Paul KafeeroPaul Kafeero

Gwe wacankalanya embeera z’omusajja
Mwannyinaze osaana okimanye ekyo
Weenobyanga n’ajja yegayirira
Nga wenyiiza ebintu omutali nsa
Ye bannange bufumbo nabaki obwo?
Mwotassanga ngeri ya kitiibwa
N’opangulula entegeka z’omusajja
Eyakuyiiyizanga ebintu ebyomumaaso
Watambulanga ebya biramupango
Awataalinga lukusa lwa musajja
Era gwe wanjogeza ebintu eby’ekiyaaye
Wannimbyalimbya abantu b’omusajja
N’ojja ontuuza ku mutto gw’abalyake
Na kati okumpozesa egya naggomola nti
N’ebbanga lye wamala omukyaye
Teryandikwogezza bintu bya kika ekyo
Ekyo mu bufumbo kiba nga kiwejjowejjo
Nga bw’olaba era awummudde tanatuuka
Ate n’okusimba nakakongo ku mpaka otyo
Gwe wayiikiriza omuntu omusirise atyo
Waddira obukambwe n’obufuula kyasi
Okufufuggaza buli kiggya ky’omusajja
Nze kati okwogerera mbittira ddoboozi
Lwaki wanvumiranga omuko engeri eyo?

Ah kati ku nsi eno gy’olaba ekanudde amaaso
Gwe ogamba onobeera otya?
Okutwala ebintu engeri gy’olowooza gwe
Ng’eno ensi egunjuza muliro
Kati ogenda okunenya sitaani naye
Nga bwe yali akukema yakusanga wa?
Ku nsi eno gy’olaba ekanudde amaaso
Gwe ogamba onobeera otya?
Okutwala ebintu engeri gy’olowooza gwe
Ng’eno ensi egunjuza muliro
Kati ogenda okunenya sitaani naye
Nga bwe yali akukema yakusanga wa?

Kkiriza nti okuze ebyo by’ogenda olowooza
Bya kito bwe twaliyonka maama
Gwe ne bwe kuba okufuna obufumbo obupya
Nze ndaba nga kunyumunguza bisiriiza
Ani adiibuuda emikisa engeri eyo?
Simanyi ogamba gyakolwa muzungu?
Ah oba ogamba gigula siringi
Kati nno lamuza omulala
Kuba gwe n’ebizibu ogenda n’olowooza
Nti ojjanga bigalanjuza nseko otyo
Ejjoogo n’okulengezzanga abantu otyo
Bijja kubuza w’ossa n’oluba
Toli wa kitalo nga gwe bw’olowooza
Twali tulabye abanene emirembe ngalo
Eyakuwa amagezi okunoba ew’omusajja
Teyaffuuwa mmindi yattikka mbugo
Yakuggyako ekitiiyo n’akuwa kijiiko
Kugenda kutikka loole ya mucanga
Ebyo bye mupangisa emizigo mugiyita mirembe
Ng’ebweru ekuya!

Ye nga ku nsi eno gy’olaba ekanudde amaaso
Gwe ogamba onobeera otya?
Okutwala ebintu engeri gy’olowooza gwe
Ng’eno ensi egunjuza muliro
Kati ogenda okunenya sitaani naye
Nga bwe yali akukema yakusanga wa?
Ku nsi eno gy’olaba ekanudde amaaso
Gwe ogamba onobeera otya?
Okutwala ebintu engeri gy’olowooza gwe
Ng’eno ensi egunjuza muliro
Kati ogenda okunenya sitaani naye
Nga bwe yali akukema yakusanga wa?

Nantabuulirirwa bwe twaliyonka maama
Leero ate gwe osaabadde bwa giriisi
Oyinza okumpa nsonga ki omusajja?
Kwe yavudde okukuweereza n’abaana
Olyoke okube semukiti ow’ekitooletoole
Mbu buwonye otutunzibwa bakazi baggya
Lwaki olowoolezanga ku ‘fronta page?’
Ssi buli lububi lwa buugi nti ebeera mpolwe
Omusajja yambuuzizza eggulo ekibuuzo
Musajja yambuuzizza eggulo ekibuuzo!
Mwannyinaze be wawola bakubanja
Omusajja n’atuuka okubuusabuusa abaana
Kale watinkuula ebintu n’okatagga!
Bwe bubiina mwe wajjanga weetaba obwo
Obwo bu twakyereye nnyingira kiro
Gwe ng’eyali nantebe wabufunamu ki?
Omale ozise ekibanja ky’omusajja
Ye bannange njagala okubuuza
Ani yasondanga gwe mwaddanga mutamidde?
Mbu olulala wadda na lubeere
Ng’ejudde obugule obwa Uganda Waragi
Kati wali ogutwala luddawa eyo?
Lwaki tewagundeetera ne ngutereka eka?
Ate kati olwo nno mmwe musekamu ki?
Simanyi olwo mulowo… hmmm!

Bwe busimbi bwe bagenda babalimba
Nze nduyita lwogo lukubwa basunzi
Ng’ojja weeta ng’ennyongeza y’eddoboozi
Ekwatwako buli aseesa y’ayagadde
Eriyo nno abanyumya buli ky’aba yasanze
Kirowoozeeko bwe twaliyonka maama
Ebiwubya ayagala tebiba na ddoboozi
Bifubuttuka era mu ngeri eba esikiriza
Fenna bwe tusiima twefuula bayiiya
Kanya akanaansikiriza kwe nsaba omukwano
Kati gwe bw’onooba okwatwa ku kutu otyo!
Mwannyinaze ogenda okufuuka yaahe
By’ebyo muko Dan Mugula by’abagamba
Teri assa kitiibwa mu second hand
Nti naawe olaba bwe banywedde ne Namuddu
Bassa kimu ennaku z’olubeerera bbo
Twala eby’okulabirako eby’engeri bwetyo
Ffenna tulaba ebizibu
Obwo obwa nabigi bubeera kw’atabaala
Obufumbo ssi nkambi ya mulabe wo
Ebyo bye wecanga twabirabako dda
Eyo y’embeera nange gyendimu eka
Mbu wadda ne mu kweraguza omuntu amanyi kyali
Wayiga n’ebyawongo kale oswaza nnyo nnyo
Ŋamba obuyisayisa wabuggya wa obwo?
Bwessaakulaba ku luggya lwa kitaffe
Munnange omukazi omweraguze abeera mubi nnyo
Akiri osuza emisota mu nsonda nz’enju eka
Gw’ate be bambulula obukunya engeri etyo
Kuba akafaananyi kiri ku w’ewuwo eka
Bannange abantu abo basooka byabwe
Abantu bano basooka byabwe
Gw’ate atadde ng’awenyera onoomanya kiki?
Ng’ajja akuwagikira mu baana atyo agaginjiginji
Nnyini ayonsa eby’ekibulira
Ebyo bye muwoza kano kange kafaanana eno
Baakuteze olubbobbo ne kakumalayo?
Ng’ajja ayaluza omwana mu musaayi mwatavanga
Bwatyo n’akulira mu bweboolereze
Mu kkubo ly’amazima temussibwa misanvu
Gy’egyo egibwatuka amawanga ne gasamaala
Ebyo mbu omwana yatemye kitaawe
Ono yakutte nnyina oli yazadde mu mwannyina
Teri kya ffujjo nga musaayi muboole
Nz’era ezo enzaale ennywennywe abaana b’endagu

Abeera mwana wa kibi
Omweboolereze
Bamulinza lw’olifa
Okuzaawula ekika
Kale ekyo kaakitegeera
Omumpembe ky’ava abiyiisa atyo awangu
Mwannyinaze
Ate abo abaana tobamanyi gwe
Okyabiyita ebintu by’olusaago
Abajwa batusaza ne mu bibanja
Era buli afa aziikwa mu kikye
Akange kaako ka yaadi nnya nno ooh
Lujuuju waabwe ŋenda kulima wa?

Naye gwe ku nsi naawe gy’olaba ekanudde amaaso
Muli ogamba onobeera otya?
Okutwala ebintu engeri gy’olowooza gwe
Ng’eno ensi egunjuza muliro
Munnange okufuna obufumbo maama
Kigeze ku kuteeba omulimu
Gukuzitoowerera okyaguli mitimbo
Okuggwawo ne kafuuka akalimu
N’okubulwa eyeeguya bwe twaliyonka maama
Aliguwangaaza oyo tewali
Jjukira abo abaana onobye na byuma
Tebalikugaaya obugalo
N’ezo engoye mw’onobye onanidde
Zigende zikufuuke obuwero
N’eyakuwa amagezi okunoba ew’omusajja
Teyaffuuwa mmindi yattikka mbugo
Yakuggyako ekitiiyo n’akuwa kijiiko
Kugenda kutikka loole ya mucanga

Naye nga ku nsi eno gy’olaba ekanudde amaaso
Gwe ogamba onobeera otya?
Okutwala ebintu engeri gy’olowooza gwe
Ng’eno ensi egunjuza muliro
Kati ogenda okunenya sitaani naye
Nga bwe yali akukema yakusanga wa?
Ku nsi eno gy’olaba ekanudde amaaso
Gwe ogamba onobeera otya?
Okutwala ebintu engeri gy’olowooza gwe
Ng’eno ensi egunjuza muliro
Kati ogenda okunenya sitaani naye
Nga bwe yali akukema yakusanga wa?

Submit lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.