Katonda Wange Lyrics by David Lutalo

Alina omukisa buli atya Mukama
Atambulira makubo ge
Mpita Katonda wange
Kubanga omuli emirimu gy’emikono gyo
Oliba wa mukisa
Era oliba n’ebirungi

Ebizibu bwe bijja
Ne waba nga waliwo obuyinike
Mpita Katonda wange
Nina anwanira
Atalina kiso ky’atya
Mpita Katonda wange
Hmmm, on’onkola ki?
Nga ndi n’asinga amaanyi Katonda
Mpita Katonda wange
He’s my defender
Bwe waba annumba gwe mpita
Mpita Katonda wange

Mungu mpa amaanyi
Ayi Katonda, ooh
Luno olutalo lwendimu
Nkwetaagawo okumpanirira, Mukama
Sitaani akutte ekkanisa agiyuuyayuuya, ooh oh
Bali mu maaso ge bafukamidde
Bakuba mavi bakwerabidde!
Ebirowoozo bibali ku bugagga bwokka
Obutalina faida yadde
Abamu gye baggya obugagga
Wabuzaabuza naye
Nze njagala bubwo ayi Katonda
Sitaani taggya kunfukamiza
Obugagga bwe bwa byoya
Buwotoka nga bisanja
Ayagala balwana
Asanyuka waliwo bayomba
Kye nva mpeereza omu
Katonda wange owomuggulu
Ye yekka anwanira

Ebizibu bwe bijja
Ne waba nga waliwo obuyinike
(Oyo gwe nsinza)
Mpita Katonda wange
Nina anwanira
Atalina kiso ky’atya
Mpita Katonda wange
Hmmm, on’onkola ki?
Nga ndi n’asinga amaanyi Katonda
Mpita Katonda wange
He’s my defender
Bwe waba annumba gwe mpita
Mpita Katonda wange

Njagala nkusinzenga
Gwe watonda gwe wabumba
Amawanga ngagambenga ah
Nti buli kimu okisinga
Oli Katonda munene
Ne bwe wataba mmere
Ndiba mulamu bwe wagamba
Ogalulira ani kati?
Ng’obulamu nabuwaayo gyali
Nsinza omu n’anti
Kubannemesa gwe mpita daddy
Teri mulala gwe ndiwa byange yenna
Oyo y’amanya bye nkola
Y’ampa y’ankuŋŋaanyiza obugagga
Obutalina buyinike
Sitaani mulimba
Ebibye birimu katemba
Omutima gwe gwa kyuma
Alabika talina magumba
Nsinza omu
Katonda wange ali mu ggulu
Talinvaamu
Mukama wange byonna abisinga

Ebizibu bwe bijja
Ne waba nga waliwo obuyinike
(Oyo gwe nsinza)
Mpita Katonda wange
Nina anwanira
Atalina kiso ky’atya
Mpita Katonda wange
Hmmm, on’onkola ki?
Nga ndi n’asinga amaanyi Katonda
Mpita Katonda wange
He’s my defender
Bwe waba annumba gwe mpita
Mpita Katonda wange

Mukama Katonda nkwebaza, okunnunulanga
Ndikusinza n’emmeeme yange yonna
Obutaweera Mungu
Nnawaayo omwoyo gwange sirikusuula
Omutima n’omubiri gwange birikusinzanga
Nkozesa ky’oyagala taata sirikutenguwa
Nasigaza kwesiga gwe, Mukama
Atajja kujjulukuka abandeetako amatanta
Bajja kusaanuuka
Bakimanye nti gwe olinga lwazi
Tosobola kusirittuka Mukama
Osinga olusozi Sayuuni ooh oh, oooh

Yamanyi bwendiba ha ah
Y’amanyi bwendiba
Oyo Katonda ataleka baana be kulya butanga
Y’ategeka bye nkola
Yekka gwe nsaba
Buli kyange n’aluŋŋamya
Y’amanyi bwe ndiba
Y’antegekera bye nkola byonna
Y’ategeka bye nkola
Katonda omulamu ataleka baana be kusaanawo
Y’amanyi bwe ndiba
Y’amanyi bwe ndiba ah ah
Y’amanyi bwe ndiba
Oyo Katonda ataleka baana be kulya butanga
Y’ategeka bye nkola
Yekka gwe nsaba
Buli kyange n’aluŋŋamya
Y’amanyi bwe ndiba
Y’antegekera bye nkola byonna
Y’ategeka bye nkola
Katonda omulamu ataleka baana be kusaanawo oh
Y’amanyi bwe ndiba

Hottest lyrics right now!!

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *