Ogenda by Bobi Wine mp3 imageOgenda by Bobi Wine mp3 image

Ogenda Lyrics by Bobi Wine

Verse 1
Ekindese banange abampuliriza
Ntembedwa bigambo bya Ssebadukka
Eyasomera Amin ebisembayo
Mumyaka jensanvu nga bamujako
Nzize kusomera musaba nebasajja be
Olwebyo byebatukoze
Mutulugunyiza ensi nemukamala
Eggwanga nemulinyaga
Mwalimbalimba banamwe bemukulembera
Nga mubasubiza eddembe elyesalirawo
Nobasubiza okugoba ababba obululu
Nemubasaba nabaana ogenda munsiko
Nebabawa abaana ogenda munsiko
Nabandi nebafirayo
Naye watuuka kubufuzi nofutubala
Nofuka muntu mulala
Kiki watuka kubufuzi nolemerako
Sso nga byewali ovumirira
Abakutusa kubuvuzi obaziba emimwa
Nabalala obatugumbula
Okulonda mwakufula kwakujerega
Akalulu akamazima nokakumpanya
Abavuganya abandi nemubasiba
Nabalala nga obatemula
Abamu mubatta kyele ensi yona nemanya
Abalala mubatta kyama naye Katonda namanya
Alitisa ekitala kyekirimulya
Alitisa amasassi gegalimulya
Newefula omufuzzi owoluberera
Sso nga byewali ovumirira

Chorus
(Ogenda)
Musajja mukulu olina okugenda
Wadde wanyaga akalulu nobichangachanga (Ogenda)
Nze nkakasa nti olina okugenda
Amanyi gabantu galina okutwala (Ogenda)
Musajja mukulu olina okugenda
Wafuuka nakyemalira bakukoowa wona(Ogenda)
Emundu zotisa abantu nga bwezakuleta bweziyinza okutwala(Ogenda)

Audio: Ogenda by Bobi Wine mp3 download

Verse 2
Bwebuba bugagga bwo bwewajja mukutuyana
Oba kumukyala wo bwewabawo akuzoganya
Olwana nekatonda akuyambako
Kuba okulwana kyekiba kidako
Naye kiki obonyabonya bano bwemuvuganya
Olwensi yabwe nabo mwebazalibwa
Olaba waleta panda gaali eza Drone
Byewalangira Obote wabidamu
Katonda ali omu eyakola eno ensi neggulu
Yekatonda yeka buli muntu gwasaba
Naye eddini mwetumusabira ziri ntoko
Lwaki eddini teri emu buli muntu jasaba?
Katonda alina amanyi agasembayo
Ayinza okuzikiriza ensi neggulu nga bwalabye
Teri kimulema nawo kunsi neggulu
Naye tafosinga bantu kumusinza lwampaka
Yatulekera edembe twesalirewo
Kyeyava alika sitaani natamuzisa
Nga yeminzaniye yye jabakozesa okulaba abamutya nabatamutya
Kyenva mbuza gwe ssebo atutigomya
Omuntu obuntu eyava mutakka obutakka
Katonda gweyatonda bwati nomukono gwe
Lwaki okaka buli omu okukusinza olwempaka

Chorus
(Ogenda)
Musajja mukulu olina okugenda
Wadde wanyaga akalulu nobichangachanga (Ogenda)
Nze nkakasa nti olina okugenda
Amanyi gabantu galina okutwala (Ogenda)
Musajja mukulu olina okugenda
Wafuuka nakyemalira bakukoowa wona(Ogenda)
Emundu zotisa abantu nga bwezakuleta bweziyinza okutwala(Ogenda)

(Police has a right to shoot you, and kill you)

Verse 3
Ebyajisa bano kubufuzi wabimanya
Byebimu kati nawe byoliko
Okumalira abantu mumakomera
Ngatebawozeza wabula osiba busibi
Okwegagawaza nga oyita mubukenuzi
Nomululu gwokufugga nga onyigiriza
Abakulira amaddini nobakijanya
Nabalala nga obatemula
Katonda munyivu nyo olwobufuzi bwo
Kyava akute ekisakye nakikujako
Banamawulire edembe nolibajako
Facebook mu Uganda nojisalako
Ensi nojifula nga ekyobugagga kyo
Nojifula nga ekiraalo kyo
Obugagga bwensi bwona nobusalako
Mubugabana gwe naba family yo
Nze nali Kigolobya juuzi, jebasima amafuta naye nga obwavu bungyi
Wabatekako emundu, bona nobagamba nti mwe gano amafuta gange

Chorus
(Ogenda)
Musajja mukulu olina okugenda
Wadde wanyaga akalulu nobichangachanga (Ogenda)
Nze nkakasa nti olina okugenda
Amanyi gabantu galina okutwala (Ogenda)
Musajja mukulu olina okugenda
Wafuuka nakyemalira bakukoowa wona(Ogenda)
Emundu zotisa abantu nga bwezakuleta bweziyinza okutwala(Ogenda)

Outro
Nze nkimanyi nti olina okugenda, Nga bona bankyemalira bwebaze bagenda(Ogenda)
Era nkakasa nti olina okugenda, kati nebyokola biraga anatera okugenda(Ogenda)
Mwatufuga lwabutamanya, naye twababuka kyetuva tutabatya(Ogenda)
Wekyusiza bakubudamwa, namataka gabantu nemuganyaga(Ogenda)
Nemuwamba nabavubuka, nemukwata nabazzi gyemubasiba(Ogenda)
Nebuuza nejoja notulo, laba abaana babantu botilimbula(Ogenda)
Nze nkimanyi nti olina okugenda, Nga bona bankyemalira bwebaze bagenda(Ogenda)
Now this goes to P.O BOX 1 Entebe, enzibe

Hottest lyrics right now!!

ūüď£ Do you find¬†Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.