• Write For Us
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Advertise with Us
  • Tips
Monday, June 27, 2022
  • Login
Lyfer
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech
No Result
View All Result
No Result
View All Result
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech
Musiclyfer
No Result
View All Result

Paul Kafeero – Dipo Naziggala Lyrics

lyfer by lyfer
March 9, 2022
in Lyrics
Reading Time: 5 mins read
0
Paul Kafeero

Paul Kafeero

Nze ne leero navudde eyo Bukunja gye mutya
Nga nzija ngwirana ne guitar nzize kutabaaza njiri
Nafuuka muntumulamu baana ba ssebo
Eyali omukoonyi w’endigi zonna dipo naziggala
Nga mukumpoomera gunyenyeza n’obulya
Ne ngunywa n’abagutunda ndeka bakutte ku ttama
Ng’abo abatya walagi mbatiribiza entege
Ng’anti tumuwuuta n’okukira ssupu w’enkoko
Gwabanga mugomyo ng’oluusi tukeera mu nkoko
Ffe Dollar tetwegonza nga tuli balenzi ba nnusu
Nga ngusunda n’ekyalo ne nkimatiza
Era okugwa mu ba sheya nze gw’olaba mpitwa ssebo
Nga nina ekiwanga ki lugalika bita!
Okutamiira bi bbiya obucupa nga nzika asatu
Nga tumasamasa kukira bisulo bya nnyange
Ffe totuyita bano ba buyonjo bumboneka ku mikolo
Ne tweyagala ne tulumya buli kye bayita kitonde
Ku nsi ya Mukama ekiwulira nti kyatukyawa
Nga tuli b’amaanyi okusinga ku sabasaba
Ng’era bw’otwaŋanga ekikonde tukikiza pege
Twali kabwa na ngo n’abafuuwa ssigala
Mutufuumuulira ffege tukwamula ekikuwujja, ho!
Ataakulaba y’akugaya
Twakyakaza obulamu
Twabonyabonya ebiwato
Twadigida omuziki
Twayaayaanya ebiwala
Bannange, gwali mulembe ddala

And Also

Picha Lyrics – Grenade ft Pinky

Webale Lyrics by Victor Ruz

Temundaba ebiseera bino okukyayibwa enkumu
Ssebo nali muganzi w’olulyo Olulangira
Nga nkugambye ŋenda ne ntaba e Bukunja gye mutya
Ne mba ng’omuyaga nkoma
Bwe gutabangula abalunnyanja
Mu ddoboozi lyange lino erye mpolampola
Mukama lye yaŋŋemulira ng’oluusi mbeera ne guitar
Ne ndya mu ndago ebiwala ne bijja birigita
Ng’atalina bbina akiri afunya omugongo mulabe
Ddoboozi lyange bwerityo anti lya mpolampola
Mukama lye yaŋŋemulira okuwantagaanjula enjiri
Bannange omwenge ngunywedde ne ngumatira
Naye teri kalungi ke ndabye mu kigambo mubissi
Siringa avumirira oba okujerega abanywa
Naye nkusaba otege okutu ssebo nkulojjera mubissi
Omwenge mperekeze ya sitaani eya namaddala
Oba muyite omubaka gw’asooka okuweereza mu banywa
Ate omubaka oyo amwesiga kyotonalaba
Bw’akuba siyasa ku kikumi wafikka babiri
Ye sitaani n’agenda okutaba mu bano
Ekyenda mu omunaana nga bonna bamufuuyira mirere
N’alamula nga mpaawo amukuba ku mukono
Okuggyako ye okwecca ne yekwatira mu lw’engabi
Vva ne ku ttamiiro luli luguudo lwennyini
Sitaani mw’ajja atuyita ffenna okugwa eddalu
Ekintu ekikuyisa w’osula ate n’ojja opaala
Ogende okonkone eyo gy’otomanyi gubeera mugomyo
Gukukwata ne weezira kigambo mukazi kukusala maaso
Buba bukya ate n’obyejjusa
Gulina n’otuzzi tweweyiwako okunaabuka ensonyi
Gwo tegulina gwe gutiisa maaso omuzira namige
Omwenge!!!
Eyaguyiiya asobola
Tugunywa gusanyusa obulamu
Naye tegututawaanyizza neeyano!

Mu butuufu omwenge ngunywedde ne ngumatira
Naye siganyuddwamu ndabye ntamiiridde bbule
Gwo teguliiko ssente ebeera egumala
Kuba oguwera ku mutwe gwe gulamuza ogukyali mu malebe
Bwe zilaarira ensawo afazaali ogabula engabule
Loodi omanyise Dunia bw’oli omulenzi w’ennusu
Ate nze gwantama kwoya baganzi ku bbali
Era guwoomera njolo nga waliwo gw’ayita mummy
Mu kadde ako akuumira eka afuuka kikazi
Ng’anti ow’eddakiika zooku mubisi akwetibye bugule
Olwo nakyo ne kyanukula kivevenga daddy
Ensimbi n’ofukumula olabye ekigambo mubissi?
Katino bazitusaba ebiri okugumugulira okugunywa
Oluvannyuma nga n’ezokugumuvumula on’ozimuwa
Mwattu gumanyi n’okuziba omwoyo gw’emmere
Gwe Loodi n’oyoya ndigi kwekwo okusikambula body
Beebo b’osanga ng’afaanana ng’ogwaluma nzera
N’embugubugu ne zimugwa obusokoto bw’empale
Teguliiko bulamu bwa nsobi ne bwe wekoona kagere
Olusinzittuka ne bw’oba mulamu bakulangira mubissi
Nti anti ettamiiro
Haa!, omwenge
Akyagunywa n’eyagukoowa
N’asuubira oguyiga weesibe ssatu

Mu butuufu mmekese amazzi wansi w’enjuba
Naye ntamiridde bbule teri ke najja mu mubissi
Abayivu bagukeera n’ojja ogamba
Nti ddiguli z’abagwako baziwenja mu bucupa
Ate tebakulimbanga nti ggwe ofuga kigambo mubissi
Biba biwanga ng’ebimu byo byasala railway
N’osanga oli nga ye ennyindo ogivumba endeku
Ogenda oginnyulula ng’ennyonyi zimukungula empeke
Omulala ng’obugiraasi ye awuuba buwuube
Omulabi ne yeewuunya nti oba alina ye waagusibira!
Kye bayita ‘Hangover’ kwe kukya nga gukugoya
Eyabadde omuntu nga wereeze ng’olukoba lwa guitar
Awo tewaba mulimu oba nga mulwadde wa nseke
Akameeme kamala kakkuba anti obutunda onywa n’eddebe
Kkiriza lwa mpaka ggwe agunywa n’eyagukoowa
Nti kyo kigambo mubissi abanywa tutamiirira bbule
Gututuusa ku bingi nkumu gubafuula mu mpisa
Abadde omuntu n’ojja otaama okwenkana enjuki
Sso bwe guba gwa kigero gulina kye guyamba
Kubamanyi emirimu bw’ateekamu akwazza bukwakku
Naye kiwoomereze bwatyo
Ŋŋamba kasita asukka
Osengejja nkenku
Gutufuula ebyerolerwa
Omubissi!!!

Nze sirina kalungi ke nkungudde mu mubissi
Okuggyako okukyakala n’okudiibuuda ensimbi
Bagereesa kamwakabi, mbu kassa Ssiroganga
Ebyange bya mpuna sembera wendi ngye mbikuwe
Ssiroganga yatuuka ng’asiŋŋaana Kabaka
Awamattuka mu kibira waliwo ekimbe ekyali kimuluma
Yalwala maaso ye omuganga n’amusawula
Kugenda mu nsiko bamaleyo ebbanga lye yamugerera
Amala okuwona era bwatyo n’amukuutira nti “ofubanga nnyo”
Ye muganga akomereza Kabaka
“Tolabwanga ku muntu nga tonatuuka mu Lubiri
Era alikulaba kaalikyogera omusaliranga magezi”
Kabaka olwali okuvaayo ati okwerula ettale
Nga ku Ssiroganga ono musajjawattu ayiga nsolo ze
Olwamukubako ekimunye ky’ava amuyita nti
“Ssiroga, Ssiroganga”
Kko ye nti ‘Ayi Ssaabasajja Kabaka’
“Togezanga n’onjogera bwe wandabako eno
Nga mpamattuka mu ttale gye nva mbadde ku bikulu!
Ssiroganga, Ssiroganga
Kibe kyaama kyo emirembe n’emirembe”

Baayawukanira awo Kabaka ng’adda mu Lubiri
Ng’ajja afumba ekijjulo okwali emyenge n’emmere
Olubaga lwali lwa ndasi nnyo era baajaganya bulungi
Baavangayo kinnoomu bawera mu maaso g’ekkula
Ssiroganga olwali okusuula omwenge mu ttama
Bwe yavaayo yalandukira ku biri byali mu ttale
“Oggundeggunde
Ayi Ssaabasajja oggunde
Ssebo taata nsensebuse
Ondabiranga ddala ddala
Oba tunaggundanga babiri?
Tuli ba kyaama kyaffe okuva mu ttale
Na kati kikyandi ku mutima, oooh!”
Awo nga ne bw’oba ne yirizi ezaava e Bwamba ne Kyaggwe
Tewaali kuwona, ne bw’osaddaaka maguja
Ekyaddirira n’omuto akiramuza bwenkanya
Kabaka n’alagira Ssiroganga kugenda bamutte
Awono we wasibuka eyo enjogera egamba
Mbu ‘kamwakabi kassa Ssiroganga’
Naye ggwe okkiriza otya nti kaali kamwakabi?
Guli gwali mubissi ogwamuwereba emimwa mula
Tegutuweweeza nsusu za mimwa gutubigika njogeza
Gwo teguzibiranga ku kyaama how ovanga ku mubissi
Tugusudde banafu mu ntata guwakula ntalo
Nkugambye gwantama butatya wonna ne ku gwotosobole
Gwantama buzeezeze gwe bujja bugunja
Mu ng’obwerabiza n’okusalirawo ensonga mu lwatu
Wegaana n’embuto nga walya ebya lubaluba
Muno mwegutugwiranyiza okuserula n’obutasaana
Gulina ekidaala kye gukuba abeera yagususse
Okuloola tekulinda lwa mbaga ye ne bw’aba mu kkubo
Nze ngwebaza ebbanga lye mmaze nga nguyiya ku mutima
Ntotobaze amawuggwe ate ku bwongo ne gumbaza zero
Hoo!!, gubadde gundese sseke, eeh!
Awannyu wewaawo
Bwotava ku mulungi ofa ozunga
Na misango kuwoza
Munywe mpolampola anti bwe gubugaana amatama
Kabaka ne gututuusa okutumuyisanga Karata
N’embwa bwe gugikuyissa ‘eŋŋwa’ mpaawo agikutaasaako
Ne bw’okuba nduulu nti “waalaala eŋŋwa ennuma”
Bagamba oyo atema bulali

Siguvimiridde nsaba munkwate bulungi
Sivvoodde kitiibwa kyagwo gwe gw’awasa nnyabo
Gutussa malojjo tugusoma ne ku Yesu
Nga mu byewuunyo kye yasookera ddala ddala okola
Naye abange!
Nga ndokopya!
Ntuuse kwererejjera ku mwana wa Mukama!
Tegunjogeza ebinaayitira
Nze ngunnyuse guntenza bita
Nga ssebukoko buto
Obukunga bye bunaamalawo, oooh…
Leka nkonkone bidongo bino
Abakyagunywa be banaakumba
Nze abange sikyayinza
Baana be banayinza
Musajja wo ssikyasitula
Endeku tekyayimuka
Muwuttule gwe munayinza
Ogunakkuba ebigwo onywa gwaki ogwo?
Mumiime gwe munatuusa
Temukonkona enju zabandi
Kankonkone bidongo bino
Abakyagunywa be banaakunga
Nze abange sikyayinza
Baana be banayinza
Musajja wo ssikyasitula
Endeku tekyayimuka

Read Paul Kafeero Kiweenenya Amazina Lyrics

Share: Paul Kafeero Dipo Naziggala LyricsPaul Kafeero Lyrics

Tags: Paul Kafeero Lyrics
Share1Tweet1Send
Previous Post

Paul Kafeero Kiweenenya Amazina Lyrics

Next Post

Omwana Womuzungu Lyrics – Paul Kafeero

YOU MAY LIKE

Picha by Pinky & Grenade

Picha Lyrics – Grenade ft Pinky

by lyfer
14 hours ago
0

Picha Lyrics - Grenade ft Pinky IntroKayembaToyimba kayimba kamunoKayembaToyimba kayimba kamunoA dis legend production GrenadeOli dagala lya muti...

Webale Lyrics by Victor Ruz

Webale Lyrics by Victor Ruz

by lyfer
18 hours ago
0

Victor Ruz - Webale Lyrics Nkukubila kati tokya pickingaMpulira mbu kati wada MbararaNebigambo mbiwulira, mbu wafunayo omulalaKansabe ogume...

Endongo Ya Yezu Lyrics by Fr. Anthony Musaala

Endongo Ya Yezu Lyrics by Fr. Anthony Musaala

by lyfer
18 hours ago
0

Fr. Anthony Musaala – Endongo Ya Yezu Lyrics AmenHallelujah Aaah ah ahEeeh eh ehAaah ah ahEeeh eh eh...

Lifist by Fik Fameica

Fik Fameica – Lifist Lyrics

by lyfer
3 days ago
0

Lifist Lyrics by Fik Fameica IntroOh my God Bomba make my beatIn my city, party is a must...

Next Post
Paul Kafeero

Omwana Womuzungu Lyrics – Paul Kafeero

Leave a Reply Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Trending

Kivumbi King - Salute

Kivumbi King – Salute

June 25, 2022
Lifist by Fik Fameica

Lifist by Fik Fameica

June 24, 2022
Stream and download One Bite by Vinka Mp3

Vinka – One Bite

June 24, 2022
Image Credits: Rosdiana Ciaravolo / Getty Images

Khaby Lame dethrones Charlie D’Amelio as the most-followed TikTok creator

June 24, 2022
Nkufeelinga by Ykee Benda ft Chembazz

Nkufeelinga by Ykee Benda ft Chembazz

June 23, 2022
Castro - Bone shaker (Sweetie darling)

Castro – Bone shaker (Sweetie darling)

June 22, 2022
Load More

Follow us

Follow us on Twitter

About

Musiclyfer is a media platform used to promote and deliver Ugandan music, videos and music content. Providing content from over 30 African countries, it is one of the most visited music websites in Uganda.

Recent Posts

  • Picha Lyrics – Grenade ft Pinky
  • Webale Lyrics by Victor Ruz

Categories

  • Blog
  • Kenya
  • Lyrics
  • Music
  • News
  • Profiles
  • Relationships
  • Rwanda
  • Trash
  • Videos

Socials

  • Write For Us
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Advertise with Us
  • Tips

© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.

No Result
View All Result
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech

© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In