Tulabise by Alien SkinTulabise by Alien Skin
Alien Skin – Tulabise Lyrics

Nasomako ne Kakooza Mutale
Yenze yasoka okuleta wano ne nzige
Yenze yayimba ne Basudde ekyali musabo
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Sagala kulaba begeziwaza (Tulabise)
Ffe tukola mukwesiriwaza (Nyumya nyumya)
Wano eno amagezi tegakola
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Natendeka wano Tito Okello Lutwa (Tulabise)
Natandika olutalo lwa sabasaba (Nyumya nyumya)
Mukyala Bin Laden yenze yamuwasa
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Yeffe abalina parking y’enyonyi ewaka
Yeffe abanywa amata agavudde mu mpologoma
Ne jajja wange ye Prime Minister
Kubanga nekirombe ffe tukirina ekyamafuta

Yenze yakola company ya wolokoso (Tulabise)
Nasaba eddala bwenagwa muchokolo (Nyumya nyumya)
Ba Ssuna Ben nga balidde embizzi mu kawo
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Yenze eyawangula embaka z’okunywa enjaga (Tulabise)
Yenze yasubiza wano nokunye empeta (Nyumya nyumya)
Bakyala babayimbi bona banetega
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Amagye ngasobola nga nze agakulira (Tulabise)
Yenze eyawangula mukuyimba ebitanyuma (Nyumya nyumya)
Anti nayiiya gospel nga wakuwemula
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Awali engege sirya butwa mumukene
Gagisiri ya gabana gisiba ssi mutene
Laba abaChina kati banywedde kwette
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Mu Uganda emotoka tuzigula bina
Bona abakazzi baba bakulipira
Mbulayo kukola ssomero elyobusegu
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Nyinza obanyumiza nemuwoza nyumya biki
Sigatika bya bufuzzi mu politics
Ebyemizanyo byebyanzijja ku sports
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Obadde okimanyi nti cocktail
Kitegeza mukira gwa seggwanga ento
Yenze eyasoma Kung-Fu mubirooto
Nkutisa akaseke yadde gwe olina lubanto

Nasomako ne Kakooza Mutale
Yenze yasoka okuleta wano ne nzige
Yenze yayimba ne Basudde ekyali musabo
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Ewaffe abasezzi baserera mungoye
Era eno amatooke tulima na ga mpeke
Yenze eyayiya ekirwadde eky’ebigenge
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

Eeh nze banzalira mu Kampala
Bwentyo zekweyagalira gyenjavulira
Okuva mu buto nga yenze akulembere kukubamu
Eyo emboozi yo etambuza enkoola

President weggwanga yenze yamulera
Akalulu akwadde yenze yakabala

Submit lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.