’ebikangabwa ebitwetoolodde
Bannaffe ne tubawunzikanga tutyo
Wakati mu ntiisa ey’ekitalo ennyo
Mbaddenga muto oba luli
Nga sinnaba kwekenneenya nsi
Nga buli andaga amannyo
Nziyitira ddala ddala ddala ddala nseko
Baana bange za njawulo
Ezisinga baziyita mabikka nsaamo
Wesemberezanga oyawula
Abaffe baatukonera dda emimiro!
Okukula tukuyita okwetta
Naye ate munnange bw’owangaalanga
Weebazangako ku Mukama
Ne bwe giba emyaka nga gibalwa ku ngalo
Olaba abagitukiza balumwa
Mbu lwaki egyabwe tugikunukkiriza oh!
Omuntu ng’oyo ky’aba akkugira okiraba
Kikwewunyisiza ddala ddala ddala ddala ddala!!!

Empiiga kye tulanga kya njawulo
Okuva mu bannaffe bwe tujja tuteesa
Kale nno nootamanya munnange
Nti okkaanya na ba mitima migumba miwuulu
Egitabalirira zzadde yadde nabo balina eriryo bwe lirisigala
Ne tuwunzikiranga tutyo
Mu mabwa ga birowoozo bya by’obeera
Ebyawongo byetibye ewange
Ebyonziira okunneerabiza Katonda
Bannange ndifa ndojja
Era neekanze ebyantuuseeko
Era kwe kulwangawo okulabika
Mbeera bannange neerwanalwanako
Ensi tegendeka ekaluba!
Nze nalinga ngigeraageranyiza mu biwero
Ebikwasa ku ttama ssi bipya
Bintu by’ebimu ku bye tuzze tuwulira
Omuntu n’amalirira ozoole otyo
Opampe n’okuwunga wungira wungira mu bidduka
Muli ba ddembe mulina amaanyi
Naye amayute sserukama waago
Lwe balitigiinya ku gammwe
Mmwe mulirojjera ku ba mpenja busika
Omumwa nagukutte e nkunga
Ebintu bino gye bimpamattukira
Ne bijja bimbuza embiibya
N’okwerwanako ne bwe mbyetaasa
Okuzirikanga ne nfuma endabika
Wakati mu bulumi obw’ekitalo ennyo
Bannange ne neerabira abange
Nga buli kimu baŋŋamba bugambi
Oh Katonda ow’obuyinza ono
Ngya kumwebaza ppaka okuva mu nsi
Abantaakiriza gye bazzenga bava nkunga
Emiwazi egibasombodde
Mwebale kulwana bannange
Nnyini ggulu abannyongerere nnyo
Era temuggyanga okwo
Ab’emitima emidduukirize
Lutuyisa ku mwanyo luno
Bannaffe abakugu baafunvubidde
Naye nze omuntu atajja kuvuganya
Oba okusindana na yadde omuntu omu!
Nejjira kaabwera ntyo neeviira Bukunja-Masaaba
Mugende munnyinyurire mu maanyi
Obwana bwange ani alidduukirira?

Yiii! ensi eno nkambwe!
Abantu, tusuza emyoyo!
Hmmm, ku luno nzikirizza
Kyandiba ne gye bujja
Tebiibe bya mirembe!
Yiii! ensi eno nkambwe!
Abantu, tusuza emyoyo!
Hmmm, ku luno nzikirizza
Kyandiba ne gye bujja
Tebiibe bya mirembe!

Kye natidde ssi bantu bano
Neekanze buvumu mu myoyo bwe balina
Naawe bazuulemu enjawulo
Bonna be twawuliza ku bituteganyizza
Ne mu byafaayo jjukira
Yezu Kristu olukwe baalumulyamu
Ku mmeeza ye nga bw’atuuza
Ekibya bakoleza ddala ddala ddala ddala mu kimu
Laba bwe bamala omutega
Ne bamuzingirako omuge gw’amaggwa
N’engoye baazimwambula era abo
Ne bamubamba ku miti okuwemuukirana
Kko n’enninga ezigula emiwendo ooh!
Mukama waffe ne bamukomerera
Kyokka bonna abaakolanga ebyo
Baakubirizanga ensi esinze kitaawe
Nze munda ya nnyabo ssi omu
Nti nze navaayo ne ngya mbaawo
Musaanye luggya lwa kitange luno
Ate nange mumala kungattanga mimwa
Lwemulindaga olulagala omutava ssanja
Enkuyege bw’erwewogoma
Amabikka nsaamu ge mumwentukira ensi eno
Lwe galibulako alirumiriza
Ssiyimbangako na busungu buti
Abampagira munsonyiwe nnyo
Oh terwandiba oluyimba luno
Lwandibafuukira ekiraamo kye ndeka
Bangi abazze bayimbanga bati
Ne mubayita emyejo egyo gy’abacakaze
Okukkakkana mujja okuziika n’abatannakutukira ddala
Ddala ddala ddala ddala

Yiii! ensi eno nkambwe!
Abantu, tusuza emyoyo!
Hmmm, ku luno nzikirizza
Kyandiba ne gye bujja
Tebiibe bya mirembe!
Yiii! ensi eno nkambwe!
Abantu, tusuza emyoyo!
Hmmm, ku luno nzikirizza
Kyandiba ne gye bujja
Tebiibe bya mirembe!

Bwe kuba kwe kusiima kwa Mukama
Ekisa ekingi be nkikoledde
Mu buzibu ne mba ng’endogoyi
Nga buli we nzira nze nannyini mufu
Olubeerera ne nkwatanga awawunya
Nga buno bwe bulumi
Ge magoba ge muŋŋwanyizza
Nsaba obuyinza bwa Mukama
Gye mubiggya bubamperekererengako

Yiii! ensi eno nkambwe!
Abantu, tusuza emyoyo!
Hmmm, ku luno nzikirizza
Kyandiba ne gye bujja
Tebiibe bya mirembe!
Yiii! ensi eno nkambwe!
Abantu, tusuza emyoyo!
Hmmm, ku luno nzikirizza
Kyandiba ne gye bujja
Tebiibe bya mirembe!

Amaka gange ne gafuma endabika
Obwana bwange ne bunneerabira
Emirimu gyange, ne giziŋŋama yonna
N’erinnya ne balifutyanka
Lye nkoleredde emyaka
Bameka abakyagukuumidde mu bifo?
Omuntu akwonoonera erinnya
Okusibwa agwaana mayisa na bigenderako
Tuli bazibu bannange n’abatusuza empewo
Nga tuzuŋŋana n’ensi!
Bafune akadde eri omumwa
Be ppo n’okunyuma beeyagaleko
Ne beetaba mu bikoosi ebyo
Ebizunza emigoozi gitusaanyeewo
Ate temwandibadde mmwe
Kale olabye enjoka ssebusiru bwazo!
Nze ekitone kyange tekuli bbanja
Ssaakisuubuza nsimbi kuwenja magoba
Era tekitaragga bwe ntuula
Nti kinneetaagisa oluwawu kutemagana nate
N’akimanja bw’alyeyoleka y’alinnyanukula gye baakimpola
Abagujubana bavuganyisa ebyabwe
Baabo nabo mubanyumirwe nnyo
Mujja kunfunanga mutyo
Buli omu mu kiti nga bw’akitegedde
Mwekengere nga mutyo ebinaddirira gye tuliwunzikira
N’obumalirivu banaffe
Gye babuggya okutwerabiza Katonda
Ssebakisa ndwadde
Nkunga terimbika abange mbabbiddeko

Yiii! ensi eno nkambwe!
Abantu, tusuza emyoyo!
Hmmm, ku luno nzikirizza
Kyandiba ne gye bujja
Tebiibe bya mirembe!
Yiii! ensi eno nkambwe!
Abantu, tusuza emyoyo!
Hmmm, ku luno nzikirizza
Kyandiba ne gye bujja
Tebiibe bya mirembe!

Read Walumbe Zaaya Lyrics by Paul Kafeero

Share: Tusuza Emyoyo Lyrics by Paul Kafeero

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

TAGGED: Paul Kafeero Lyrics
lyfer November 2, 2021
Share this Article
Facebook Twitter Email Print
Previous Article Paul Kafeero Walumbe Zaaya Lyrics by Paul Kafeero
Next Article Eddy Kenzo – Signal Lyrics
Leave a comment

Leave a Reply Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Trending

Tina - Shawn Maine ft Joshua Baraka
Tina – Shawn Maine ft Joshua Baraka
Music
Ebiseera Ebyo Lyrics – King Saha
Ebiseera Ebyo Lyrics – King Saha
Lyrics
Maama Lyrics – Judith Babirye
Maama Lyrics – Judith Babirye
Lyrics
Beere Ddene by Wilson Bugemebe
Beere Ddene by Wilson Bugemebe
Music
Kenzo begs to meet Bobi Wine
Kenzo begs to meet Bobi Wine
News
I do lyrics by Jose Chameleone
I do lyrics by Jose Chameleone
Lyrics
Geosteady - Lovenjitis
Geosteady – Lovenjitis
Music
Singa by John Blaq & lydia jazmine
Singa by John Blaq & lydia jazmine
Music
Victor Ruz - Zoya (Official Audio)
Victor Ruz – Zoya (Official Audio)
Music
Ndi Wuwo by Elijah Kitaka
Elijah Kitaka – Ndi Wuwo Lyrics
Lyrics
Subscribe to Our Newsletter

Subscribe to our newsletter to get our newest articles instantly!

You Might Also Like

Ebiseera Ebyo Lyrics – King Saha
Lyrics

Ebiseera Ebyo Lyrics – King Saha

May 21, 2023
Maama Lyrics – Judith Babirye
Lyrics

Maama Lyrics – Judith Babirye

May 14, 2023
I do lyrics by Jose Chameleone
Lyrics

I do lyrics by Jose Chameleone

May 2, 2023
Ndi Wuwo by Elijah Kitaka
Lyrics

Elijah Kitaka – Ndi Wuwo Lyrics

April 30, 2023
Musiclyfer
Follow US

© 2023 Musiclyfer. All Rights Reserved.

  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Tip Us
Welcome Back!

Sign in to your account

Lost your password?