Here are the correct and complete lyrics to ‘Nalwewuuba’ song by Fred Ssebatta, read the lyrics below and sing along.
Nalwewuuba Lyrics by Fred Ssebatta
Basajja bannange abalina awaka abakazi nze nabaawuseeko
Olwokaano olwammwe nsazeewo nduwe ekyanya mu ngeri endala
Bukya nkolerera bakazi mpaawo kye nfunye mpozzi okugobwanga mu nju
Bano ba nalwegalika abaagala okulya ennyingi be babantamizza
Kiruma bannange bwoba ng’olina omukazi gw’olowoolezaamu
Bw’afuuka ekiyigo ekyeyunwa buli asanga ofunda n’omuwuulu
Nkooye n’ekisa ekingi simanyi nze oba Mukama yantonera kya ki!
Nga nakwagadde nkirako aliko emmandwa okugaba lupiiya
Naye amatanta gampedde kanzize ekitone mu drawer yaakyo
Olaba Nalwewuuba yagumye akole ekivve
Mpulira ekimbalagala ku mutima
Obwenzi bw’abakazi bulimu ebiti bingi bye bayiiyayiiya
Bw’osanga akuguse n’ensobi awaka azikola n’omuwumbawumba
N’omuwala Nalwewuuba bwe yasooka atyo okubuna ebikooyi
Mikwano gye ne baŋamba nti alina omwami omulala e Muyenga
Nasooka butakikkiriza nga nkitya nange okujjula etayidde
N’obutambuze tebwekweka kammale okuziga ensolo we ziriira
Nga bw’aba agenda okukola yali alina engeri ye gy’ambuzabuzaamu
Nga n’ekizigo takyesiiga bw’aba ava eno ogenda mu kikuubo
Ng’ebyo bibeera by’amadda akange abalabi mu bifo awenywerwa
Agenda okuyingira ennyumba nga yenna afuuse okuva ku magenda
Era kye kyampa n’amaanyi
Basajja bannange
Era n’okuŋumya omutima nsobole okufuna engeri gye mukwata
N’abakazi abasinga wano
Bwenzi bubeera bwa madda
Ebyo ebisawo bye beetimba mwe bateeka ebinene ogenda okutabaala
Nalwewuuba
Ankeese
Nalwewuuba
Mukama by’agereka sso nali kw’olwo ŋenze na mu lumbe
Omutima ne guŋamba nti eriyo agenda okusosonkola eddya
Olw’okuba ne munnange naye yali akimanyi nti nsuze mu lumbe
Ŋenda okutuuka ku nnyumba nga naye agisibye agenze mu kikeesa
Kko nze bukya alya myungu luno ka naye mukole kyatasuliridde
Kwe kwegayirira Baguma ajje annyambe okunsibira mu nju
Nga ŋumira mu nzikiza ninde omuwala bw’ajja yemasagga
Ŋenda okuwulira ebigere ng’aliko ekirume ekijja kigulumba
Wuuyo asumuludde kkufulu kubamu naawe akazigo akafunda
Amathannyalathe gaagenthe?
Byonna omuwala abiyokya omulenzi
Nze olwo nateredde dda
Ŋumbye nga ngo
Nindiridde bannange bawenjule entimbe okundaga amakudde
Tulyoke twenyige mu kabiga
Wabula basajja bannange nze nina omutima abantu gwe batampa
Ku busungu bwo nga bwe nkulaba omusajja oyo wandimukoze otya?
Nga n’okuwenjula entimbe buli omu obwongo bwamuli ku munne
Kyenva mbasaba obutangwira nti kammale nange okweyalira wansi
Akavuuyo kaali awo buli omu abuuka atomera munne!
Baatuuka n’okumpita omuzimu mu kaseera kano aka kanaayokya ani?
Kale mu kuwanjaga okungi nti oba oli jjiini gira tuteese
N’amasannyalaze agagenze we gaddira okulaba ebintu we bituuse
Ŋenda okubooleka obwanga
Nga bali bwereere!
Nga n’ensonyi zibeetimbye
Abange omutonzi alina amaanyi!
Kyankuba n’entiisa
Nga mutuuze munnange
N’amasannyalaze gannyamba
Singa ebyo bye nvuma oluusi
Nali nsazeewo ate
Bombi bagende bwereere
Bwe nalaba tekinnyambe
Ne mmala galeka Mukama alibasalira
Mpulira ababuuza eyo
Nti kati okozeewo ki?
Mu kifo ky’okkolerera abakazi
Nze abazadde kabalye ebyange
Nze gw’olaba mmala omwaka
Ng’abazadde siridde nabo
Lwe nkyaddeyo mba ku ssaawa
Omukazi y’apima obudde
Nkooye eby’ekitumbaavu
Ng’abangwiranya tebandiiko
Ku bye nkoze obutansiima!
Kati nange bangule nkalubye
Ate sijja kuwola bbanja
Sikandukira bwereere
Gwe asaba jaribu tondeeba
Kanulira muli amaaso
N’abazadde bwe balimbuuza
Nti okulubuse ki otyo?
Ndibaddamu sibeekweka
Nti mbadde eyo gye nzigya emmaali
Ngya banaabira kayaayaana nange
Ndabe nga bwe mutannoonye
Kasita n’ebiti nabyegulira
Wamma kansagalire ebyana ndibawulira
Nalwewuuba
Ankeese
Nalwewuuba
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.