Bobi Wine – Nalumansi Lyrics
Ayi aayi…
Waliwo ekinenyamiza, n’omutwe negumbobbabobba
Lwaki omuntu gwolina omuzanyisa omugalabanja nga
Byenzimba byandijunye gwe, naye omulabe yeyambisa gwe kale.
Owewala yasuuta, naye owange gwe anafuya kale.
E’busoga bangulika lya Ngobi
mu’Arua bampita lya Obin
e’Mbale bankubila akadoddi
naye owange gwe ankuba endipo.
(Chorus)
Nalumansi tonkabiira, bwogwa munsansage wekabiire
Nalumansi tonyigira, bwogwa munsobi gwe, wenyigire
Nalumansi don’t cry for me, bw’oswaala ewamwe don’t cry for me.
Nalumansi what’s wrong with you
Bw’olemwa okusalawo what’s wrong with you.
Ayii…
Nalumansi kyoba omanya twogedde ebigambo biwedeyo
Era nze kyenkakasa, tewali kyokola kyotamanyi
Lwaki okukuta nogusajja ogwo ng’okimanyi ogusajja gubbi
Oba kyemuliko kituufu, lwaki tokisa mulwaatu
Omuntu ajooga abantu bbo, nomala nomunwegera gwe
Bwaba yakuwa majja yogera tumanye nti oli wa kugula buguzi
Bwaaba yakugula tukimanye nti byoyogera oba offera buffezi,
Okimanyi akukeneeka, nokiliza akweyambisse gwe,
Nga bweyakola bagandabo, ba Betty neba Robina
Maanya nti otunda bantu bbo, abantu bajanakuvaamu
(Chorus)
Nalumansi tonkabiira, bwogwa munsansage wekabiire
Nalumansi tonyigira, bwogwa munsobi gwe, wenyigire
Nalumansi don’t cry for me, bw’oswaala ewamwe don’t cry for me.
Nalumansi what’s wrong with you
Bw’olemwa okusalawo what’s wrong with you.
Bino byenjogera nze manyi obimayi lwakuba wewuunza
Wali wamanyi nga boona obakyira kikyi wefeebya
Kulwabantubo ddamu ku nsonyi ekitiibwa kigeendaa
Abantu abo lwakweyerusa ssiberufunyoo
Ate nze gwolabye enzikiza, yenze akulumilirwa okamala
Oyo sente zakuwa okugula atunda bibyo jukira,
Akuwa money alinga agamba oliwagulabuguzi
Naawe olulunkana olinga kalooli ngerwanira ebinyama
Nebanyokoo, balaba ngobaswaaza
Takulabawoo akuneka bukenesi
Nabantuboo babajerega bujerezi
Buliba butti balikuleka mukibira, byeebyo…
(Chorus)
Nalumansi tonkabiira, bwogwa munsansage wekabiire
Nalumansi tonyigira, bwogwa munsobi gwe, wenyigire
Nalumansi don’t cry for me, bw’oswaala ewamwe don’t cry for me
Nalumansi tonyombesa, bw’olema okusalawo weyombese
Musician: HE. Bobi Wine
Producer: 𝐒𝐢𝐫 𝐃𝐚𝐧 𝐌𝐚𝐠𝐢𝐜
Watch on YouTube: https://youtu.be/M0sIPvlFGd8
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.