Maulana & Reign – Kyagulanyi Lyrics

Hmmm
Nnyimbye kano ne Eddie Dee
Mu Akton Records Madder
Maulana & Reign we’re badder
We’re madder

Eyo waaliyo omusajja omubanda
Bannayuganda gwe baayagala
Nga yakuzibwa mu mpisa ayogera bulungi
Kyagulanyi yali yabangulwa
Omutima gwa Kyagulanyi gulinga
Gwe baakola omukole
Era mu Paalamenti eyo
Gasajja gaayagala gamusambe
Mbu lwakuba obulamu bwe wattu
Yabuwaayo lwa bantu be
Baamuyita kasajjasajja era
Mbu ku bo musada
Bwe namusisinkananga
Salute nga muwa ya Pulezidenti, oh yeah

Baayogera
Nga ye Kyagulanyi tabifaako ebyo
Nga ye ayoya kimu
Enkya Uganda ekyuuke, ky’ayagala
Baayogera
Nga ye Kyagulanyi tabifaako ebyo
Nga ye ayoya kimu
Enkya Uganda ekyuuke, ky’ayagala

Baamukolanga enkumu ebinyiiza
Mu mitima ne twekyawa
Yatugamba mmwe mugume
Ensi erikyuka mu ddembe
Oba kibooko kankubwe
Oba makomera nze ka nsibwe
Naye eyo mu dda
Tulikya ne tufuna emirembe
Talina tabbu yonna
Talina batuuni yonna
Embeera ze oyo, kwe nawummulira
Mwagala k’abe alinga, omusadasada
Mmwe nga bwe mugamba
Nze oyo gwe nalonda ammala
Sentamu wange

Baayogera
Nga ye Kyagulanyi tabifaako ebyo
Nga ye ayoya kimu
Enkya Uganda ekyuuke, ky’ayagala
Baayogera
Nga ye Kyagulanyi tabifaako ebyo
Nga ye ayoya kimu
Enkya Uganda ekyuuke, ky’ayagala

Omuntu ayagala eggwanga n’abantu be, hmmm
Agumira byonna ewataliiwo na kusoowerera
Nga kyonna ky’aba, ye tafaayo
Ne bwe bamusamba
Ewaluma watya nga ye aguma
Y’oyo ayagala, ayagala abantu be
Bobi be bamutuma
Kubanga ensonga z’obufuzi
Nsonga za kutumwa
Nze Bobi k’obe mulogo
Bannange k’obe omufere
Nalonda gwe
Mu mutima ssiitenguwe
Nkwagala Sentamu

Baayogera
Nga ye Kyagulanyi tabifaako ebyo
Nga ye ayoya kimu
Enkya Uganda ekyuuke, ky’ayagala
Baayogera
Nga ye Kyagulanyi tabifaako ebyo
Nga ye ayoya kimu
Enkya Uganda ekyuuke, ky’ayagala

Baayogera (hmmm)
Nga ye Kyagulanyi tabifaako ebyo
(Yamba taasa Uganda Sentamu)
Nga ye ayoya kimu
Enkya Uganda ekyuuke, ky’ayagala
(Uganda yiiyo gitwale)
Baayogera
Nga ye Kyagulanyi tabifaako ebyo
(Yamba maama Uganda Sentamu)
Nga ye ayoya kimu
Enkya Uganda ekyuuke, ky’ayagala
(Bambi yamba Uganda)

Read Sylver Kyagulanyi – Tondeka Mukama Lyrics

Share Maulana & Reign – Kyagulanyi Lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.