Mukyala Mugerwa eyatta bba ebiro biri
Nga naakatonnya mu nsiike gwe nawaabira
Mwasigala mwebuuza gye byakkira
Nga maze omunaabira maaso olw’obutemu bwe
Eyaliwo yannyumiza lwe yasitula
Nti yankolimira okudibaga emirembe gye
N’anoonya aw’okufuna obubudamo
Anti olwo ensi yali myufu etemusanyusa
N’asiisira ku kyalo Katwe Kinyoro wano
Mumanyiyo abamanyi e Kampala manyi
Omuzigo teyasooka kugufuna
N’asulanga ewa Nabulya Benedicta
Naye nga bw’omanyi omuntu ateesiba zikweya
N’akikinaza ekikolo mu maka muli!
Gattako okusunda ebbeere ekito obuta
Abalenzi ne bayaayaana ab’e Katwe wano
Mwabo ne bba wa Nabulya teyabulamu
Yaweerezaayo naye application
Mukyala Mugerwa ebitone bye yagabana
Eky’obutakaayanya banne be yakifuna
Teyakaayanya bba wa Nabulya mu bye yayagala
Munnange y’eyali amuliisa n’okumusuza
Wadde awo yajja lwa Nabulya mbu bwe baasoma
Teyamusaasira kwebigika mulenzi we
Ate naatakoma kw’ekyo ku Katwe kuli
Yagenda okuweza omwezi baaliko bana
Ebyaddirira bye ndeeta mulabe bino
Ddala Mukyala Mugerwa mukazi mumalirivu

Bwe yetegereza ennyo amaka mwe yaseegera
Aga mukwano gwe Nabulya naatazembeya
Yeggyako abalenzi bonna ku katwe kuli
Neyamalira ku bba Nabulya n’amalirira
N’abaami twezira akulaze nti akulumirwa
Kale no ne bba wa Nabulya n’agujubana
Yalwa edda n’amubuzaamu eyo nga banyumya
Nti nkwagala naye simanyi nti okikakasa
Kale ensimbi tezinsobozesa
Singa nfuna enju we ngirabye nkukukulire
Mukyala Mugerwa n’awoomerera mu kuddamu
Nti kansabe ogira opakasa ojja kuzifuna
Twegendereze Nabulya mu kukukuta
Bwatugwamu mu budde buno ajja kukunsubya
Bwe baamala okuteesa ebyo ebyaddako biki?
Mukyala Mugerwa okuyitirira okucamuka
Nga buli waatuula olwo tagyanawo
Waggukira mu nkola ye ey’ebiro biri
Omuzigo gwe baatesa amufunire
N’agujja mu mutwe nga naye ayagala wano
Ssi nsonga mu bubi yamalirira agalwanire
Asindulurewo Nabulya adde maka muli
Buli akola ekisa akipime kirimu akabi
Ate mukkirize n’abakazi bamalirivu
N’omuntu w’omuze gwe tayinza kuguleka
Wadde agufunyemu ebisago ebitagambika
Mukyala Mugerwa namutya kwe kumuyiwa
Naye ebyo teyabijjukira n’akola kino

Yalina enkumi ze ttaano nga nkukulire
Era ng’enkola y’abakazi tobazannyisa
Omukazi tabulako akiba we nze nabalaba
Asula enjala ne yekuniza tazitoolako
Yakeera kugula mboga ye na butungulu
N’asiika na buli kirungo kyalimu muli
Teri amanyi gye yaggya katwa ke yakozesa
Osanga kaafikka ku ka Mugerwa ke yamuttisa
Ng’assa mu ssowaani ya Nabulya mubiwulire
Nga balya mmere nga bulijjo bwe bakola
Bwe baamala okulya Nabulya kwe kusalawo
Yewunzike akakkane ekintu mukkuto
Ne Mukyala Mugerwa ayingidde ekiriri kye
Era nga nammwe mu ttuntu bwe mutera okola
Munnange ye Nabulya teyazuukuka
Yafiira mu tulo otungi twamusaalirwa
Kale bba waddira eyo ku kkumi nga na bbiri
Mukyala Mugerwa yali ali ku mirimu gye
Aluka bitambaala awo ku mabbali
Awali omuti omukookoowe w’aweweerera
Bw’amala omugamba kino nti kulikayo
N’oli n’amubuuza mugole akutte ludda wa?
Mutera okutuula wano olw’egguloggulo
Kk’ono okuva ku ky’emisana ali eyo yeebase
Muzuukusizza n’asirika kwe kumuleka
Mugole tafuna olubuto basooka bwebatyo
Kko omwami tetukyazaala ffe nga twakoma
Tusigadde gejja abaana abo bamala
Bwaba yeebase kaŋende muzuukuse
Yaggye wa otulo otugwaagwa bwetutyo?
Tunuulira bba wa Mugerwa mu kifaananyi
Mukyala Mugerwa okakase bwali lunnabe

Taata bw’awummuza ensawo ye kwe kumuyita
Nti otulo otulanze ki otwebaka otyo?
Bwatayitaba n’anyeenyaako amuzuukuse
Wamma nga buli waakwata wonna wawoze
Kwe kuwenjula olutimbe amutunuulire
Ettaala n’akoleeza agobewo ekizikiza
Kye yalaba ky’ekyamutuma okunogoka
N’agwa ekigwo awo n’enduulu n’egoberera
Nga munne yakalambadde amaaso galaga
Yafiira mu kutya kunene awatali ajuna
Abantu ne bakuŋaana era kye baakola
Enfa ye nabo kwe kugituuma ekikutuko
N’aziikibwa e Kirinnyabigo mu buyinike
Kuba e Katwe tewaasigala ataamuziikako
Nga n’omukaabi w’olunaku olwo eyabakira
Mukyala Mugerwa bamutenda okukamala
Yakaaba nga bw’amulese mu buzibu butyo
Munno najja noonya gwe e Kampala wano
Nootoba mubi n’ompa we naseegera
Laba Nabulya bw’ondekawo ndage wa kati?
Walumbe talaga yandiraze okufa kuno
N’ondaga ne we n’aba nga tonakutuka
Gw’omanyi obulungi gye nava ondese wano
Kale balo akole atya nze nga tosaasira!
Naye kale nsigadde bubi nsaanayo ajuna
Olumbe lwalitutte nze ne manyirirwa
Mu nsi ab’ekisa baggwaamu obaddemu omu
Kale bwe yasazeewo Mukama okukuyita

Mukyala Mugerwa obutemu ky’ekizibu kye
Naye mutwe alina amagezi tomuzannyisa
Mu kuziika yamalayo obunaku bwe yasobola
Omufu yali munywanyi we ekyo bwe kyalaga
N’adda e Katwe naye amagezi ge yakozesa
Nga tomanya nti eddya liri lye yayagala
Yajja akuŋaanye obuntu bwe bwe yali nabwo
Agende anoonye awatuufu w’aliseegera
Bannyina bba wa Nabulya kwe kumusaba
Abakuumire ku bu mulekwa bw’abufumbira
Engeri kitaabwo gy’akeera Katwe okupakasa
Nabo teri alina watuufu ew’okubulaza
Ne bamusaba afunemu engeri y’ekisa
Omufu abadde munne we lwa kufa kuno
Ndowooza yakuba n’enkwawa lwa kuba nabo
Abaaliwo tebaamwekkaanya kumulaba
Okusooka bba wa Nabulya nga muganzi we
Kati omutemu y’agaziye mu maka muli
Bw’obuuza ono y’ajja atya mu maka muno?
Bakuddamu akuuma mabujje amato gano
Mu kisa kya Nabulya ze results
Ye kubeera mu ntaana ky’ekiwummulo
Gwe yajuna ng’ensi eno emutawusa
Y’ali mu ddya lye ekintu kiruma
Bwe mbabuulira okukomya ku kisa kino
Ne mumpita omubi tewali we kiyambira
Nkuwadde ebbanga weerowooleze
Owunzike ng’anasula ewuwo omutebuse
Omwegayirire nviire abantu ba luno
Mujjanga bugenyi nga toosule awo kimala
Tomala kuwulira Nabulya bye yaganyulwa
N’osigala ng’amannyo okyagayanise

Kati amawulire gatandise okuwulirwa
Nti ku muliraano awo waliwo Yiga
Mukyala Mugerwa kirabika amukozesa
Lwakuba tewanafunika bukakafu
Abangi we basonga ennyo olunwe luno
We kitera okwabikira munzikirize
Mukyala Mugerwa abaami gwe mulimu gwe
Alinga mmotoka ya takisi mu kupakira
Oyo we gunaggumira ka musaasire
Bba wa Nabulya obubwe bukomye
Omwo yajja lwa Nabulya gwe yatemula
Gwe eyali bba wa Nabulya ki akutaliza?
Yatta Mugerwa bwe yali tannalabuka
Kati obwongo busaanuuse e Kampala wano
Kale Mugerwa omwavu we yamuttira!
Eby’obugagga bwe ajja kutta abisigaze
Yeegaziye mu nju yo ng’ali ne Yiga
Wuuyo omuzaddemu n’omwana alayiruse
Nze nakusooka ku mukazi oyo wummula
Enkomerero ntaana kankubuulire
Ssi mulwadde wa siriimu ssimuwaayira
Mpozzi ng’era abufunye mu biro bino
Enzita y’omukyala oyo kankubuulire
Ofunda ne siriimu akuganya okutegeka
Obutakwatula linnya ntya okukudibya
Naye omukazi oyo ne mu kyalo bamwekola
Kuba nze gye namwagalira mu biro biri
Era okutandika okuyimba kwe nasookera
Munnange mu Kikuubo gy’okola
Olyangayo emmere afumba oli ebivaavava
Ajja kukulesa mmotoka eyakakumenya
N’obulwa n’empale ossaako enamba gy’ovuga
Olugambo ssi lubi kulukola
Naddala bwe lubeera nga lujuna
Abaagalwa nkomye awo eby’ensi tebikoma
Buli omu andabire ab’ewaabwe kuba bibi

Read Abayimbi Lyrics by Herman Basudde

Share Mukyala Mugerwa Pt.2 Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.