Sylver Kyagulanyi – Tondeka Mukama Lyrics
Ndi mu ddungu bwe ndaba
Ebyange nga byesibye, ooh
Na buli gwe mbuulira ebizibu byange
Tewaliiyo annyamba!
Laba nsigazza Katonda wange
Kuba ye ye yantonda
Oba yawonya, Hannah obugumba
Nange kaŋume
Tondeka
Tondeka Mukama gwe ssuubi lyange
Ŋumidde ku kigambo kyo ky’ekinamponya
Laba bwe ntambula bwenti
Mu kisiikirize eky’olumbe
Mukama eyawonya Daniel empologoma
Nange mponya
Nnoonya
Nnoonya tonkweka maaso go
Nkunoonya
Nkunoonya ndaga omukwano gwo nange
Njagala
Nange njagala nkwate ku munagiro gwo
Ennaku eno ekulukuta Yesu
Leero ekome
Tondeka
Tondeka Mukama gwe ssuubi lyange
Ŋumidde ku kigambo kyo ky’ekinamponya
Laba bwe ntambula bwenti
Mu kisiikirize eky’olumbe
Mukama eyawonya Daniel empologoma
Nange mponya
Nzikiriza nti omukono gwo Mukama tegulemwa
Nti era abakunoonya
Bamala ne bakulaba
Nange siggwemu maanyi
Mukama ntunuulidde gwe
Nga bw’owonya, abalala nange mponya
Tondeka
Tondeka Mukama gwe ssuubi lyange
Ŋumidde ku kigambo kyo ky’ekinamponya
Laba bwe ntambula bwenti
Mu kisiikirize eky’olumbe
Mukama eyawonya Daniel empologoma
Nange mponya
Mukama eyawonya Daniel empologoma
Nange mponya
Ntunuulidde ggwe
Essuubi lindi mu ggwe
Nsaba onnyambe
Nsumulula Mukama aah
Nkaabira ggwe
Omutima gundi ku ggwe
Mukama bwotanyambe
Ani ate ananjuna?
Tondeka
Tondeka Mukama gwe ssuubi lyange
Ŋumidde ku kigambo kyo ky’ekinamponya
Laba bwe ntambula bwenti
Mu kisiikirize eky’olumbe
Mukama eyawonya Daniel empologoma
Nange mponya
Tondeka
Tondeka, eeh
Eeeeh, eeh
Mukama
Nsumulula Mukama
Mponya Mukama
Nange mponya Mukama
Eeeeh, eeh
Ky’ekinamponya Mukama
Eeeeh, eeh
Read Sylver Kyagulanyi – Nzikiriza Lyrics
Share Sylver Kyagulanyi – Tondeka Mukama Lyrics
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.