Samalie MatovuSamalie Matovu

Uuuuh aah
Ojjukira otya ekiseera kye walimu
N’oyo munno nga mwakeeraba?
Ng’abalala bonna obayita bantu
Naye ye ng’omulaba nga malayika!
Nga mweweereza bu message obw’okumukumu
Mulina n’amannya ge mweyitanga
Ojjukira obuboozi bwe wamunyumizanga
Nga n’oluusi tebuli nayo
Akamuli akalungi ako n’omunegeranga
Nga buli kimu tomujuliza
Waliwo n’ebimu bye mwesuubizanga
Naye watuukiriza bye wasuubiza?

Omukwano gunyuma
Bwe guba gutandika
Sso bwe gukula
Gumanyi okubowamu
Naye bwe gutama
Fuba bugumiikiriza
Omukwano luba nga luyimba
Bannange gunyuma
Bwe guba gutandika
Sso bwe gukula
Gumanyi okubowamu
Naye bwe gutama
Fuba bugumiikiriza
Omukwano luba nga luyimba

Buli lugendo nga bwe luba lutandika
Kuba kwenyiriza na kwekuba buwoowo
Gye biggweera ng’otuuyanye
Nga n’engatto yo ebunye akafuufu
Katonda eyali amanyi nti lulikya
Ne muba babiri ye yabekuumira
Wadde nga waliwo bye mwesuubizanga
Ne mutatuukiriza
Wamusuubiza
Tolimujuza mbeera
Naye yagamba
Oliba wuwe lubeerera
Omukwano gwammwe
Tegulikendeera
Ebintu ebyo oh

Omukwano gunyuma
Bwe guba gutandika
Sso bwe gukula
Gumanyi okubowamu
Naye bwe gutama
Fuba bugumiikiriza
Omukwano luba nga luyimba
Bannange gunyuma
Bwe guba gutandika
Sso bwe gukula
Gumanyi okubowamu
Naye bwe gutama
Fuba bugumiikiriza
Omukwano luba nga luyimba

Ebizibu bibaawo mu maka
Owoomukwano osaanidde omanye
Nti mu bufumbo buli kimu kisaana bugumiikiriza
Olwo amaka ne gatamenyeka
Buli lwe munyiiga mwembi
Ne wabaawo obutategeeragana
Ebyo ebisiriko by’osanga era eddagala lyabyo
Kukuuma buntubulamu
Bino bye mwecangacanga
Ne mwebanja ne byemutakolanga
Ebyo katonda y’amanyi lwe birijja
Kuba ne gye mutuuse temwamanya
Leka kulowooza nti oba walonda bubi
Kuba bye yasuubiza tobiraba
Yakusuubiza naawe n’osuubiza
Ebintu ebyo

Bannange gunyuma
Bwe guba gutandika
Sso bwe gukula
Gumanyi okubowamu
Naye bwe gutama
Fuba bugumiikiriza
Omukwano luba nga luyimba
Omukwano gunyuma
Bwe guba gutandika
Naye bwe gukula
Gumanyi okubowamu
Sso bwe gutama
Fuba bugumiikiriza
Omukwano luba nga luyimba
Repeat to fade

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.