Uuuh uuh
Oooh ooh
Oooh ooh
Oooh ooh
Hmmm

Waliwo kye mpulira muli
Simanyi na bwe ntandika
Kukinnyonnyola kuba okuva olunaku bambi
Lwe nakulaba, ensi n’ekyuka
Obudde obukya buziba bwonna sikyabulaba
Ndi ku ggwe
Ninga atalabangako
Onkubira essimu ne ncamuka ne mbuuka
Eddoboozi lyo linsigala matu
Amaanyi gampedde (amaanyi gampedde)

Nkwagala nnyo nze kale mazima
Mpulira omukwano gunsusseeko bambi
Buli lwe nkulaba omutima gwange
Gukubira kumukumu, eeh eh
Olusonyisonyi lwe saalina nze lunzingako
Nzenna ne mbeera ng’omwana
Simanyi nti oba ndikumanyiiza amaaso kale
Ommazeemu nnyo bambi
Nkwagala nnyo nze kale mazima (nkwagala nnyo nze eeh)
Mpulira omukwano gunsusseeko bambi
Buli lwe nkulaba omutima
Gukubira, kumukumu, eeh eh (gukubira kumukumu)
Olusonyisonyi lwe saalina nze lunzingako (eh yeah)

Embeera zo bambi
Zanfuukira kikemo labayo, buli ky’okola
Eno munnange gyendi mba nnyumirwa (mba nnyumirwa)
Sikirabangako kino
Omusajja atalina kamogo
Nze ku ggwe sitya na kuvuganya
Nkwegomba nnyo onsanyusa nnyo
Bambi nkulowooza buli lwe ndowooza ku mukwano
Hee eeh, mpulira nkufa
Obulwadde bw’omukwano!

Nkwagala nnyo nze kale mazima (nkwagala nnyo nze eeh)
Mpulira omukwano gunsusseeko bambi
Buli lwe nkulaba omutima gwange
Gukubira kumukumu, eeh eh (gukubira kumukumu)
Olusonyisonyi lwe saalina nze lunzingako (eh yeah)
Nzenna ne mbeera ng’omwana
Simanyi nti oba ndikumanyiiza amaaso kale
Ommazeemu nnyo bambi
Nkwagala nnyo nze kale mazima (nkwagala nnyo nze eeh)
Mpulira omukwano gunsusseeko bambi
Buli lwe nkulaba omutima
Gukubira, kumukumu, eeh eh (gukubira kumukumu)
Olusonyisonyi lwe saalina nze lunzingako (eh yeah)
Nzenna ne mbeera ng’omwana
Simanyi nti oba ndikumanyiiza amaaso kale
Ommazeemu nnyo bambi

Heeeee eh yeah
Eh yeeeah
Eeeh
Eeh

Ebirowoozo bibeera bingi njagala tubeere babiri
(Wankulira bulungi nange ku ggwe kwe nfiira)
Okwagala nze kunnemye okupima kummenya omutima

Gy’oliba, gyoli kimanye

W’olineetaaga, ndiba nkulinze

Oli mulungi, mu balungi

Eeh eeh, aaah aah
(Wankulira bulungi nange ku ggwe kwe nfiira)
Aaaaaah
(Wankulira bulungi nange ku ggwe kwe nfiira)
Mukwano, eeh eh eh
(Wankulira bulungi nange ku ggwe kwe nfiira)
Nkwagala, nkwagala nnyo

Check out: Love Olinnoonya Lyrics – Liam Voice

Share: Nkwagala Nnyo Lyrics – Iryn Namubiru

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.