Kabaka Antumye Ronald Alimpa Mp3 DownloadKabaka Antumye Ronald Alimpa Mp3 Download

Ronald Alimpa by Kabaka Antumye Lyrics

Kyetuva tukubiriza abavubuka abalina enteka teka
Jim Fresh
Ronald Alimpa
Brian Beats

Kabaka antumye eno wamwe (Kabaka antumye eno wamwe)
Atugambye tuzimbe obuganda (Kabaka antumye eno wamwe)
Abenkima muliwa bamaama (Kabaka antumye eno wamwe)
Abemamba muliwa manywanyi (Kabaka antumye eno wamwe)
Abendiga muliwa mikwano (Kabaka antumye eno wamwe)
Atugambye tuzimbe obuganda (Kabaka antumye eno wamwe)

Twabade kumukolo ogujude ekitibwa
Ffena nga tubunye esanyu
Nasiima natuwa speech
Ffena netumuwa amatu
Yasose kunsonga zebika natukubiriza tukume obuwangwa
Nabato abo betuzadde tubatendeke bamanye obuganda
Nazako ekyabavubuka nti okukola tukukwase manyi
Nakubiriza abato nabagamba munyeze ekalamu
Yasembyeyo akutira abakyala okwekolera mukikwase manyi
Bwegunaba bwegutyo bbeene ajakuba atusiimye

Kabaka antumye eno wamwe (Kabaka antumye eno wamwe)
Atugambye tuzimbe obuganda (Kabaka antumye eno wamwe)
Abengeye muliwa mikwano (Kabaka antumye eno wamwe)
Abolugave muliwa minywanyi (Kabaka antumye eno wamwe)
Abalangira muliwa mikwano (Kabaka antumye eno wamwe)
Abennyonyi tuzimbe obuganda (Kabaka antumye eno wamwe)

Twabivako ebitulabya enaku netuda kubituwa ku sanyu
Ebya Buganda byebituwa kusanyu
Ffena netwerabira enaku
Ebyomupiira tubirina
Masaza cup yatondebwa
Ekigwo gumbya tukirina abalina amanyi bakiwutula
Nafe abamanyi okukoka Bbeene tatusude atusiimye
Abamanyi okukoka Bbeene tatusude atusiimye

Kabaka antumye eno wamwe (Kabaka antumye eno wamwe)
Abeffumbe muliwa mikwano (Kabaka antumye eno wamwe)
Abenjovu muliwa banywanyi (Kabaka antumye eno wamwe)
Abomutima muliwa mikwano (Kabaka antumye eno wamwe)
Abempeewo muliwa banywanyi (Kabaka antumye eno wamwe)
Abomusu tuzimbe obuganda (Kabaka antumye eno wamwe)

Nayimba ntya nze nesitenda
Ssabasajja Kabaka wawano asanira afuge obuganda bwona
Nga nafe era tumwesiga
Semasonga ettano mu Buganda ezisoka kumwanjo
Kukuma namulondo eyo ever yesoka bulijo
Kada kawano tukakume kabe kawano
Obuwangwa nenono tetubisula mpisa zakuno

Kabaka antumye eno wamwe (Kabaka antumye eno wamwe)
Abakasimba muliwa
Abaana bembogo muliwa (Kabaka antumye eno wamwe)
Abempologoma muliwa
Abenkebuka muliwa (Kabaka antumye eno wamwe)
Abe’nte mbagala (Kabaka antumye eno wamwe)
Engo nempindi muliwa mikwano (Kabaka antumye eno wamwe)
Namwena abamanyi oluganda (Kabaka antumye eno wamwe)
Atugambye tuzimbe obuganda (Kabaka antumye eno wamwe)
Awangale ayi Bbeene

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.