Paul KafeeroPaul Kafeero

Simanyi eby’eno Mukama takyawuliza?
Tuyaayaanye akanyego ssikyakwasa
Mpulira obulumi obw’ekika ekikambwe nze
Ne bwe mpoloma kitange takyampuuna
Guzibu nnyo gwatwetibira ekyasa kino
Gwasooka mu bato mu ngeri ey’olusaago
Gukubye reverse okuggyayo abakyayonka
Oguzibu gwe gumu ogufuŋŋanye abakadde wano
Lukonvuba ddala mpaawo anaavumula
Lulina ebbeetu lunaawuka ne mu b’ebweru
Ne lwegiriisa nga mpaawo agaana nako
Kigambo kya nnaku ensi etulaza wa eno?
Nvuga reverse oba ŋŋenda maaso?
Olulimi lwange oddobonkana engeri ng’eno
Lwe njagala n’okukira enkoofiira
Ensooka ku mubiri mu byambalo ewange
Mulabbayi ono atuwubya ssaaya oyo?
Ow’engeri ez’ekijambula nga zino
Z’ajja awagika mu mbeera ey’enteeko
Ffe ne twetaaguulira empya mwe tuzaalwa nate
Lwaki olulimi lufuuse ekitakyasanyusa?
Ffe kennyini tulufudde ekidibo mumbwa
Nga buli ayagala n’ensolo tuzisanga omwo
Ne tubeera nga ffe ensi mwe tutakyazaalwa!

Read Tusuza Emyoyo Lyrics by Paul Kafeero

Nvuga reverse oba tugenda mu maaso ?
Olulimi lwange oddobonkananga luti
Lwonna ne lufuuka ekitakyasanyusa?
Ffe kennyini tulufudde ekidibo mumbwa
Nvuga reverse oba tugenda mu maaso ?
Olulimi lwange oddobonkananga luti
Lwonna ne lufuuka ekitakyasanyusa?
Ffe kennyini tulufudde ekidibo mumbwa

Buli asobola ajja kuwa ekirowoozo wano
Tubuulirize nnyo mu bakadde n’abaana
Tuzuule ekiritwawula mu bagwira ffe
Tufune n’ennyota etugatta wano mu by’enjatula
Nze kye mmanyi ekiyinza otukola enjawulo
Nkulamuse eradde onnyanukule mmaamu
N’abuuza agandi nti ni marungi batyo
Buli omu amanye munne obuvo n’obuddo
Jjuuzi nva wano ŋŋenda mu z’ebweru
Nzigukidde London natuuka n’e Germany
Obwongo nasimbula na bwa njawulo
Naye bali bandoga olugambo nze
Bwe luba Olungereza ddala lubeera olwo
N’owe Germany ng’ali mu lwa boobwe
Okukyusaamu mpozzi abeera ayamba ggwe
Thempunyuwunyu ezizungira gye tutalirya bibanja
Okuva mu bajamaica naggukira Cairo
Ekibuga ekikulu eky’ensi gye bayita Misiri
Olwabwe balusinza ngeri ya ddiini
Gwe muwazi mwe bayita okwogera n’Omukama
Geraageranya ebya wano n’ebye Misiri
Bayizi ba University ba nambula nnyo nnyo
Baava Uganda naye bawangukira mu lw’e Misiri
Ng’eza wano tuzifudde ekidibo mumbwa
Gye bayita summer nnimi z’abazungu
Kwe kw’omusana mu mbeera y’obudde
Lwe ntuuka ku lukalu lw’e Misiri
Ne nsanga enjawulo okuva gye mbeera eka
Bakuŋŋaana nnyo mu bifo eby’enjawulo
Ne bayita omukungu ddala ow’amaanyi
N’abatendeka okwagala ensi yaabwe
N’omuto akugamba nti teri nsi esinga eno
Ffe tuvuga reverse oba tugenda mu maaso?
Eggwanga lyaffe oddobonkana engeri ng’eno
Bannange ne lifuuka ekibuza adigida
Ne tubeera nga ffe ensi mwe tutakyazaalwa

Nvuga reverse oba tugenda mu maaso ?
Olulimi lwange oddobonkananga luti
Lwonna ne lufuuka ekitakyasanyusa?
Ffe kennyini tulufudde ekidibo mumbwa
Nvuga reverse oba ŋŋenda mu maaso?
Olulimi lwange oddobonkananga luti
Lwonna ne lufuuka ekitakyasanyusa?
Ffe kennyini tulufudde ekidibo mumbwa

Nvuga reverse oba ndi ku lwa maaso?
Ennimi z’ensi yange oddobonkanga ziti
Nze nzire mu kulozoolera ng’ente
Wateekwa okuba ekikyukamu ku nsonga eno
Oba nga ne ba wansolo balina ezaabwe
Ez’obuzaaliranwa ziyite ennono ez’enjawulo
Ani yali awulidde ente eboggola ng’embwa?
Mmwe abategeera ne mulemwa okwekakasa ezammwe!
Byazibuwadde simanyi anaajulira
Omusango guno ajja ogenda oguwoza
Tugenda okweziribangira mizoobe wano
Lulimi ki lwe twekakasa lwe tunaakozesa?
Namujinga yasooka mu bayivu bannange
Okukwata emiggo okulukubira abaana
Mbu bbo ennimi babangulira mu nzungu!
Omwana n’ava buto nga yenyiye olulimi lwa boobwe
Ndimumatiza ntya oyo bw’amala odusoma
Nti aah lwe bakkubira ssi lulwo kyusa nyweza luno
Kye bava batwegaana bwe bamala ozisoma
Ku bubaga bwabwe beekulisiza mu z’ebweru
Nsaba ontegeere bulungi ssivumirira nzungu
Nnimi z‘abagunjufu tuzaagala nnyo nnyo
Naye ki ekibagaana otufissiza akadde?
Olwaffe okulutusomesezanga abaana
Mulyoke mutunaawulize ez’okumbalama zo ku mazzi
Ez’emisaayi emitabike emizira, buvo na buddo
Abajja okusuubula amasanga n’abaddu
Baakutwalanga lwa mpaka yagala oba onogaana
N’emize gy’ekiriisa maanyi ndaba gyava eyo
Ne gijja gibuna amawanga ga boobwe
Wano tegyaliwo twali ba ddembe ffe
Mu lulimi lwa b’osiimye oyogereza mwogereze
Twandikulembedde enkalala z’abayiga
Gye buva ne bwenkana abe bakuyita ani wano?
Mu kweyogerako bwe tusooka amannya
Mu ggwanga lyo galambulula ensibuko
Ssikyogeza nkiso waliwo abantu wano
Abakulu ddala mibiri n’emyaka
N’avuya tasobola kulambulula mboozi
Ddakiika bbiri ng’ajabiikiriza bintu atyo
Nze ndaba ng’ebintu bino tubikoza fujjo
Ffenna Omunankole, Omucholi n’Omusoga
Zino ndyo zaffe twebulizabuliza bwereere
Mwekakase ennimi zammwe muziwe ne ku kitiibwa
Ne mulyoka musoma ne mutuuka n’eyo simanyi wa
Okukubuuza ewammwe ng’oyanukula ttaboya
Ne mwedibiriza mutyo obuvo n’ensibuko
N’ebyokuluseebenju obabuza enjatula

Tukuza nsi yaffe oba tujerega gidibya
Okudaabaada mu nnimi Abadama n’Abakedi
Basebei mmwe Abaganda n’Abanyoli
Kiki tulinga ffe eno mwe tutakyazaalwa?
Tukuza nsi yaffe oba tujerega gidibya
Okudaabaada mu nnimi Abadama n’Abakedi
Basebei mmwe Abaganda n’Abanyoli
Kiki tulinga ffe eno mwe tutakyazaalwa?

Tulina emikolo wano ewaffe egy’enjawulo
Mu nga kigambo kuwasa kiwanvuwa nnyo nnyo
Okuva mu kwogereza awo tugenda okyala
Tuutwo kwanjula, okuwayira omuzigo n’okuzza
Munaffe eyakenkuka engwira eza bwino
Kaasuzekatya mu buwangwa bw’e Germany
Oba okulya embuzi mu buguumi bw’omwana
Babyogera batya naffe twagala obimanya?
Tuziika, twabya ennyimbe, twalula abaana
Twawula ebiggya, amasiro ku malaalo
Tulina ebika, emiziro noobuddo
Era tuboolagana wano okutangira ebivve
Eby’obuwangwa byonna tuli mu nsenso
Ggwanga mujje egenda kwesibya abazina
Emibala mugenda ogiyita embuutu
N’ezitukunga embuga muzityabule muwogola!
Anti mwe zonna muziyita ŋŋoma ezivuga
Olulimi y’empagi okwetooloolera ebintu ebyo
Gwe muyondo ogunyweza n’okuwunda endabika
Era y’ensandaggo ekugira obuvo bw’ensenso
Munoonya kya bugagga ki ekisinga kino?
Ekyatugemulirwa okuva mu ngalo za Mungu
Mutandike okikubako obululu nga mmwe
Musamweswamwe okutongoza engwira nate
Ddiini ki esomwa abateeseza ensi eno?
Wabula abaasoma mulina engeri gye mulya ssente!
Eyo nayo nsonga esasulirwa obudde?
Ku nnimi ze tulina wano okusukka mw’ataano!
Kunaaba kuyiikiriza oba kufutyanka kijoozi
Ebifo by’obuvunaanyizibwa kibeera kya kivve
Okiwa eyakenkuka olulimi lwa boobwe
Nga kimenya na tteeka obutawanuuza ku z’ebweru
N’owulira abakaayanira okukulembera ensi eno
Nga talina lulimi lw’alambulula nga ye
Enjogera bbiri ng’atankanira mu lw’abandi
Leero n’avuya nga n’abawulira tebafudde nayo
Oyo jejjerebu ajja babuza embiibya
Mbu gundi muyivu ezaffe zaabalyako ki?
Oba olwa jajja wo lwa kitumbaavu
Mugende babazzukuze gye mukoppa ze mufukumula
Buli adibaga olulimi lwe mukaafiiri
Mu njogera ennyangu oba mulyazaamaanyi
Ekitangaala ekimulisa obuzaaliranwa
Ki mukitabiikiriza ate okukifuula enzikiza?
Ki mukitabiikiriza ate okukifuula enzikiza?

Lulambika empisa olulimi terwogererwa
Omuwaganyavu n’omwetowaaze lubaawula enjatula
Lukutunda bw’olukakaayukanya ekifamukoko
Sso terulina kye lulemwa kuba luwulirwa ne Mukama
Wano ebizimbe byo mu bibuga bi ganaakwoleka
Omukyakalirwa abanene ab’ebbeeyi
Abituuma amannya bw’abeera azaalwa wano
Mukama wandizzeemu otuweereza Omulokozi
Nnimi ki ezo?

Nnyini kiggwa y’akiweebuula bannange
Teri agenda kuva mu nsi z’abandi
Okujja otutendeka okwagala ebyaffe
Ogwo omulimu gwaffe n’eri be tunaazaala
Oba nga ne ba wansolo balina ezaabwe
Nakugambye tebanga nte eboggola nga mbwa
Ffe ezaffe ne tuzifuula ebidibo mumbwa
Okubeera nga ffe ensi mwe tutakyazaalwa

Ngya kudda nzikaatirize ensonga eno
Nga mpulidde ekiva mu bakulembeze n’abafuga
Abatebenkeza obuwangwa n’abanaddiini
Ennimi ne gye zaasibuka ngya bibagamba amadda
Ngya kudda nzikaatirize ensonga eno
Nga mpulidde ekiva mu bakulembeze n’abafuga
Abatebenkeza obuwangwa n’abanaddiini
Ennimi ne gye zaasibuka ngya bibagamba amadda
Abankuumire

Nvuga reverse oba tugenda mu maaso?
Olulimi lwange oddobonkananga luti
Lwonna ne lufuuka ekitakyasanyusa?
Ffe kennyini tulufudde ekidibo mumbwa
Nvuga reverse oba ŋŋenda mu maaso?
Olulimi lwange oddobonkananga luti
Lwonna ne lufuuka ekitakyasanyusa?
Ffe kennyini tulufudde ekidibo mumbwa

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.