Omwana W’eNabbingo – Eduwado Kayondo (Lyrics)

Twali kawala na kalenzi nga tuli bato
Akafananyi akako nange nkyakalina
Bwetwali ku school ffe nga twesuuba

Twakola PLE mu mwezi ogwa November
Omwaka bwenzijukira bbiri mwenda
N’ofuna buna nange n’enfuna buna
Wangenda Nabbingo ne ngenda e Kisubi

Lwenasembayo okulaba sakusiibula
Twali mukuyimba ezo ezamazaalibwa
Zzi Noeli Zzi Noeli ezamazaalibwa
Zzi Noeli Zzi Noeli zemwategekanga e Nabbingo
Lwenasembayo okulaba
Lwenasembayo okulaba sakusiibula
Nadduka misinde nga bus endeka
Zino zi Tondeka zino zi Tondeka e Kisubi Seminario

Chorus
Oooh Omwana we Nabbingo
Ku College ku college eya Tulinata
Oooh onamenya n’ennyingo
Ng’ozunza ng’ozunza ng’osikasika
Wegendereze eh byonna byokala
Omwana wa Balangira nze gw’obonyabonya
Oooh Omwana we Nabbingo gw’oli eyo nze ndi eno
Nga nsanuuka

Semi Verse 1
Emyaka giyise naye nze wansigalamu
Omutima gwange nze guyoya kimu
Mwana muwala Angelina ow’eNabbingo
Oooh Omwana we Nabbingo oh
Omwana we Nabbingo

Chorus
Oooh Omwana we Nabbingo
Ku college ku college eya Tulinata
Ooooh onamenya n’ennyingo
Ng’ozunza ng’ozunza ng’osikasika
Wegendereze byonna byokala
Omwana wa Balangira nze gw’obonyabonya
Oooh Omwana we Nabbingo gw’oli eyo nze ndi eno
Nga nsanuuka

Verse 2/Bridge:
Bwenkulooza nzijukira ebiseera ebyo
Onzijukiza onzijukiza, ka ffirimu ako
Nagoba bus emisinde kyenyumanyuma
Nagoba bus emisinde kyenyumanyuma
Nga amaaso ngatadde gyenva
Nagoba bus emisinde kyenyumanyuma
Nsibuule ku mwana abaana bansekerera
Nagayaye mu bus negansekerera
Nagoba bus iiiiiiih
Nagoba bus emisinde kyenyumanyuma
Nagenda okulaba abagigoba nga tuwela
Netulinnya boda boda omupiira gwabika
Nga awo kaweddemu

Chorus:
Oooh Omwana we Nabbingo
Ku college ku college eya Tulinata
Ooooh onamenya n’ennyingo
Ng’ozunza ng’ozunza ng’osikasika
Wegendereze byonna byokala
Omwana wa Balangira nze gw’obonyabonya
Oooh Omwana we Nabbingo gw’oli eyo nze ndi eno
Nga nsanuuka

Chorus:
Oooh Omwana we Nabbingo
Ku college ku college eya Tulinata
Oooh on’omenya n’ennyingo
Ng’ozunza ng’ozunza ng’osikasika
Wegendereze byonna byokala
Omwana wa Balangira nze gw’obonyabonya
Oooh Omwana we Nabbingo gw’oli eyo nze ndi eno
Nga nsanuuka

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *