• Write For Us
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Advertise with Us
  • Tips
Thursday, June 30, 2022
  • Login
Musiclyfer
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech
No Result
View All Result
No Result
View All Result
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech
Musiclyfer
No Result
View All Result

Paul Kafeero Kiweenenya Amazina Lyrics

lyfer by lyfer
8 months ago
in Lyrics
Reading Time: 3 mins read
0
Paul Kafeero

Paul Kafeero

Kasujja mpa ku guitar eyo eyiyo ennene
Oleete ne solo nkulojjere ssebo
Eyange ngirese yakutuka enkoba
Namba emu ne bbiri
Ng’ate mwattu za bbula
Ne Sanyu muyite abeere ku bbali
Aliba omujulizi nga tufuuse mu colour
Sooka omuwe eccupa ayambuke engulu
Ewa Black Lunkuse atuleetere endigi
Nkubuulira tunywa ng’eno bwe ndya mu ndago
Tusabaggule enkoba kino Mukama yatuwa

Munnange waliwo ennume eyabaka guitar
Neeruggya ku munyolo neeruggulira ku ppata
Yajja n’agetageta mu nnyimba ze nakuba
Ez’ebijjankunene mbu ye gwe nasoma
Mbu n’ekika kale kyamunenya bye yakola
N’obwana obuto bwatandika omutya
Oyo nno eyakuwa amagezi yawubwa
Kuba nze bye nayimba yiiri Kyaggwe gye byagwa
Nze ssebo wange nkumanyi ne gwe nayimba mumanyi
Mwafaananya mannya kuba oli n’okufa yamala
Kasujja kwata omukono ogwegeke ettama
Nsinziire bandabe bino ssi bya mannyo wenu

And Also

Afrique & Rebo Chapo – Amarangamutima

Vivian Tendo – Metta Love Lyrics

Mwami Dicks ssebo gwe awenneena ku makubo
Okumanyiira wasoma naye diguli tewafuna
Naye okwo kw’olina bw’oba okulenze mu bucupa
Nokutwala mu katale siringisi ofuna
Oba ng’owulira nze bwe nayimba nasobya
Situka genda ku mbuga mujje munnone
Oba nteega ku makubo nga bwe wawera
Nti n’amayinja ogamanyi munsange munkube
Nti tova miwambo gya kkubo mw’osiiba ng’ogoma
Bwe weekola ng’ekisolo ani alinenya ng’onkubye?

Nze gwe nakolera yalina emirimu gye
Sikuwenneenya bikolwa atyo
Bya kiseegu bityo ku makubo
Mbu obwana bumutya kati
Lwaki tebuukutye ssebo?
Nga weekolaakola ng’eryomu zoo lyennyini

Mbu wakasuka ebbomu aah yabwatuka kale
Nange nagitya kata ssebo enzite
Ekyakkola obubi olabika toli mutendeke
Gwe olwagwa ku bbomu wamala gagalula
Wandifunye omutendeke n’omwegayirira
N’akukwata ku mukono n’osawuzaamu ku magezi
Kasujja mbuulira naawe oba abantu okufaanana
Luganda lwennyini okumanya ono yafuta
Weefuga otya erinnya okuva e Bule
Ppaka enjuba gy’egwa nga gwe Kasujja wekka?
Kiweneenya amazina okumanya yawera
Mbu lwendiyimba ogwokuna ndimulaba ennyoto
Owange nayimba weebase?
Okuva ku gwasooka ku kyokusatu okukugira
Ng’ozuukuka okuba entama!

Mbu yonna gye mmuyimbira
Nfuna ssente nkumu
Nti naawe ozina n’oyawula naawe zifune
Tolina expenditure nti oba opangisa hall
Tosasula bakozi, gwe weneenya mazina
Dicks oba ng’okimanyi nti sikolangako wuwo
Kati ky’ova ogwa mu bikopo omusajja yadoma
Amaaso kanula am also ready
Okwaŋŋanga ekinaava gyoli mu nkola
Nze nviiraako ddala sikolangako wuwo
N’ewuwo simanyiiyo nze gwe nakolera mmumanyi
Bukya olya myungu
Guno owalampamu mwokyannyama
Sso walampa mpola gy’olaga waziyivu
Ba Dicks bonna emitwe giba gyasala ensalo
Ng’owewuwo alabye naawe n’akuzaala yalaba
Singa yazaalamu eddebe neriterekanga omubissi
Okusinga okufuuka dole y’abaana ku makubo
Obwana bwe bwasekanga ne by’oyiiya okubula
N’owalampa omwokyannyama bakutunge bakulabe
Wawoloma baamanya kati n’obwana buyite
Nabwo ekituufu bwamanya obulimba amazina
Ab’ewammwe mbasabye ekisibo bafunze ku mbuzi
Bakubemu enkondo empya, eno eve ku kibuga

Abayimbi mufube tuvumbulengayo ebipya
Ssi kudda mu kwoza ate munno bye yamala
Ono yalonda ebikamulo bye twanywamu omubissi
Nze nammwe abaagula juulaamu mwongeze
Yayimbangayo bibiri naddira ddala mu biri
Naawe bye wamanya ebijjankunene byennyini
Musajjamukulu oba omutwe gukukonzibye
Towutta tugambe tukuweeyo ka kopi
Ate eyo embizzi gye mulya ku waragi embissibissi
Teyinza kubaganya kuba na kye mupanga
Ye oba okuyiiya kuzitoye ki towummula ssebo?
Teri alivunaana gwe fuŋŋana bigodo

Ate temulimba balabi nze enkwe zammwe nzimanyi
Temuyita ppanya mujje butereevu mundabe
Mbaayo ewange era nkulinze mu ssanyu
Mu wiino oba mu bigambo oba gwe omuntu wennyini
Kiweenenya amazina nkwagaliza eddembe
Era nze akusiibula nze walujjo yennyini

Read Paul Kafeero Dipo Naziggala Lyrics

Share: Paul Kafeero Kiweenenya Amazina Lyrics

Tags: Paul Kafeero Lyrics
Share1Tweet1Send
Previous Post

Fred Owens Zigi Zaga Mp3 Download

Next Post

Paul Kafeero – Dipo Naziggala Lyrics

YOU MAY LIKE

Metta Love - Vivian Tendo

Vivian Tendo – Metta Love Lyrics

2 days ago
Juliana Kanyomozi

I’m Still Here Lyrics by Juliana Kanyomozi

3 days ago
Juliana Kanyomozi

Right Here Lyrics by Juliana Kanyomozi

3 days ago
Juliana Kanyomozi

Wa Kajanja Lyrics by Juliana Kanyomozi

3 days ago
Omukwano Ogw’edda Lyrics by Juliana Kanyomozi

Zaabu Lyrics by Juliana Kanyomozi

3 days ago
Omukwano Ogw’edda Lyrics by Juliana Kanyomozi

Omukwano Ogw’edda Lyrics by Juliana Kanyomozi

3 days ago
Next Post
Paul Kafeero

Paul Kafeero - Dipo Naziggala Lyrics

Leave a Reply Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

TRENDING

Amarangamutima by Afrique & Rebo Chapo

Afrique & Rebo Chapo – Amarangamutima

7 hours ago
Chozen Blood Husband mp3 download

Chozen Blood – Husband

2 days ago
Sinza by Pastor Wilson Bugembe

Sinza – Pastor Wilson Bugembe

2 days ago
Metta Love - Vivian Tendo

Vivian Tendo – Metta Love

2 days ago
Bet awards 2022 winners

Bet awards 2022 winners: Tems, Wiz Kid represent Africa

3 days ago
Kivumbi King - Salute

Kivumbi King – Salute

6 days ago
Prev Next

Follow us on Twitter

About

Musiclyfer is a media platform used to promote and deliver Ugandan music, videos and music content. Providing content from over 30 African countries, it is one of the most visited music websites in Uganda.

Recent Posts

  • Afrique & Rebo Chapo – Amarangamutima
  • Vivian Tendo – Metta Love Lyrics

Categories

  • Blog
  • Kenya
  • Lyrics
  • Music
  • News
  • Profiles
  • Relationships
  • Rwanda
  • Trash
  • Videos

Socials

  • Write For Us
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Advertise with Us
  • Tips

© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.

No Result
View All Result
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech

© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In