Oyo mu kifaananyi ki mwe twava
Era tuli baana be
Kale atwagala nnyo
Kyova olaba atwagala nnyo
Ye mugenyi atalabika
Nga naye buli nju akyalamu
He’s the Lord
He’s the king
He’s the creator
Obuyinza bwo bwo bukusaana
N’ekitiibwa kibe gyoli
Kabaka wa ba kabaka Katonda waffe
Fenna gw’otusinga
Bangi beewanise ah nga beereeze
Naye tebakutuuka
Amaanyi go ge gasingayo
Obuyinza bwo bwe busembayo
Nzijukira muzeeyi lwe yafa
Nze lwe nakakasa amaanyi ge
Ssente zaaliwo abasawo baaliwo
Naye era byagaana
Nze olwo ne nkakasa amaanyi ga Katonda
Nti bw’abeera ng’asazeewo
Ssente efuuka ekisasiro tegasa abange
Katonda y’asinga
Tunuulira ensolo ku ttale
Gye zibeera bambi
Teri musawo, teri alunda
Naye zibeera eyo
Teri afumba, zizaala
Abaana ne bakula
Olowooza ani oyo azibeezaayo?
Katonda waffe
Obuyinza bwo bwo bukusaana
N’ekitiibwa kibe gyoli
Kabaka wa ba kabaka Katonda waffe
Fenna gw’otusinga
Bangi beewanise ah nga beereeze
Naye tebakutuuka
Amaanyi go ge gasingayo
Obuyinza bwo bwe busembayo
Aaaah ah
Aaaah ah
Aaaah ah
Aaaah ah
Nze ntunuulira ensi, enneewunyisa!
Ssi mpagi, ssi nsonda yaayo
Gye tumanyi nti yiino
Agayanja, emigga
Laba ensozi empanvu
Katonda muyiiya yayiiya yamala
Labayo obwengula
Obuyinza bwo bwo bukusaana
N’ekitiibwa kibe gyoli
Kabaka wa ba kabaka Katonda waffe
Fenna gw’otusinga
Bangi beewanise ah nga beereeze
Naye tebakutuuka
Amaanyi go ge gasingayo
Obuyinza bwo bwe busembayo
Kankusinze ssebo
(Ayi Mukama nkuwa obulamu bwange)
Ayi Katonda nkuwa obulamu bwange
(Kuba, eby’ensi mbirabye temuliimu nsonga)
Abagagga bangi mbalabye bagudde
(Ka nneetegekere obulamu obw’olubeerera)
Ssebo nkweka etatuuka babbi
(Ayi Mukama nkuwa obulamu bwange)
Eno ensi eyinula naye ate eyiwa nnyo
(Ayi Mukama nkuwa obulamu bwange)
Nkuwa obulamu bwange Kitange
(Kuba, eby’ensi mbirabye temuliimu nsonga)
Ntereka etatuuka babbi
(Ka nneetegekere obulamu obw’olubeerera)
Ssebo ntereka etatuuka batemu
(Ayi Mukama nkuwa obulamu bwange)
Kitange ntereka etatuuka buzibu
(Ayi Mukama nkuwa obulamu bwange)
Nkuuma Kitange
(Kuba, eby’ensi mbirabye temuliimu nsonga)
Eby’ensi mbirabye temuliimu nsonga
(Ka nneetegekere obulamu obw’olubeerera)
Abagagga bangi mbalabye bagudde
(Ayi Mukama nkuwa obulamu bwange)
Bangi bangi eby’obugagga babireseewo
(Ayi Mukama nkuwa obulamu bwange)
(Kuba, eby’ensi mbirabye temuliimu nsonga)
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.