King Saha Lyrics

King Saha – Nalwewuuba Lyrics
Nalu, eeh (Nalwewuuba)
Naawe kiki Nalu? (ankeese)
Nalu, Nalu, kiki Nalu (Nalwewuuba)
Naawe kiki Nalu? (sula la la)
Basajja bannange abalina ewaka
Abakazi nze nabaawuseeko, ah
Olwokaano olwammwe nsazeewo
Nduwe ekyanya mu ngeri endala
Bukya ntiguka n’abakazi mpaawo ke nfunye
Mpozzi okugobwanga mu nju
Bano ba nalwegalika abaagala
Okulya ennyingi be babantamizza nze yeah
Kiruma munnange bwoba ng’olina
Omukazi gw’olowoolezaamu
Bw’afuuka ekiyigo ekyeyunwa
Buli asanze ofunda n’omuwuulu
Nze nkooye n’ekisa ekingi simanyi
Nze oba Mukama yantonera kyaki!
Nga nakwagadde nkirako aliko
Emmandwa okugaba lupiiya
Naye amatanta gampedde
Kanzize ekitone mu drawer yaakyo
Olaba Nalwegalika yagumye ankole ekivve
Mpulira ekimbalagala ku mutima
Nalwewuuba ah
Ankeese eeh
Nalwewuuba aah ah, eeh
Obwenzi bw’abakazi bulimu ebiti bingi
Bye bayiiyayiiya eyo
Bw’osanga akuguse n’ensobi ewaka
Azikola n’omuwumbawumba
N’omuwala Nalwewuuba
Bwe yasooka atyo okubuna ebikooyi
Mikwano gye ne baŋamba
Nti alina omwami omulala e Muyenga
Nasooka butakikkiriza nga mbitya
Nange okujjula etayidde
N’obutambuze tebwekweka
Kammale okuziga ensolo we ziriira
Nga bw’aba agenda okukola
Yali ayina engeri ye gy’ambuzabuzaamu
Nga n’ekizigo takyesiiga
Bw’aba ava eno ogenda mu Kikuubo
Ng’ebyo bibeera by’amadda
Akange abalabi mu bifo ewenywerwa
Agenda okuyingira ennyumba
Nga yenna afuuse okuva ku magenda
Era kye kyampa n’amaanyi
Basajja bannange
Era n’okuŋumya omutima
Nsobole okufuna engeri gye (mba)mukwata
N’abakazi abasinga awo
Obwenzi bubeera bwa madda
Ebyo ebisawo bye beetimba
Mwebateeka ebinene ogenda okutabaala
Nalwewuuba ah
Ankeese eeh
Nalwewuuba aah ah, eeh
Mukama by’agereka sso nali
Kw’olwo ŋenze na mu lumbe
Omutima ne guŋamba
Nti eriyo agenda okusosonkola eddya
Olw’okuba ne munnange
Naye yali akimanyi nti nsuze mu lumbe
Ŋenda okutuuka ku nnyumba
Nga naye agisibye agenze mu bikeesa
Kko nze bukya alya myungu luno
Ka naye mukole kyatasuliridde
Kwe kwegayirira Baguma
Ajje annyambe okunsibira mu nju
Nga ŋumira mu nzikiza
Ninde omuwala bw’ajja yemasagga
Ŋenda okuwulira ebigere
Ng’alina ekinene ekijja kigulumba
Wuuyo asumuludde kkufulu
Kubamu naawe akazigo akafunda
Amathannyalathe gaagenthe?
Byonna omuwala abiyokya omulenzi (awo)
Nze olwo nateredde dda
Ŋumbye nga ngo
Nindiridde bannange bawenjule
Entimbe okundaga amakudde
Tulyoke twenyige mu kabuga
Nalu, Nalu, Nalu (Nalwewuuba ah)
Nalu, Nalu (ankeese)
Nalu, Nalu, Nalu (Nalwewuuba ah)
Nalu, Nalu
More from us
- Dax Vibez & Vinka – Believe Lyrics
- Magician Lyrics by An-Known
- BWE PABA Lyrics – Fik Fameica & Sheebah
- Omwenge Lyrics – Azawi
- Elevated Lyrics – Azawi ft Elijah Kitaka, Mike Kayihura & Bensoul
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.