Sylver Kyagulanyi – Teri Yali Akisuubira Lyrics

Ndabye, ekisa mu maaso go Mukama
Gwe laba ebirungi by’onkoledde
Mu maaso g’abalabe bange
Mukama onnyimusizza
Okyusizza obulamu bwange
Ontuusizza we nali sisuubira
Byewuunyisa, Mukama by’akola

Teri yali akisuubira nti
Teri yali akisuubira
Nange ndifuna essanyu
Ekitiibwa kiddire Mukama
Ka kiddire Mukama oyo
Kuba ye y’amanyi
Amagenda gange n’amadda
Kandye ku birungi
Mukama byampadde
Kaneeliire
Nga bwe nnyimba oluyimba luno

Nasaba, nange onviireyo Mukama
Bangi baaseka aah
Teri yali akisuubira
Nti nange ndibeerako bwendi
Naye abansekereranga, enseko zaabwe
Mukama azibakalizza ku matama
Weebale, weebale Mukama

Teri yali akisuubira nti, eeh
Nange ndifuna essanyu
Ekitiibwa kiddire Mukama
Ka kiddire Mukama ekitiibwa
Kuba ye y’amanyi
Amagenda gange n’amadda
Y’amanyi amagenda gange n’amadda
Kandye ku birungi Mukama byampadde
Kanenywere
Nga bwe nnyimba oluyimba luno
Kaneeliire
Ooh, oh Mukama aah ah

Njize, nti Mukama kyaterese tekivunda
Gwe laba ebingi bye mpiseemu
Agazibu ge mpiseemu Mukama ompanguzizza
Ndi kikonyogo kye baanyooma
Bwe batyo ne bakikasuka
Naye Mukama yakiyamba tekyalaalira
Bwe kyadda, kyadda na bibimba
Teri yali akisuubira nti

Teri yali akisuubira nti, eeh
Teri yali akisuubira
Nange ndifuna essanyu
Nti ndifuna essanyu
Ekitiibwa kiddire Mukama
Kiddire Mukama oyo
Kuba y’amanyi amagenda gange n’amadda
Mukama y’amanyi ebyange byonna
Kandye ku birungi Mukama byampadde
Kaneeliire, kanenywere
Nga bwe nnyimba oluyimba luno
Nabonaabona nnyo ooh
Teri yali akisuubira nti
Teri yali akisuubira
Nange ndifuna essanyu
Natawaana nnyo
Ekitiibwa kiddire Mukama
Natawaana nnyo
Kuba y’amanyi amagenda gange n’amadda
Y’amanyi amagenda gange n’amadda
Kandye ku birungi Mukama byampadde
Weebale, kaneeliire
Nga bwe nnyimba oluyimba luno
Kaneeyagaleko nange
Neeyagaleko nange
Teri yali akisuubira nti
Nabonaabona nnyo
Nange ndifuna essanyu
Ekitiibwa kiddire Mukama
Kuba y’amanyi amagenda gange n’amadda
Yamponya nnyo Katonda wange
Kandye ku birungi Mukama byampadde
Kaneeyagale, kaneekyakalire
Nga bwe nnyimba oluyimba luno
Kaneeyagale, kaneeyagale
Mukama yampa
Teri yali akisuubira nti
Nange ndifuna essanyu, koona
Ekitiibwa kiddire Mukama
Kakiddire Mukama oyo
Kuba y’amanyi amagenda gange n’amadda eeh, eeh
Kandye ku birungi Mukama byampadde
Byonna y’abimpa
Nga bwe nnyimba oluyimba luno
Mukama weebale kaneeyagale
Teri yali akisuubira nti
Nange ndifuna essanyu
Weebale Mukama
Ekitiibwa kiddire Mukama, kikuddire
Kuba y’amanyi amagenda gange n’amadda
Y’amanyi ebyange byonna, byonna
Kandye ku birungi Mukama by’ampadde
Kaneeliire
Nga bwe nnyimba oluyimba luno

Read Sylver Kyagulanyi – Nzikiriza Lyrics

Share Sylver Kyagulanyi – Teri Yali Akisuubira Lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.