Eh he he eeh, he!
Binnemye, binnemye
Binnemye bigaanye binnemye
Binnemye, binnemye
Ssikyabiddamu
Binnemye, binnemye
Binnemye bigaanye binnemye
Binnemye, binnemye
Ssikyabiddamu
Ntambudde Uganda eno
Border to border
Nga ndaga ebirungi gavumenti by’ekoledde abantu
N’ebisanja ebijja
Ne nsaba muzeeyi akomewo
Naye bbo ne baŋŋamba
Nti ky’afuzeeko kimala!
Baasiimye enguudo ennungi
Ezisasulirwa abeesobola
Amalwaliro agatemagana
Omutali ddagala
Emirimu mu gavumenti egiweebwa abamumanyi
Nti ate n’emyaka ana!
Gy’afugidde mingi nnyo
Abantu baaganye
Ekituufu baaganye
Ntambuzza enjiri yo
Naye nga baaganye
Abantu baaganye
Ekituufu baaganye
Ntambuzza enjiri yo (he he)
Muzeeyi baaganye
Natuuse ne mbasaba
Nti oba atufunire omuntu?
Atambuze, ebirungi by’akoze
Uganda ekule
Esinge ne weebadde
Kko bbo nti aveeko!
Ffe tuneerondera
Nti abaana bannayuganda
Wano baabulwa emirimu
Balaga eri ku byeyo
Ennaku n’ebakommonta
Ekyeyo teri akyagala
Naye ennaku y’ebasindikayo
Bwe baabirowoozezza
Ne bagaana okukwongera obululu
Abantu baaganye
Ekituufu baaganye
Ntambuzza enjiri yo
Naye nga baaganye
Abantu baaganye
Ekituufu baaganye
Ntambuzza enjiri yo
Muzeeyi baaganye
Eno Beats
Binnemye, binnemye
Binnemye bigaanye binnemye
Binnemye, binnemye
Ssikyabiddamu
Binnemye, binnemye
Binnemye bigaanye binnemye
Binnemye, binnemye
Ssikyabiddamu
Omanyi abakwetoolodde
Batya okubuulira amazima
Na bino bye nnyimbye
Byandindeetera obuzibu
Nze nnali muganzi nnyo
Naye okutambuza enjiri yo
Okumanyanga baaganye
Nange bankyayiramu
Kati muzeeyi kye nkusaba
Yiiya engeri gy’ovaawo
Bano ne bw’obagamba biki
Tebagenda kukkiriza
Nze nabatambulamu
Uganda ne ngibuna
Bonna nga bassa kimu
Nti kabeerondere omulala
Abantu baaganye
Ekituufu baaganye
Ntambuzza enjiri yo
Naye nga baaganye
Abantu baaganye
Ekituufu baaganye
Ntambuzza enjiri yo (eeeh)
Muzeeyi baaganye (he he!)
Abakyala baaganye
Abasajja baaganye
Abavubuka baaganyi
Ate abaana bakambwe nnyo
Abali ebweru w’eggwanga
South Africa, America
Dubai ne Canada
Baasusse bakambwe nnyo
E Turkey baaganye
Sweden baaganye
E Sudan baaganye (he he he)
Bannayuganda baaganye (hee hee he)
Abantu baaganye
Ekituufu baaganye
Ntambuzza enjiri yo (he he he)
Naye nga baaganye (binnemye, binnemye)
Abantu baaganye
Ekituufu baaganye (baaganye)
Ntambuzza enjiri yo (baaganye)
Muzeeyi baaganye(he he he)
Binnemye, binnemye
Binnemye bigaanye binnemye
Binnemye, binnemye (binnemyeeee)
Ssikyabiddamu
Binnemye, binnemye
Binnemye bigaanye binnemye
Binnemye, binnemye (binnemyeeee)
Ssikyabiddamu
Abantu baaganye!
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.