You know dem call me who?
Aganaga Love Nigga
Kayimba nnyimbidde ffe ba Love Nigga
Oh, Spice yanywegera Gravity
Love Nigga, bu ssemyekozo
Ffenna twali basanyufu
Okuggyako Bebe Rema lw’ayagala Musuuza
Buyimba olina dimple, juice wa mango
Rema beewaana ne Musuuza
Baby Aamal bamuzaala awo
Babiri batandika okumukuza
Baalina personal doctor
Personal doctor yali Doctor Hamuza
Mbu bampite mukyala wa dokita
Bw’anaaba nga dokita
Siri muyembe
Mbu nakoowa bu Love Nigga
Love Nigga bu ssemyekozo
Kenzo akyali Bulaaya mbu anoonya Award
Eno talina ky’amanyi
Omwana n’atulisa bbomu
Bbomu, ekifaananyi kifuuse bbomu
Rema mbu ali lubuto lwa Hamuza
Omuzaalisa mbu personal doctor
Rema agenda kufumbirwa dokita
Yogaayoga October n’akyaaza dokita
Tuli ku mikolo Rema ng’akyaaza Hamuza
Kamwakabi zireeta Muzaata
Ooh Muzaata amaze okulya kaceere
Muzaata n’avuma Musuuza omulangira ebisiyaga
Mu maaso g’omwana we
Mbu oli musiru owase nnyoko
Abantu
Mpiso teyeesigamwa
Abantu
Mpiso teyeesigamwa
Bw’owulira ebigambo ebibava ggwe mu kamwa
Abo ba people
Mpiso teyeesigamwa
Abantu
Mpiso teyeesigamwa
Abantu
Mpiso teyeesigamwa
Bw’owulira ebigambo ebibava ggwe mu kamwa
Abo ba people
Mpiso teyeesigamwa
Ggwe!!!
Bagendeko mpola
Abo sabasaba nkugambye bakira ebikompola
Omwekoonako akunuubula akiri akubongola
Wano nkubuusa nfuuse musomesa nkubuusa
Abantu bbomu
Bakulemesa ebyokya ggwe odde ku ggolu
Sinenya oyo Bin Laden eyabakuba bbomu
Kye baakola oyo Danz Kumapeesa
Radio Mowzey, AK 47 oh!
Ggwe!!!
Abantu mwakula mimwa
Waliwo abolokompokwa omugagga teyafa
Bwenkebera ne ndaba ku Social Media
Omugagga Ssemwanga mbu teyafa!
Mukyala we amabujje ge ko omukumaakuma
Kati laba ebigambo mutandise bikumaakuma
Mu kifo ky’okumugumya bambi n’aguma
Ne Diamond yamugoba na mukubaakuba
A Bad Character
Share Mpiso Lyrics – Kalifah Aganaga
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.