Christopher SsebaddukaChristopher Ssebadduka

Christopher Ssebadduka amannya ge amatuufu ye Christopher Ntege Ssebadduka, yazaalibwa nga 5-10-1929 ate olwo n’afa nga 15-12-1997. Jjajja w’abayimbi yafiira ku myaka 68. Wabula nga 15-12-2019 lwe yawezaza emyaka 22 bukyanga nakinku mu kuyimba afa.

Ssebadduka yazaalibwa abagenzi Matayo Kachwa Katovu n’omukyala Nagadya. Obuzaale bwa Jjaja w’abayimbi buli mu ssaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Bulemeezi ku kyalo Kikyusa era eno Ssebadduka gye yazimba amaka ge aga muvubuka agunjuse. Wabula mu mwaka gwe 1980 Ssebadduka yawalirizibwa okuddukira e Buddu mu kikolwa eky’okudduka Appolo Milton Obote eyali atandiseewo ekiyigganya bayimbi abaali bamuyimbyeko ennyimba ezimukyokooza nga Amin amaze okumunaabira mu ngalo mu mwaka gwa 1971.

Christopher Ssebadduka nga ali e Butenga gye yali yawangangukira, eno gyeyasinziirira okw’ebika nga bwe yafa n’ekigendererwa nti gavumenti y’Obote emuveeko erekere awo okumunoonya. Amawulire gano ag’ekifere gasaasaanyizibwa omugenzi Sulaiman Mayanja eyakuyimbira ennyimba mpitirivu nga teweerabidde oluyimba lwe olwa Hirimu abasinga lwemumanyi nga Basiraamu Bannange. Sulaiman Mayanja ono ayogerwako yafa mu 1989 netumuziika e Bulamagi okuliraana n’akabuga k’e Nakibizzi ku luguudo mwasanjala olugenda e Jinja mu Busoga.

Christopher Ntege Ssebadduka baazaalibwa abaana bangi nayenga obudde buno wasigaddewo abaana basatu bokka nga bonna ba buwala.

Jjaja w’abayimbi nga abantu abalala naye ku ssomero yayitayo wadde nga teyagenda wala nnyo eyo etuuka abayivu. Okusoma yakutandikira ku ssomero ly’e Gayaza olwo oluvannyuma ne yeegatta ku Kiryagonja Bethlehem Memorial College nga eno gye yatuulira ekibiina kye eky’omusanvu. Okusoma kwa Ssebadduka wano we kwakoma olw’obufunda bw’ensawo anti maamawe ye yali amuwanirira. Taata wa Jjajja w’abayimbi yafa nga Ssebadduka akyali bbujje. Ntege ng’amalirizza ekibiina ky’omusanvu maamawe Nagadya yagwirwa ekimbe bwekityo Ssebadduka n’atasobola kweyongerayo kusoma.

Ssebadduka ng’okusoma kugaanye, yayiga endongo ya ssekitulege nga eno yamuyigirizibwa kojjawe kati omugenzi. Oluvannyuma nga afuuse nnakinku mu kunyonyoogera ssekitulege, Ssebadduka yatandika okw’eyigiriza guitar eyali embajje mu kiti nga eno yali ya mugandawe Ssemyoni Ssettimba kati omugenzi.

Endongo eno ey’enkoba essatu yagyefubako era gyagenda okuwera emyeezi ena, nga endongo eno Ssebadduka asobola bulungi okugiggyamu oluyimba.

Oluyimba olwaleeta Christopher Ntege Ssebadduka mu kisaawe ky’okuyimba lwafulumira ku jjinja (Record Player) mu 1957, era nga lumanyiddwa ng’Omukazi Malaaya tamanyi mukwano olwo emabega ku jjinja yateekayo oluyimba lwa Namwama Nkunku. Ejjinja lino lyafulumira mu kampuni enkwasi y’amayinja eya Opera Tom Tom nga eno yali esangibwa mu industrial area.

Oluvannyuma yazzaako ejjinja eryamanyibwa nga Bassekabaka ate nga ku ludda olulala kwaliko oluyimba lwa Nassolo. Olwo n’agobereza ennyimba endala mpitirivvu nga bwetugenda okuziraba mu maaso eyo.

Ssebadduka olw’erinnya lyeyafuna obudde obwo kyamuweesa omulimu mu Bank of Uganda. Eno yali akola nga office Messenger wabula omulimu guno yaguvaako nga teyeesiikidde kanyeebwa oluvannyuma lwa Obote okukomawo mu buyinza.

Mu myaka gye 1960(s) Sseekabaka Edward Muteesa yasiima Jjajja w’abayimbi n’amuwa ekirabo ky’ettaka nga amusiima okusomesa, okuyigiriza ssaako okulwaanirira obuganda ng’ayita mu nnyimba. Wabula oluvannyuma ettaka lino lyamuggyibwako abakungu ba Obote era yatuuka okufa nga terimuddizibwanga. Mu myaka gye 1980 nga gigwako, ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi obudde obwo nga akyali Ssaabataka naye yasisinkana Ssebadduka n’ekibiina kye ekya Entebe Guitar Singers n’abeebaza olw’omulimu omuyonjo gwebaayolesa mu budde obw’akazigizigi mu Buganda era yafundikira nga abawaddeyo ebbaasa wabula nga eno yeekomezebwa omu ku baali abakulu mu kibiina kino. Ensonga eno ey’okwekomya ssente zino yaleetera ekibiina kya Entebe Guitar Singers okweyuzaamu.

Omugenzi Christopher Ssebadduka yazaala abaana abali wakati w’abaana 14-15 naye nga obudde buno wasigaddewo abaana 10 bokka. Abaana bano Ssebadduka yabazaala mu bakyala banjawulo nga Fred Sseremba omuyimbi y’omu ku bbo.

Hottest stories right now!!

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.