Paul KafeeroPaul Kafeero

Muganjegeke baana ba kitange
Luno bukyanga gantogoonya
Muganjegeke baana ba kitange
Luno bukyanga bantamiiza
Nange nafunye omwana w’omuzungu
Malidaadi ekimyula omuzuri
Bwe kuba kusoma bino bigezo byadda
Nayitidde na mu First Grade
Nakwanye omwana w’omuzungu
Omuyonjo nga langi y’eggiraasi
Nawonye obuwala obubadde buntabaaza
Nassuuse olumbe lw’oluvenge
Nga buntuzze bufuuse obumbayaaya
Bunziza eri bunziza eno
Ssebo ne bunvuma mbu ndya ne ffene, nze!!!
Wensindulira omwana w’omuzungu
Sigenda kudda mwali mwannyiwa dda…
Butababuulira nali ntegeka byange…
Era temujja ne mukonkona siriiyo
Nze anti kati ntambula kiroodi
Ndabirirwa mwana wa muzungu
Ekirawuli kyange mwana wattu
Nanoonya obwedda nakifunye, oh

Omwana mutono, muwanvu
Muteefu, wa ssimbo, mulungi
Nze kaakati njogeza ssuubi
Nawonye laavu y’amagendo ooh
Omwana mutono,muwanvu
Muteefu, wa ssimbo, mulungi
Nze kaakati njogeza ssuubi
Nawonye laavu y’amagendo mbi

Kati omukwano gwo gwafuuka gwa magendo
Ku alinawo yadde atalinaawo
Bo abagagga bagufunira awo
Mw’eyo engeri ya ssemukuula binnyo
Omwavu bamutwalira kiswazi
Ekiwedde ettiribona ly’emberenge
Oyo naye n’akitwalira awo
Nga bamunnyonnyodde nti nkwagala laavu
N’ajja akkiriza ng’omutooletoole
Yenyumiririza makombo g’omukwano
Ate n’asigala ng’amatira bwatyo
Mu kunyuunyuta ebigaayemu oh
Ensi eno!!!, (ntwo)
Bataayi nga mpanjagidde Mungu
Ankolere ekyewuunyo ndi ku nkwayaaju
Kafeero nga nzunze n’abayaaye
Tebannimbye bafuuweeta birenge
N’otambulira mu kaliggweramu eyo…
Ng’osiimiikiriza wekaza engeri eyo
Ng’azibiikiriza enjawulo y’abalyake
Omukwano ogw’obujiji mponye ogwo
Ogujjira kamasu ng’ezziga lya wammese
Muliyiiya okudda engeri obuto ate
Mu mbeera y’obudde etakyabayinza
Nga gye wali oyinza wasomoka bwotyo
Y’eyo engeri ya ssenakuula binnyo
Nti bye wakuula otyo byazza magoba ki?
Ng’akulaga mbugubugu na nkompe maaso
Nze obwo bu laavu obw’oluzunzozunzo
Nabuwonye ndi ku kimemette kya muzungu
Mbadde nkooye ndi na mbiwejjowejjo
Mpumulidde na mu langi etemanyiirwa
Ebyo bye muzuŋŋanira ku baka basajja
Ku luno ngya kufiira ku muntu aki ya Mungu
Ngy’okutema embazzi oluggi lw’omusajja
Ngatte n’empataanya z’emirabba
Ndyoke mbavumule ebirwadderwadde
Ebyo bye ssaabasiiya bye muneetakulira
Wamma mutemyanga ku baana nga mpitako eyo…
Beerolere ku kimyanso ky’omutiiniii…
Maama teyewulira alamusa bulungi
Mwattu n’abuuzanga engeri empeweevu ooh

Ab’erangi yange babadde bantabudde
Nze nasazeewo nkudde n’omuzungu
Muligunsalira bwe biriggwa obubi naye
Nze ebintu bibadde bintabudde
Namututteko no ewa muzeeyi taata haa
Oli yansesezza yangobye misinde
Taata nange ewuwo sigenda kudda
Nze abo b’onjagaliza bafuuka bayaaye
Bw’olibekeneenya olimpita ngya kudda
Mbikunnyonnyolemu muzeeyi taata
Nandisoose na wa mukadde maama
Walaayi ya Mungu abeera kubaawo
Okunkuba ekiyina eky’olukujjukujju
Nze buli lwe ŋŋanza okugwanga ku nkwayaaju
Nga ntayidde n’emigangatika gya laavu
Temunsekerera baana ba kitange
N’owunnuuna nga ka nakunkunye dda
Batugattika n’obuntu obutaliimu
Aah aye k’obe ng’okutte wa bitiibwa
Nze obwo obuwala obulinga mukoka nabuwonye, hmmm uh

Bubadde bunfuukidde ogwa Kayisaali
Nnyabo w’evujje n’afuuka vujja, hee!
Muli mu ttuntu gugenda okubookya
Kabakaalamidde ak’enjuba y’omu ttuntu
Nze kati seeyagala meketa byuma
Mwe mugira mwesunga emirembe okukyuka
Ba kale mugyesunga oba gigaba bisanja
Mwakafa kolera mulwale n’ebimbe nkumu
Ebyo bye mwekalakaasa ndibatya madda…
Awo musinda bizimba ebitabatujja…
Muwulirize nnyo ndifuna obudde ndibatumira…
Nze gwe nafunye wa ddembe, mulungi
Muteefu, wa ssimbo, muyonjo
Eriiso lya ndege eriwoomu ooh
Ate enviiri zannema okulojja, ha awo

Singa okunyirila lumbe nti lwali lutta
Ye Kafeero mwandiziise wa kikutuko
Ndyoke ndulume nga ndi wa bitundu
Nkyukanye n’embeera zokubudde
Olwo mbave mu lwatu mbakke n’ebuziizi
Mundojje ng’ekyeya ky’essana nze
Nkyankalanye obwongo bw’enkwayaaju
Ezitutawaŋŋanyiza obudde bw’abasajja
Awo muteme endobo mu nkuluze z’omukwano
Ng’ate nze gwe mwejingirako nayiseewo dda
Mujja okulamuza ebitaabatuuke
Tubaseke anti nga bibatippye
Mwewozeeko nga bibaddiza ebibuuzo
Ng’eyazza ogwa naggomola bwatyo
Gubasingire mu kkooti y’omuzungu
Babatyemulire omusango omuzungu
Nga nayita makubo agatta n’ebiseera
Okusuula enkessi z’omutuufu
Laba bwe ngwa ku ttiribona ly’omuzungu
Eritaliiko na mperebejju emanyiira
Ssebo tebalinnya takisi kugenda bulaaya
Ssi kuwena okuganza omuzungu
Ssi kwenaanika nnyota ng’anaatabaala
Nedda gino mikisa ssi kikuŋŋunta
Abo abadongwa mbu ziba mpewo tezidda
Nti ezetooloola z’ezigaba enzaalo?
Oba nga zeeyongerayo zikunsa lwaffe
Zitwale tulirunywa ku muganga olw’e Kyaggwe
Mukama atuusa ebintu mu lusaago
Nze era neewunya endongo baana battu
Ono munnange yansanga ku siteegi
Anti endongo gye nkuba ettula ebirwadde
Na buno obuzina obubasanyusa ennyo
Nabucanganga bumumiza mangota
Bwe yagattako obulungi bw’eddoboozi
Eriva muvubuka atukula maama
Nga buli lwe nsaakaanya emizira ne gitta
Bye yalayiranga saabimanya awo
Bwe namaliriza ng’asembera wendi
Ng’ajja anamusaako engeri empeweevu
Bwe yamala n’ambuuza nti onywa ku kika ki?
Kye namwanukula awo mwe mukyeteebere, hiii!

Yeetoolodde emiryango w’oguzimbe
Y’adda na muserikale ko nze nfudde
Kumbe mwana w’abaloodi
Akuumwa bukuumwa ndi mu bitiibwa
Ng’amwetissizza oguteretebbwa
Ekika ekitalimu kizira maaso
Naye nagunywanga nzita bibuuzo
Ng’anti ambuuza omusono gwa ka dance
Ko nze eyo ye Kafeero style
Naye ne yewuunya obwongo bw’abayiiya
Nange yampaananga mutenda liiso
Awo ne nsaba mutuume ne ku linnya
Ko nze Birimaaso ly’erinamusaana
Ebirabwako bigwana gw’oyagadde
Mu kusiima yampa ndagiriro mukyalire
Ebyaddirira eyo bikwata ku ffe, oh oh
Aah ah, hmmm

Wulira oli abuuza mbu mwali mu lulimi ki?
Kyokka abataasoma mutwonoonera ebiseera
Wamma amannya ge amatuufu ye Kylie Joan
Erya Birimaaso alyagala nalyo ooh
Ŋŋenda okwagala Birimaaso
Kylie andojje ne ku buko e Bulaaya
Yantaasa obwongo bw’enkwayaaju
Munnange yanvumula olumbe lw’abayaaye
Nnyini omuzigo gwange gwe mbadde mbumetta
Ne bulannama ne bufuuwa n’ebirenge
Nkaabira bbiya wange gwe bufuuweese butyo
Bugejjereko amatama
Tebulya nkoko bukuba sigiri bibuuzo
Yiiyi!, aah mbuwonye
Mudde ku kwete mumeketereko emberenge
Nze bye nafisizza bintu bya muzungu
Ekirawuli kyange mwana wattu
Nanoonya obwedda nakifunye oh
Ekirawuli kyange mwana wattu
Nanoonya obwedda nakifunye oh

Hmmm hmmm
Aaah aah hmmm
Hmmm hmmm
Hmmm hmmm
Aaah aah hmmm
Aaah hmmm
Aaah aah hmmm
Hmmm hmmm
Hmmm aah
Hmmm hmmm

Read Paul Kafeero Kiweenenya Amazina Lyrics

Share: Paul Kafeero Dipo Naziggala Lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.