Nakooye okumira amalusu nange
Nakooye okutunuulira abo abalina abaabwe
Nebasolobeza nga nze bwensaalirwa
Nasomose omugga gw’abaalemwa
Nengobera kulukalu lwaabo abawanguzi
Kati nange bwentuula mu bantu mpulira njaamu
Byona byona byebabadde bansuubiza
Ensi n’eggulu olwo nendoba
Mbifunidde mu kino etitereke ky’omukwaano

Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe
Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe

Kati mukwano nno tuula ogume okakkane
Nze omanyi ndiba wuwo kiro na misana
Endowooza n’omutima gwange siribikyuusa
Buli wonjagalira mukwano ndibeeraawo wooli
Ebikuluma ng’ombuulira nange nkubuulire ebyange
Akaseko akalungi ku maaso ago tokamalangako bwooba oli eyo
Kimanye nti nange eno gyendi nsigala nkalinze mukwano

Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe
Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe

Njagala tufune ekiritwaawula
kubalala abaliyo abeeraga mbu baagalana
Nga kumbe bwebadda ewaka babeera mukuwoza misango
Tusabe lugaba atuyambengako
ebituteganya abitumenyeremu mukwano
Oyo yasinga abasinga naffe bwetumwesiga anatuwanguza
Oohh sember’eno (omulungi)
beera kumpi Okumpi nange,
tombeera bunaayira
Sember’eno (omulungi)
beera kumpi
Oooh, tombeera bunaayira

Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe
Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe

Share: Oli wange Lyrics Rema Namakula

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.