Here are the correct and complete ‘Obulungi Bunnuma Lyrics by B2C, read the lyrics below and sing along.
Nzigwawo lwa buwoomi
Hmmm, hmmm
Nessim Pan Production
Julio
Eka we nakulira tewaali basezi
Twazannyanga kakebe nalya ku binazi
Obukwansokwanso, mpafu, namungodi
Kyova olaba nasoboka nakula bunoni
Oluggya lwali lugazi nga twayasa ennazi
Twakubanga ne dduulu twali bapimi
Nga taata musiibi ate maama musabi
Ffe b’olaba Katonda yatukuuma bugubi
Eka twali balunzi ate twali balimi
Nga tusiiba ku mata tusula ku magi, yeah eh
Lee & Julio
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Bobby
Eh, baatupimisa ruler nga batutonda
Twakulira ku mupeera na butunda
Chai wa kisubi anoze akajaaja
Nga ssenga mutunzi y’atukuba ekikumba
Nze gw’olaba mu budde bw’ekiro nga nnaaba gookya
Nga twota ku muliro tuyanika ebikunta
Twakulira wagimu ffe twabala
Twalimanga n’emmwanyi zi nakabala
Ebinyeebwa twabyanika nga tubisekula
Twakulira ku muwogo z’ensusu ze twakola
Lee & Julio
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Lee
Kirinnuma okukootakoota buno obulungi bwendiko
Bwonna bukaddiwe
Kirinnuma omukwano gwe nina omukwafu okukaddiwa
Gwonna guyiike
Baatuzaala ku Sunday lwali lweggulo
Ng’ensi nzikakkamu nga balya kyeggulo
Daddy fees yasasulanga mwaka
Homework twakolanga lweggulo na maama
Akazungu twasoma ke kano ke tufuuwa
Zungu zungu like Sematimba
Lee & Julio
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Lee & Julio
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
This is the end of Obulungi Bunnuma lyrics by B2C Ent. If you discover any mistake in the song Lyrics, Please send the correct Lyrics by using the contact us form.
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.