Tobita Lyrics – Joseph Ngoma

Yeah yeah yeah
Hmmm
Yeah eeh
Ooh ooh
Hmmm

Abantu balina amaziga
Eri ku mitima
Bangi ensi ebayiye
Naye Mukama ayanguwako abasanyuse
Ensi nebwekugaana ng’olina Katonda
Byonna bya mpewo
Gwe laba Yesu baamugaana
Naye amaliriza ye Kabaka
Kati mukwano wummula
Gwe abadde n’entalo mutima
Muleke akulwanire
Entalo zaffe y’azisobola
Nze manyi Mukama
Talireka babe maziga
Y’ensonga lwaki yajja
N’akuwa obulokozi
Oyo aggyawo ebivume
Bano abayonta n’abawa amazzi
Abayala n’abawa emmere
Essanyu ly’akuleetera terikoma

Abalabe bo bangi naye
Abali kululwo bangi okusukka
Olinga abikooye naye
Tobita Mukama asobola nnyo
Yadde ensi ekugaanye
Ekyo tekiggye Mukama ku luuyi lwo
Falaawo yalina amagaali mangi
Naye gonna Mukama yagamalawo

Ono yali mwana wa malaaya Yefusa
Mu kika ekinene
Banne baamugoba abasegulire
Ndowooza baamulaba nga kikolimo
N’adduka olubabu
Teyayomba oba okulwana
Ppaka mu bantu
Bali abatagasa abanyoomebwa
Kye manyi ekikulu
Yali musajja mulwanyi
Ng’era alina Katonda
Kale nga tajugumira
Laba lumu bwe wagwawo olutalo
Mu bali ate abaamugoba
Ebintu bya Mukama bikutabula
Laba ate baddukira ye abalwanire!
Eyalina ekivume
Ndowooza n’abato nga bamusooza
Nga talina awolereza
Yamaliriza y’abafuga bonna

Abalabe bo bangi naye
Abali kululwo bangi okusukka
Olinga abikooye naye
Tobita Mukama asobola nnyo
Yadde ensi ekugaanye
Ekyo tekiggye Mukama ku luuyi lwo
Falaawo yalina amagaali mangi
Naye gonna Mukama yagamalawo

Owooluganda Kasozi namulaba
Era mmumanyi
Ewaabwe baamugoba lwa kulokoka
Haji n’amuwereekeza akabazzi
Ng’era bw’omanyi omusota
Tebikwatagana na mafuta
Ne ssenga we eyali amujunye
Naye n’amusibirako amukooye
Bambi mu kaseera ako
Yakwata ekkubo
N’agamba Mukama
Yonna gy’otwala twala
Yayitanga Mukama emisana n’ekiro
Mu nnaku ennene
Yesu n’asembera yawulira
N’amugamba mbuulira ebizibu byo
Yesu n’amukyusiza oluyimba
N’amugamba nze ndi kululwo
Ne bato be n’abawa obulokozi
Tebakyasaala basinza Yesu mwana wange

Abalabe bo bangi naye (hmmm)
Abali kululwo bangi okusukka
(Eh bangi okusukka)
Olinga abikooye naye (hmmm)
Tobita Mukama asobola nnyo
(Tobita, asobola nnyo Yesu)
Yadde ensi ekugaanye (hmmm)
Ekyo tekiggye Mukama ku luuyi lwo
(Tekimuggyawo Yesu)
Falaawo yalina amagaali mangi (oh oh)
Naye gonna Mukama yagamalawo
(Eh yagamalawo Yesu oyo)
Abalabe bo bangi naye (bangi naye)
Abali kululwo bangi okusukka (bangi, bangi)
Olinga abikooye naye
Tobita Mukama asobola nnyo (asobola, asobola)
Yadde ensi ekugaanye (hmmm)
Ekyo tekiggye Mukama ku luuyi lwo
Falaawo yalina amagaali mangi
Naye gonna Mukama yagamalawo

Read Yeggwe Munnange Lyrics – Joseph Ngoma

Share Tobita Lyrics – Joseph Ngoma

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.