Ndugga Bamweyana – Ani Mutuufu Lyrics

Omuntu atasiima bakulu
Nebwoba mugabi akulemesa era okumuwa
Omuntu atasiima bakulu
Nebwoba mugabi akulemesa era okumuwa
Wamma Mukama nze nsiimye
Olw’omukka gwenzisa n’ekyokulya era nkifuna
Wadde eriyo ebikyaganye
Obulamu bwe bugagga, olimpa Mukama
Naye ndi confused simanyi kya kola
Omutuufu n’omukyamu bw’omunoonya akubula
Nze byantabudde simanyi kya kola
Omutuufu n’omukyamu bw’omunoonya akubula

Buli omu osanga agamba yenze mutume
Ani mutuufu gwe wasindika ayi Mukama?
Omusiraamu agamba Muhammad kikulu
Nti bwotayita mw’oyo ejjana eba ekulemye
Nga n’omulokole agamba Yesu ye kabaka
Awatali Yesu teri kulaba Mukama
Abakatuliki bo basoma zi sappule
Mbu Maria Nnyina Katonda nasoberwa mu kino!
Bwaba nnyina Katonda nga ddala ye Maria
Kitegeeza y’eyasooka mu nsi eno mwetuli
Kyova olaba nze neddirayo ewange mu mbuga
Mpite mu buwangwa bwange mmusinze Mukama
Kuba amayembe n’emisambwa by’oyita okola
Buli omu atuuka agamba mutye nnyo Mukama
Ekirala mu by’obufuzi ayi kabaka
Ani mutuufu gwe wasindika eno atufuge?
Ŋŋamba kabaka wa bakabaka ayi Mukama
Ani mutuufu ku bano abalwanira entebe?

Kabaka tuli ku bwerinde embeera ya nnaku
Mukama siima oyogereko gyetuli
Tuli ku bwerinde embeera ya nnaku
Ani mutuufu gwe wasindika eno atufuge?
Ono ali mu ntebe agamba mbunno muntu wo
Omukisa yaguggya wuwo gwe wamukwasa effumu
Nga n’Omubanda w’e Magere agamba muntu wo
Mbu era mutuulako eyo nemuteesa Mukama
Nga n’Omubanda w’e Magere agamba muntu wo
Mbu era mutuulako eyo nemuteesa Mukama
Naye ye tukiraba nga yandiba nga mutume
Alina n’ensi empya gy’atusuubiza okutuwa
Bweba gyeri nga yaggwa Mukama
Muggyirewo emisanvu naye atuule mu ntebe
Bweba nga gyeri nga yaggwa okukolwa
Muggyirewo emisanvu naye atuule mu ntebe
N’ono alemeddemu bwaba alina kye yakuwa
Kimuddize atuwummulemu tukooye obulumi
Abantu bantumye nkugambe ayi kabaka
Nti bali ku bwerinde embeera ya nnaku
N’ensozi basajja bo kwebakkira ssebo
Batandise ozisenda wa wetunazza embuga?

Akalulu kakyukira wa ayi kabaka?
Katonda waffe tusaba otuwabule
Akalulu tukalonda, fenna mu ssanyu
Naye biwunzika gwe tulonze y’ali mu maziga
Katonda wange kuluno ssa obubaka
Bugende ku jjoba ery’oyo omukulu
Kituyisa bubi ng’abantu bo bafa
Ng’ate wawaayo omwana wo atununule!
Abangi bafudde lwa ttaka lyabwe lye baagula

Ayi kabaka Katonda mmanyi wandiba busy
Tuma omu ku bakatikkiro bo ajjeko gyetuli
Bw’otuma kabaka bulamu obubaka abutuwa
Oba Gabriel naye oyo mukulu
Naye tuma Bamweyana ye mwangu okufuna
Kuba naye ejjoba alituulako ery’oyo omukulu

Uganda yafuuse y’ani akumanyi ayi kabaka
Tetukyasobola kweworerezaako nga ffe abanaku
Mu Uganda okusinga omusango wano
Omala kutunda bibyo n’oweza ennusu
Omuti gwa ssabbuuni ogwali ku lukumi
Omala kutunda ndebe ya mmwanyi ojje ogufune
Amafuta agaffe ge galinnya buli lukya!
Embeera enakyuka ddi ayi Mukama?
N’okutimba ekivvulu ofune ku nnusu
Ebbaluwa ogisanga Naguru eri mu bakulu!
Kyokka okugituusa ku Poliisi era ogibawe
DPC n’akugamba bwotazimpa mbigobye
Ab’e Bukomansimbi mwandabya ennaku
Era neewunya nnyo oyo omukazi!
Ebbaluwa zendeese nziggye mu bakulu
N’onsaba omudidi gw’ensimbi ng’omulabe!
Mulitunula mutya mmwe abali mu ntebe?
Ng’embeera ekyuse Omubanda y’ali ku nkata

Mmanyi nti byennyimbye
Mwalijja nemunnoonya ewange
Naye mulinona Ndugga
Nemusanga nga Bamweyana ejjoba aliwambye
Kale bw’alibasaba akayaga
Oba mulikanoonya wa?
N’endeku eri kw’anywera, aah ah
Nange ndibambula engatto
Nembawa emikeeka nemutuula wali
Amayembe nengakoowoola
Lubowa ne Kaseke nebabeetooloola, ha!
Kale ndiraba bw’osituka
Kw’olwo ne Nakayima alibeera wali
Namuzinda kadde y’embuga n’abeŋŋanga
Kiwanuka omuliro n’awanda
Yenze Ndugga Bamweyana

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.