Basudde omulimu omulungi gwe nagabana
Mbatuusengako emboozi n’amawulire
Nziramu okakasa bye nayogera
Ndi mugumu omulimu gwe neewa ngya kugukola
Eno emboozi gye nina wano
Ssi kyekimu n’ezo ze nnyumyanyumya
Nayize n’engeri ate gye mbisengeka
Kaakati nyumyamu byokka ebyo ebitetemula
Ndowooza Mukama ky’avudde anzijukira
Ne nfuuka mukwano gw’abangi olw’obuyimba
Gye buvuddeko nga n’abayimbi bavumwa
Balangirwa obwavu n’obugwenyufu
Kino nkiggumiza n’amaanyi nkikasa
Endongo ssi y’eyonoona bw’oba watondebwa
Nandazze nnyo kanzireyo kaboozi
Ye ba sseruganda musula mutya ebiro bino?

Mu nnaku enkulu ezimanyiddwa mu mwaka
Mwemuli ne Ssekukkulu ebaako okucakala
Mukyala Mugerwa lwe nsooka okumulaba
Mu ndongo gye twali tulaze okucakala
Ye Mwami Mugerwa mu bikeesa teyajja
Olw’olusujja lwe yalina teyasobola
Omukazi bw’abuusa ebbeere ne lyetala
Nze ne nsannyalala n’omutima ne gukuba
Ne mbuuliriza nzuule bba muwugule
Awo we ngafunira nti ali waka teyazze
Nasooka ne nkuba plan kwe kugifuna
Ne nkwata mu mpale ne nzigyayo omutwalo
ne nsooka mbalako ttaano ne nzimukuba
Ezisigaddewo ne ngugula ngumutamye
Ensimbi ziruma okuzirya ng’eyazibba
Bakulimba ey’omukyala teruma
Ssente teremwa n’ebinene ebisigula
Mukyala Mugerwa yamugonza okukamala
Twatandikirawo omukwano ogutagambika
Tegwakoma awo n’enkya nagenda
N’ekyavaamu nga buli we njagalira
Ŋenda mulabeko tulina we tusisinkana
Ffe twafunawo ne bulooka ow’okutumibwa
Ako kaali kawala akaamusibanga enviiri
Ku muliraano gwa Mugerwa we nali mpita
Nga w’ewabeera n’akawala ke twali tutuma
Kyali kizibu nnyo Mugerwa okutumanya
Olw’obukodyo bw’omukyala bwe yali asuza
Naye omukwano bw’ogutamiira gwo gukula
Naddala ku ludda olw’abakazi bagukutamya
Kuba muganzi wange ono gwamusoggola
Nga buli lunaku antumira musisinkane
Ne kimuviiramu ne bbaawe okumunyiwa
Ne nfuukira ddala bbaawe mu ndowooza ye

Sitaani bw’alaba ayidde gw’agoberera
N’entaayi tesala nakozesa ekikyamu
Ate ku bakazi awo anegula buneguzi
Kuba emitima gy’abakazi miyabayaba
Ne mukomusajja naye tayagalika
Kizibu okumwagala n’olekawo obufumbo bwe
Kuba muganzi wange ono yasooka kunkema
Nti mbeera wa busa mbadde wuwo eyo gy’osula
Nazzaamu ekkwano ne simanya ndowooza ye
Nti toba na balo obadde waka eno wange
Kazzi olwo kye yali anoonya kwe kukifuna
N’agenda amalirira atemula bba mutwale
Ekyo kyali kyama kye omukyala teyayatula
N’ajja yeerabira nti obwa namwandu buluma
Ku chai w’amata ku nkya gw’amufumbira
Mwe yassa na kano akantu kanywe okawulire
Olwamala okola by’alunga ne binoga
Kwe kumuyita Mugerwa n’agolokoka
Yaggukira ku chai n’anywamu wabindaba?
Byali bibiri olwabimala ne yeebaza
Awo w’awulirira n’obuyoka nga busala
Yasindamu ebiri ekyavaamu kusesema
Ab’emiriraano awo ogenda okubayita
Ng’abadde Mugerwa kizibu nnyo okumumanya
Kwekuyandayanda banone omuvumuzi
Baba bamalako oluggya kwe kubayita
Nti temutagana eno gye muva bikyamu
Mwami Mugerwa lwatutte dda bambi
Ekyaddirira ntegeka y’amaziika ge
Enkeera w’olwo ne tumuziika ne luggwa
Nga tewali ategedde nfa ye mu bujjuvu
Ne mu birango bye bassaamu kikutuko

Bwe waayita ennaku ne ŋenda okumulaba
Muganzi wange bw’afiiriddwa omubeezi
Tubeera tunyumya mu lusuku awaziyivu
N’ambotolera ekyama kye yakusika
Nti muggyewo olyo abadde atutabula
Twagalane bulungi awatali na kwekeka
Yantegeeza bw’anjagala ennyo okukamala
Ky’avudde ansigulirawo enkonge eri etutabula
Yaŋamba olumbe nti olumala okulwabya
Tewaayite nnaku anaabeera eno wange
Ne ngya mpuliriza nga n’amameeme gakuba
Ne yetemaatema nsiime nnyo obutemu bwe
Ne yeteteggula ng’annyumiza mukeneka
Olwamala akaboozi ako ne musiibula
Ne mulaga n’olunaku olw’okudda okumulaba
Nagenda nkirowooza Mugerwa okufa atyo
Ne neesalirawo kalibutemu okumuleka

Olwagoba ewaka kwe kubaka ekkalamu
Eno y’ebbaluwa eyadda eri omulungi
Mukyala Mugerwa kati namwandu bambi
Weebale kundaga amagezi go we gakoma
Okutta Mugerwa nyongedde okusanyuka
Kindaze bw’olikwanayo omundi nange bwendiba
Wotidde Mugerwa eyakuggyayo mu bakadde bo
Nze eyakusanga ku Sekukkulu terulikya
Kali oli mutemu n’ebbaluwa wagifuna
Olaba tosaasira na bwana bwo buto buti
Wotidde Mugerwa gw’olinako amabujje
Kigambo kya nnaku nkakasizza wazoola
Wuuyo okyali muto bw’olifunayo akuganza
Ndikuwonera wa gwe omutemu omutendeke?
Abantu bangiko abatakumanyi butemu bwo
Omwo mw’oba onoonya gw’olituga mu maaso
Ekyo ekitimba kyo mw’otugira abasajja
Ninga akiwonye maliddewo sikyadda
Toddangamu na kutuma eno bantu wange
N’abantu b’otuma mbawonyezza okutayira
Buli omu alekere munne we emirembe gye
Tewali kitalema nkulemeddwa nkukooye
Abaagalwa nkomye awo eby’ensi tebikoma
Buli omu andabire ab’ewaabwe tuwaye luli

Read Mukyala Mugerwa Pt.2 Lyrics by Herman Basudde

Share Mukyala Mugerwa Pt.1 Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.