Local Defense Lyrics – Christopher Kiryowa

Nkomyewo mbalingizeeko baana battu
Musembere ndeese obugambo obuwoomu
Nze Topher Kiryowa wo ow’e Kassanda
Ababadde batammanyi ekyenyi kiikino
Jjuuzi abaali bambika baali ku byabwe
Weewaawo kyawedde nkifunyeemu kko
Kuba kati bwe neepima nina emikwano
Buli kati gyempitira nkubirwa jambo
Kambe nga ndi Busoga olukonkona nti
Olwogera nti Kiryowa baggulawo era
Ne bwebaba balya mmere ntuula butuuzi
Buli gye bunzibirira nfuna we neebaka
Endongo ennaku zino nkuba ya njawulo
N’ayagala okutyabula amazina yanguwa
Omukama kikkirize yampa nnyo nze
Kyebavudde nno bambika ng’ate nkyassa!
Olaba kati nnyimba ebigambo ebiganda
Nebyesolossa bulungi endongo ng’eno
Sikyanenya baakaabye bwe bambise nze
Nkakasa nti ekibakaabya kibaddemu ensa
Bwoba ng’oliwaggula ekibumba ky’ente
Omalanga kutunula n’okyekkaanya
Kyangu okkuguza omutima mu kupapa awo
Abeddira omutima ako kabadde kammwe

Mbasaba tukkaanye ku kigambo linnya
Abantu bangi ku nsi tunoonya mannya
Naye ssebo okulifuna lizibu nnyo nnyo
N’okulikuuma ppaka lw’ofa si kya lusaago
Erinnya terikuumika nategedde nze
Muliraanwa wange nga yanoonya linnya
Yamala ebbanga ggwanvu nga likyagaanye
Lugaba olwamujjukira yamuwa linnya
Laba ate bw’alifunira mubyokusaaga
Ye ogwali omulimu gwe kuyigga babbi
N’abatabbye bibye bonna ng’abakwata
Ekyalo nekitereera nekikatagga
L.C. bwe zituuka luli okulonda
Kko ffe akwata ababbi abe owa Defense
Yayiro bwatyo nno ng’alya bwa Defense
N’emmundu y’ekyalo ng’olwo y’agikuuma
Yasooka n’akuuma bulungiko okusooka
Nga nebwoleka eka nzigule nga topapa nnyo
Yayiro munnaffe ekyalo y’akikuuma
Ng’olwo n’emisango ku kyalo tegikyabaako
Kkozzi twesembereza omuzibu ennyo okusinga n’abaamusooka!

Yafuuka w’amaanyi nnyo ku bwa Defense
N’ebyalo eby’okumpi nga y’abikuuma
Nagenda atereeza ku miriraano eyo
Empooza ku nguudo y’omu y’asolooza
Yagaggawala nnyo nnyo ng’akola obwa Defense
Omanyi alina amagezi ate mukujjukujju
Ne poloti ezitundwa zonna y’azitunze
Bannange nno Yayiro yakola ssente
Essente z’akuŋŋaanya bwaba azikutte
Nze andabikira ng’azimba ebunaayira eyo
Wano ku kyalo ky’ewaffe tazimbangako nju
Apangisa bupangisa okuva lwe yajja
Erinnya lye okutandika okuwewuka eyo
Yasooka kuyitanga na bakabasajja
Olw’okuba nga ye mukuumi w’ekitundu
Banannyini bakazi nebaviiramu awo
Olulala ate n’akola ekintu ekikyamu
Bwe yalagira bookye omubbi wa bbulooka
Ekyo nekinyiiza nnyo abantu b’ekitundu
Takimanyi nti naye baamusangamu ennwe
Baamusanga jjuuzi atunda ppaasi
Sso nga ppaasi eyo yagisuuza babbi
Ebintu by’alonda teri lw’abiranga
Owa Defense Yayiro anaaba atya ye!
Ebbaasi ya Pawulo gye yasuuza ababbi
Laba bw’agaana ogimuddiza mubyokusaaga
Ennaku zino ngiwulira evuuma bubi nnyo
Erabika nga ring z’eziweddeko ezo
Ppoloti ya Bbeene jjuuzi gye yatunda
Ffe ogenda oginunula twawaayo nte
Ekiseera ky’ekyobwavu nga bw’olaba eno
Tujulira kumuggya na ku bwa Defense
Ayiikiriza banne mu buntu obutaliimu
Okusula nga talwanye omuwola ebbanja
Potolo y’omusolo lw’egwa mu kitundu
Abantu b’ewaffe nga bakubwa miggo
Bwe yali atandiikiriza okwata ababbi
Waliwo ne banne abaamuyambako awo
Olwagwa mu bintu n’abeesalako ate
Kweggamba alabika ayagala kulya omu

Enkuba erudde nnyo kati okutonnya
Olw’okutya empooza gy’erina okuwa ejje
Ffe eri tuwa mpooza n’okusala ebyayi
Elisiiti y’empooza bamala kujaaza
Owa Defense Yayiro asudde erinnya
Jjukira twamulonda lwa kukwata babbi
Laba jjo bw’abuzaabuza ente y’omusajja
Awo nno w’asuulidde ekigambo linnya
Okumanya ate kati afuuse waakabi nnyo
Yayize n’okwegaana bye yayogedde
Bw’onyiikira omulumiriza ate ng’anyiiga
Nze kati bwe yeegaana nga mbikomya awo
Olaba n’okwetaaya yakuggyawo dda
Ng’onookyala omutegeeza wabula wiki!
Koomala ositula nga tategeddeeko
Ononebwa ne mu lugendo n’ozzibwa eka
Okutuusa lwetulimanya nti kyalo kyaffe
N’embeera mwetuli esinga kunyiga ffe
Tufaanana ddala ensolo eziri mu zoo Entebbe
Abalambuzi banaatera okulambula ffe
Twayagala jjuuzi okuyiwa akakiiko
Nga n’ekisinga obukulu kwekuggyako ye
Naye ssebo olwakimanya ate ng’atutiisa
Mbu tewali asobola kifo ky’alimu ekyo
Yaggyayo n’emmundu n’agitulaga awo
Ŋŋamba eri gye twamuwa okuuma ebyaffe
N’alyoka atukangisa nti eyo emmundu
Lw’erivuga ab’ekyalo balikirojja!
Nalowooza okusenguka nve mu kitundu
Abaana gyembalaza ne kyenaabaliisa
Kko nze enju yange yiino yaakaggwa
Nze leka nzizeeko Yayiro ku bwa Defense
Tetwamuzzaako olw’okuba nga ye mutuufu
Twakikola olw’okukola ekitaamunyiize
Katugiranga ate kale tugendera awo
Lwaliba yennyudde y’aliba atugamba

Leero nno bye njogedde kebinaamutuuka, eh eh
Sisuubira nti ne mu nju naasulamu nze!
Eddembe ly’okwogera yalituggyako dda
Olwogera mbu okyankalanya ekitundu
Ate era neekakasa birina okutuuka
Anti n’abaleebeesi baalina kamaala
Baamuziga ennaku zino alina ebisente
Baalya nabo amaaso yagabaziba dda
Ffe tetulina ttabu n’emu ku musajja
Okuggyako enkola ye y’eyatusobedde
N’atuuka otwesibako okoma ewala atyo
Nti alimuddira mu bigere y’anamulonda
Nga ndowooleza ku musingi ogwa wansi ennyo
Abatuuze mbasaba mube bagumu nnyo
Ono kuba si y’asooseeko ku bwa Defense
Ne Mukama gyali essaala zimutuuka
Tujjukira n’ebyalo ebituliraanye
Defense baayo baali basajja byuma
Naye nno munnange obukya buziba obwo
Abamanyi olulimi ako nkabalekedde
Kasita wajja akakisa konna okukyusa
Tweweeyo tusalewo lumu okukyusa
Ekibi bwe tutuuka ku kusalawo ekyo
Abalala tulemwa olw’okutya omusajja
Ddembe lyaffe ng’abantu b’ekitundu
Okutereeza enfuga yaakyo era n’okukikuza
Nze nebwendiba nfudde mulikaabira ekyo
Talanta yange ŋŋanye ogituulako ntyo

Erinnya okulikola lizibu nnyo nnyo
Kyokka ate okulisuula kutemya bwoti
Abantu bangi ku nsi bakoze amannya
Okunnyuka n’amannya ky’ekikyaganye
Singa kyali kisoboka abakola amannya
Mukama n’abanona nga tebanagatta
N’okufa kwandiwoomye okukira sukaali
Nga buli akoze erinnya aziikwa mu kitiibwa
Erinnya bwe litabuka ppaka ku ssa eryo
Mu ngeri yonna gy’onnyuka tewaba asaalirwa
Abantu bangi kye bava bakuba mbuutu
Ogwo neguba ng’omugugu ogwetikiddwa
Nandisabye bannaffe abakola amannya
Okunnyuka nga mukyali bazitomu kko
Nze bangi be ndaba abawuubira abantu jambo
Ng’abantu be bawuubira tebabaliiko
Yayiro singa yannyuka ku bwa Defense
Ng’akyali wa ttutumu kye kyali ekirungi
Ne bwe yandiwangadde ennyo okukira olwazi
Yandibaddde ajjukirwanga mu kitiibwa
Naye kati ab’ekyalo abamudduse nkumu
N’enkiiko z’ayita tetukyabaayo
Gwe ate ssebo awatakyali amugambako kko
Olaba ne chairman takyamuwuuna
Ekisinze omuleetera okuwewuka atyo
Kasita yabuzaabuza ente ya Lusaago
Enkaayana zaatuuse ne ku Puliisi
Okuddamu odizimba oyo anaalwawo nno
Abange mukkirize ninnye zidda waffe
Ne kafyu tensanga nga sinatuuka
Omanyi ate ennaku zino akuuma nnyo nnyo
Engeri gye yeenaazaako ebibaddewo ebyo
Temunnenya abange genda mangu bwentyo
Naleseeyo omwana eyo ewaka omulwadde
Ate nga ne ssente tezaabaddeyo eka
Omunaku ennaku zino anti takyalwaza
Bwendiba nkyassa njakuyitako eno
Nzije mbabuuzeeko tunyumye obuboozi
Abadde tagoberera ansaaliddwa nnyo
Anti kati okuddiramu ndimala kudda

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *