Omwana Lyrics by Juliana Kanyomozi

Ab’eyo kati mbuuza
Ali atya omwana?
Nalonda bulungi nnyo
Mmwe mulaba mutya owange?
Nessim Pan Production

Kati manya onfudde international
Ow’e Uganda
Ogumye mu buwangwa n’ennono
Nti tolinswaza
Nze nakwetimbatimba mu bulago
Nze wammala eeh
Ono ye nawangula lotto, mbasiibula
Love, wateekayo omusingo
Walaga toliimu birimbo
Osomose olutindo
Ppaka wano wetutuuse mu maaso

Ab’eyo kati mbuuza
Ali atya omwana?
Nalonda bulungi nnyo
Mmwe mulaba mutya owange?
N’abeeno kati mbuuza
Ali atya omwana?
Munsiimeko abange
Nalonda nnyo omwana

Nfunyeemu enjawulo entonotono
Bakuzaale kati mu maka muno
Ke kasana akaaka olweggulo
Akawungeezi nfune otulo
Ono owange kaduuka
Tebalamuza ate teri kutunda
Lwe nsobezza temuli kulimba
Olupapula lwo si mupiira
Eradde taata, ono y’empagi yange
Kirimulaala maama, ono ye muntu wange
Obuteebuuza kibi nnyo

Ab’eyo kati mbuuza
Ali atya omwana?
Nalonda bulungi nnyo
Mmwe mulaba mutya owange?
N’abeeno kati mbuuza
Ali atya omwana?
Munsiimeko abange
Nalonda nnyo omwana

Kati manya onfudde international
Ow’e Uganda
Ogumye mu buwangwa n’ennono
Nti tolinswaza
Nze nakwetimbatimba mu bulago
Nze wammala eeh
Ono ye nawangula lotto, mbasiibula
Love, wateekayo omusingo
Walaga toliimu birimbo
Osomose olutindo
Ppaka wano wetutuuse mu maaso

Ab’eyo kati mbuuza
Ali atya omwana?
Nalonda bulungi nnyo
Mmwe mulaba mutya owange?
N’abeeno kati mbuuza
Ali atya omwana?
Munsiimeko abange
Nalonda nnyo omwana

Mbasiibula, emirembe ngalo
Twekwate Holy Father, Father Father yo
Mbasiibula, emirembe ngalo
Twekwate Holy Father, atukuume yo
Mbasiibula, emirembe ngalo
Twekwate Holy Father, Father Father yo
Mbasiibula, emirembe ngalo
Twekwate Holy Father, atukuume yo

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *