All Stars – Toggwaamu Ssuubi Lyrics
Naava & HIlderman
Oooh ooh
Nobody to blame (Tetukulekulira)
It’s the game
The release and trail (noo)
All Stars combination (noo)
Derrick Pro (eh yeah)
Surface Records (noo)
Microphone on!
All
We’re here for you
Toggwaamu ssuubi
We’re here for you
Tetukulekulira lwa bulwadde
We’re here for you
Toggwaamu ssuubi
We’re here for you
Tetukulekulira lwa bulwadde
David Lutalo
Yeah yeah yeah wo wo wo
Eno teba nsobi ya mulwadde
Yadde bagamba nti kirya atabadde, eh
Naye yalabira awo
Ng’amafumu gamufumise enteega
Ndowooza weerabidde nti buli muntu katta
Ky’ova osekerera oli ng’obutunda budda
Naye ku ffenna
Kiba kisoboka Katonda y’ayamba eeh
Ziza Bafana
Eh bakulu mi say
Toggwaamu maanyi olw’okuba nnyabo oli mulwadde
Obwo obulwadde bw’olina tewetaaga nkuwabule
Manya walumbe tatudde atambula engalo agaludde
Siriimu kasenyanku twekuume (Yeah yeah)
A mi sing now
Eddy Kenzo
Yeah yeah, aah
Olwaleero ndi wano naawe
Ekindeese nzije nkugambe
Wafuna akabenje
Naye totya nnyo nsaba obe mugumu
Kubanga, ffe eno tuli naawe
Era essaala, ziri gy’oli, oh oh
Ogenda kuwangaala
N’abaana ozaale n’abalala eh
Tuli naaa…
Tuli naawe
Weetuli
Weetuli
Eeh
Eeh
Dr. Hilderman
Nze ndiwo ni mimi
Ndi naawe n’oyo
Yadde mulwadde akwetaaga
Ate toseka nnyo, eeh yeah
Sikunenya
Srikunenya
Tebakunenya
Tewamanya
Ye gwe anenya
Naawe tomanya
Gy’otambulira
Tebunakya uuh
Maureen Kabasiita
Mukyala wo tomukyawanga
Olw’obulwadde buno obwajja
Mukwatire wamu bambi mukuze abaana
Guma guma guma
Buno bulamu bwo
Bring back your family
I know you suffer
Ray Signature
I have, I have good news for you
Bambi tosinda tokaaba guma
Ebyo bibeerawo you can still live so low, oh
Labirira bulamu bwo
Guma tova ku mulamwa
Wadde bakulekawo labirira abaana bo
Eh eh eh eh (Gravity Omutujju)
Single mummy labirira abaana bo
(Omukujjukujju)
Gravity Omutujju
Bwatyo Nakigudde ye bwe yabuuka n’obulwadde
Yeesiba ku Sekidde olwokuba yali amatidde
Ewataali kusonyiwa ye baamusiiga obulwadde
Nsaba mutegeere mmwe abato oba abakadde
Siriimu kirwadde ekikuttira, mu budde
Katutimbe obupande
Ffenna abategedde
N’abo abakizoleyezza bakimanye nti kibafuludde
Eky’obutaba steady
Kikuleetera obulwadde
Nange ntidde
Anti ntidde
Phina Mugerwa
Olusonyisonyi luno lute lwo lulina okukoma, ah ah
Tebakusibira mu nnyumba
Eddagala olina okulinywa
Linywe linywe linywe, bambi
N’abasawo bye bakugamba
Ofubanga n’obikola, ky’ekyo
Munnange eddagala
Nywanga eddagala
Togaana ddagala
Linywe ng’oyagala
Yeah yeah yeah, (Yiya Moze)
Yiya Moze
Munnange nkukuutira baaba
Fuba kimu noonya eddagala
(Eddagala, eddagala)
Ekirwadde tokikweka
Wejjanjabe osobole era okuwangaala
(Okuwangaala baaba)
N’obupiira tobusuula
Fuba okwambala otaase abalala
(Abalala, abalala)
Weekebezenga (Don MC)
Tewetya manya obulamu bwo (yeah)
Status yo naawe
Don MC
Doctor yakakkuba luli
Nti akawuka mwekali
Olwo mikwano gyonna ne gikugobera eri
Gwe, twaliza muli
Genda eri!
Ne siriimu wo, eh noonya banno
Musajja wattu tokyayagala yadde okulya
Eyali asaba emmere kati oyagala bbaafu
Tukufunire ku butunda?
Nedda njagala bbaafu
Toggwaamu ssuubi
Nyiikira kumira ddagala
Ssi y’enkomerero
Dan Flavour
Maama guma
Leka kutya, lwana makyala
Wadde ng’omwami yakulekawo totya
Kuza abaana
Naona umekonda
Kwa mawazo ya mume wako
Alikufa nawukimi usio gope
Utakuwa sawa, sawa
Sawa
Ooh yeah
Little Tummy
Maama, daddy
Lwaki eby’okuyenda temubivaako?
Buli lw’oyenda njagala okimanye
Ago galwadde ge weetisse
You’re forgetting
Your children will suffer in future
Without your presence
Being impossible, loose hope
Just keep the family together eeh
Aaah ah
No no
Saha, Leone Island
King Saha
Nze mmanyi omanyi
Naye kasita ekirungi omanyi
Mmanyi ofuba olabe ng’oguma, yeah
Sigaanye wabaawo okutya
Bakusongamu emimwa
Buli lukya weeraliikirira
Tuli naawe eyo yonna
Rema
Hmmm bangi batya
Nti banandaba ntya nze?
N’akaaba, n’asinda n’adaaga
Ng’olwo atidde
Nze nkuwa obuvumu leero
Buno obulwadde tubulwaneko oh
You’re not alone
Let’s start as one
And the battle will be won
Naava Grey
Gundi tuli naawe
Buli ky’oyagala ffe kitugambe
Abakusosola baveeko
Bamala kulugwaamu ne bamanya
Nti omulwadde aba muntu
Era, alya ne ku bintu
Kale mufunireyo akantu
Naye abeewo mu buntu
Nange ndi naawe
We’re here for you
We’re here for you
Toggwaamu ssuubi
Weetuli
Weetuli
Naawe
Weetuli
Tetukulekulira
Tuli naa…
Ooh
Tetukulekulira
Noo..
Noo..
No
Read Omwana Wabandi Lyrics by King Saha
Share All Stars – Toggwaamu Ssuubi Lyrics
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.