By using this site, you agree to the Privacy Policy and Terms of Use.
Accept
Musiclyfer
Aa
  • Music
  • Lyrics
  • News
  • Biography
  • Trash
  • Upload
Reading: Omuliraano Lyrics – Kajubi Kibijjigiri
Share
Aa
Musiclyfer
  • Music
  • Lyrics
  • News
  • Biography
  • Trash
  • Upload
Follow US
© 2023 Musiclyfer. All Rights Reserved.
Lyrics

Omuliraano Lyrics – Kajubi Kibijjigiri

By lyfer Published October 17, 2022
Share
Kajubi Kibijjigiri
Kajubi Kibijjigiri

Mundeke nakakasizza omuliraano ekigukuuma bwesigwa
Era muliraanwa wo yandibadde alinga muganda wo
Waliwo okuliraanya enju ng’emyoyo tegikuuma bwesigwa
Ekintawankanya omuliraano eka nalese gusattuse
Kati nasenguseeyo abadde amaze okuzimba kiruma
N’omukazi yannobyeko abadde alima okkira tulakita
Kalunsambulira avudde ku babbi abatakoowa kunziba
Bannange omubbi w’emmere muntu mubi nze sitera kucamuka
Gwe wiiki ewedde amatooke mwenda ninga abalimira!
Nebwenagenze kuwemuka nswaluke mu nsi bannange weetamwa
Kko nze ka nsule nga nkuuma
Ndabe agayunja angweko

Omukadde wa kuno akwasiza ku mmere ye ani aluwakanya?
Nakeeranga nnyo nnima mu bitooke omukazi abisalira
Ye waayita mmeka kaali kawungeezi enkuba esammuse
Ne mpulira omugogo enzivuunika eri ng’ettooke litemwa
Kyenva nsaayirira kabuuti yange n’effumu ngaludde
Kko nze ne mukwatako Kabaka Bemba ebyenda mbifulumya
Nali mutuukako nti ne mmukanga nti ayi nnyaabula!
Yagwa kya bugazi kko nze togenda kudduka nkufumise
Twenyodde, bukyanga mugayunja lwa leero
Katonda gyali, mbadde neebuuza anziba bulijjo
Leero lwe ntegedde
Nkukutte lubona kabakuŋaane, oyambulibwe
Bw’oli mukamusajja lukoleere
Ne balo ategeere
Nti kyova onyirira matooke g’obba
K’abaffe bakoozimbe
Nnyini atiribiza ebbina bulijjo
Ng’obubbi kwe kitudde
Ekyalikugezza!

Abakyala mwe nnyina sitaani ku nsi temusaana kunnenya
Laba eyali agaludde effumu lyange nva wa nfune ekisa?
Bw’atandika okukaaba maama we nva emmeeme entabanguke
Yetonze, nkwegayiridde tondoopa
Ne baze mukambwe mulungi
Omutwalo gwe nina ka ngukuwe
Naye tolowooza gwa nsimbi
Ndi ku mukandala gwe ŋamba
Nguwaddeyo ssebo wetiiye
Naye wetiiya bulungi
Nga tokoze ttima
N’obudde bwa nkuba
Baze ajja kummanya
Omanyi obudde bw’enkuba
Bumala ebita embuga
Bw’akoona ku bita, kko nze katujje
Nkulage abaseenene ne mmulaga fire!

Mwattu enjogera ennungi kya bulijjo ekuleka owuluttuse
Ne muka muliraanwa eddoboozi lye nno mwalimu ekidugizi
Bw’antenda okulima ennyo n’obusungu simanyi gye bwalaga
Kko nze okomangawo ebyange by’ebibyo tokyabba bubbi
N’akatooke k’onnyaze ku by’onkoledde kaleke oteme lino
Kye nva mmuwunzika mulengeza erya kibuzi e buvanjuba
Tuba tukyali mw’ebyo twerigomba antonera mutonera
Mpozzi ne muliraanwa mwami Kagga obwedda atukeneka
Akanaafa kaggala amatu kuba mpaawo na kye nawulira
Nalaba amboggolera kabuuti yange n’effumu abiwambye
N’enduulu n’alaya bukyanga munjooga luno mbakutte
Okukyusa amaaso nga n’omukyala ow’eka agatwegese
Ng’olwo nninga ekikami

Ngya kwagala guitar obulamu bwange era tegenda kunnyiwa
Muliraanwa lwansiba saasula munda ng’erinnya likola
Kyenva nkeera nnyo nyinyonnyole ku b’awaka ekituufu
Nasanga na bwana awo ne mbubuuza nnyammwe aliko wa?
Mbu yagenje ne muliraanwa mwami Kagga akaceera kayice
Kyenva nnyambukayo nasanga waggale mulimu akalaadiyo
Nga ke kayimba mbu okwagala muka omusibe
N’olukono osimba
Mbu mbadde y’eyakumpadde
Nze tonsokoola bigambo
Kyenva nsaanukula omulanga nti woo onzise Nabweteme!
Laba amaka bwe gasaanye obwenzi lumbe butakuuma bwesigwa
Ne muka muliraanwa mukyala Kagga nsonyiwa nkusonyiwe
Teyali ntegeka ye mukazi wattu ampe ekya Mikayiri
Bwali bugenyi bwa nsanafu ffembi ne tugwa mu mankatabbu
Kyenva nfundikira omuliraano ekigukuuma bwesigwa
Atakikutte linda okuwemuka

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

TAGGED: Kajubi Kibijjigiri Lyrics
Share this Article
Facebook Twitter Email Print
Previous Article Kajubi Kibijjigiri Ekiva E Bulaaya Lyrics – Kajubi Kibijjigiri
Next Article Kalifah AgaNaga Mina Konda Lyrics – Kalifah AgaNaga
Leave a comment

Leave a Reply Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Trending

Liam Voice
Dear Bestie – Liam Voice
Music
Mutima by An Known Prosper
Mutima by An-Known Prosper
Music
An Known
Taata by An-Known – Mp3 Download
Music
Matayo Allan Hendrik
Matayo – Allan Hendrik
Music
Kansalewo by Sheebah
Sheebah Karungi – Kansalewo
Music
Zig Zag Fred Owens
Fred Owens Zigi Zaga Mp3 Download
Music

Top Lyrics

Seen Don Lyrics by Ronald Alimpa
Seen Don Lyrics by Ronald Alimpa
Lyrics
Majje lyrics Azawi ft Fik Fameica
MAJJE Lyrics by Azawi ft. Fik Fameica
Lyrics
Kanzunzu by Fik Fameica
Kanzunzu Lyrics by Fik Fameica
Lyrics
Nkufeelinga Lyrics
Nkufeelinga Lyrics by Ykee Benda ft Chembazz
Lyrics
Ogwo munanansi by Fabie Eraikie
Munanansi lyrics by Fabie Eraikie
Lyrics

You Might Also Like

Vako - Alien skin ft Yung Mulo
Lyrics

Vako Lyrics – Alien Skin ft. Yung Mulo

March 21, 2023
Did I die - Hatim and Dokey
Lyrics

Did I Die Remix Lyrics – Hatim & Dokey ft. Sheebah, Feffe Bussi, Vampino & D’mario

March 21, 2023
Kalifah AgaNaga
Lyrics

Ekitangaza Lyrics by Kalifah AgaNaga

March 20, 2023
Ndugga Bamweyana – Ani Mutuufu Lyrics
Lyrics

Ndugga Bamweyana – Ani Mutuufu Lyrics

March 12, 2023
Musiclyfer
Follow US

© 2023 Musiclyfer. All Rights Reserved.

  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Tip Us
Welcome Back!

Sign in to your account

Lost your password?