Dr. Tee – Mpola Lyrics
Hmmmm, hmmmm
Aaaah, aaah
Hmmmmm, hmmmmm
Kann Records
Amaziga g’omunaku kutiiriika
Wabeerawo afunyemu kw’olwo
Ennaku yange okubulwa ssente
Yo bbanka ekuba gudiikudde
Enjala, lwe ngisuze ne ngisiiba
Wabeerawo abayiwa enfumbe
Kyenva nkaabira ntyo mu kimugunyu
Ssente zo ennyingi ezaatokomoka
Tolowooza zaakulukuta mu gino myala, aah
Waliwo eyasasulwa kw’olwo lwe zikufaako
Nze kati nasigaza kuwuuna, bw’omu bwenti
Na kugumira wendi nindirire Omukama
Nnyumya bya mpola
Bintu bya nnaku
Be tukaabira amaluma
Baba bakooye ennyama, aah
Nkaaba mpola
Embeera mwendi ssigikuba balala
Zibula mayumba
Kino kye tuliko kikambwe
B’okaabira ng’olaajana ennaku
Bye baliko birala
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Nkaaba mpola
Embeera mwendi ssigikuba balala
Zibula mayumba
Kino kye tuliko kikambwe n’eno
B’okaabira ng’olaajana ennaku
Bye baliko birala
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Bw’obeera mu bantu
Yiga tobalaga nti oli bubi nnyo
Kuba bakunyooma
N’emikisa gyo giba gikendeera
N’onyumya ennaku n’omaliriza
Ng’ate gwe weswaza
Ng’ate ne b’ogamba
Eno onyumya bakukongoola
Kaaba mpola, toyanika buziina bwo mu luggya
Bwe buba buziina
Oyanika mmanju mu bantu bo (abantu baakoowa)
Nze naye
Nkaaba mpola (ooh)
Embeera mwendi ssigikuba balala (hmmm)
Zibula mayumba
Kino kye tuliko kikambwe n’eno
B’okaabira ng’olaajana ennaku (bakukeneka ah)
Bye baliko birala
Kaaba mpola (bya mu nju)
Ng’oli mu kisenge kyo
Aaah, aah
Hmmm, hmmm
Hmmm, obwavu buluma
Naddala ng’olaba banno bwe mwali
Bakulaakulana ku speed ya kizungirizi
Awo we wasaana okukkiriza
Ng’okulina kumala
Kuba nze kye mmanyi leero oli
Naye enkya lulwo
Wabula bw’omala okuguma
Weekuumire ennaku yo baaba
Kuba bano be tusindira
Batumalamu amaanyi
Anti bw’omugamba
School fees w’abaana agaanye
Ng’addamu naye
“Owaaye, olowooza embwa yange
Nange tegaanye okuwona, hmmm”
Awo osaana Katonda wo, gw’oba weesiga
Mpozzi n’oweewuwo
Bwaba taakukineko (abantu baakoowa)
Nze naye
Nkaaba mpola (ooh)
Embeera mwendi ssigikuba balala (eeeh)
Zibula mayumba
Kino kye tuliko kikambwe (kye tuliko kikambwe)
B’okaabira ng’olaajana ennaku
(Bakukeneka abo)
Bye baliko birala
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Wamma kaaba mpola, eeh
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Hmmm, oh oh, oh oh, oh oh hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Bantu baakoowa, hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Maama wange kaaba mpola nnyo, hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Brenda wange, hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Semakula kaaba mpola nnyo, hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Karim kaaba mpola, hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Wamma Remmy kaaba mpola
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Abo b’onyumiza bakukeneka, hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Hajji Kyezeera kaaba mpola, oh
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Wamma Sharon kaaba mpola nnyo, eeh hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Oh oh, oh oh, oh oh, oh oh hmmm
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
Bantu baakoowa
Kaaba mpola, ng’oli mu kisenge kyo, aah
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.