Nze Tombuulira Mulala Lyrics by Joseph Ngoma

Verse I
Nze okutandika otegeera ensi
Saafuna ssanyu na mirembe
Kuba ne be nasangawo
Tebaalina ssanyu amazima
Maama ne baganda bange
Be nasanga mu nsi eno wamma
Mu mutima ne neebuuzanga
Nti oba taata yalaga wa?
Okulya n’okusoma kwaffe
Nga maama y’afaayo
Kale ng’akola nnyo
Alabe nga tubaawo
N’atunyumiza olugero
Nti taata atuzaala
Yadduka mu biseera by’entalo
Ng’aliko abamuyigga
Nalaba maama bw’afaayo
Nalaba maama bw’adaaga
Anti ng’ayagala abaana be
Tubeere mirembe
Naye yadde maama yafaayo
Mukama yali yatumanya
Singa teyatumanya
Okufa tetwandikuwonye
Twayita mu muliro
Agayanja aganene ne tusaabala
Mukama yabanga wamu naffe
Byonna tebyatuyinza

Chorus
Nze tombuulira mulala
Awali Yesu wange
Oyo akuba ekkubo weritali
Alwana entalo zaffe
Mulwanyi w’amaanyi
Talina ye kimulema
Bw’omuwa ebizibu byo ye
Akuwaamu ssanyu
Ogwo omuyaga gw’olaba
Tegukukanga muganda wange
Bambi todduka
Tova mu lyato ojja kufa
Bw’aligolora omukono gwe Yesu
Omuyaga guliteeka
Essanyu lirijja
N’eryato liriseeyeeya

Verse II
Nanoonyanga essanyu ne limbula
Amaziga n’ennaku ne bisembera
Natuulanga ne nsirika bwenti
Nga naye ssi mirembe
Nga maama akeera kulima
Kuva ku makya adda mu kiro
Alima eyaffe n’alima ey’abalala
Akasente okusoma
Bwe nabeeranga eyo ku ssomero
Ng’abaana balina emirembe
Nze nga buli kye netaaga maama
Nga ndaba bo bakirina
Bwe nabeeranga eyo mu kuzannya
Nga mpita mu bikomera
Nga muli ŋŋamba twalya ki ye ffe?
Okusula ng’abayeekera
Enkuba bw’etonnya mu kiro
Mwenna ne mutoba
Emizigo ne giba ng’eddaame
Ng’ate gyonna mikadde
Obusungu bwannumanga
Ng’endwadde zi neesibyeko
Lumu nabuuza maama
Nti ‘nze lwaki okulwalalwala?’
Naye mu bwavu obwatulyanga
N’endwadde ezaalumanga
Mukama yabanga wamu naffe
Era tebyatuyinza

Chorus

Verse III
Sitaani talina kisa ye
Ne bw’oba mu nnaku akunyiga
Ffe abaali mu luyimba lw’obwavu
Ate okufa ne kujja
Nzijukira omukyala yafa n’okufa
Eyafuna ekiruyi ku ye
Mbu yayagala atuve kumu
Ppaka ku mukulu asembayo
Entalo nga za mirimu gyabwe
Ne maama
Bwe yaloga yaloga famire yonna
Abatalina musango
Kawala ka maama ke twalina
Akamu kati
Amayembe gaatandikira ku kko
Okubuza emirembe
Nalaba ensi eno bw’efunda
Emitima ne gitwewanika
Anti olutwala oli
Bwe lumala lukima mulala
Maama yatambulanga
Emisana n’ekiro
Aweese omwana we
Malwaliro nkumu yatuukayo
Naye ensi eno yajjula obutemu!
Omwana eyadaaza maama atyo
Bwe yamala n’akutuka
Naffe Mukama yazza bibye

Read Tobita Lyrics – Joseph Ngoma

Share Nze Tombuulira Mulala Lyrics by Joseph Ngoma

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.