(Katambala Lyrics by Kenneth Mugabi)
Waleka akatambaala ko e wange n′onngamba nti okomawo,
Nnalindalinda mpaka Ku makya,
Tewasibula nga ogenda wagenda n’omutima gwange,
E nnamba y′essimu okugireka, komawo.
Oluusi nnebuuza oba wagenderera okaleka,
Mikwano gyange ginsekerera lwa katambala,
Oluusi ntambula nako mpaka eyo gyensiiba,
Ebinnyiiza byonna nga nsikayo katambaala.
Katambaala kempunyiriza
Katambaala kempunyiriza nga njagala okkulaba
Katambaala ke kanzijukiza ekifaananyi
Kyo, (ke kanzijukiza ekifaananyi kyo,)
Katambaala ke mpuyiriza njagala okkulaba.
Nnakawanika Ku kisenge amaaso we gatunula ennyo,
Nnafuba okkulaba akawoowo tekaggwamu,
Bbanga liyise liweze nkyali mugumu nnyo
Nkyalina essuubi oba oli awo olidda n’okatwala.
Oluusi nneebuuza oba wagenderera okkaleka,
Mikwano gyange ginsekerera lwa katambala,
Oluusi ntambula nako mpaka eyo gyensiiba,
Ebinnyiiza byonna nga nsikayo katambaala.
Katambaala, kempunyiriza
Katambaala kempunyiriza nga njagala okkulaba
Katambaala ke kanzijukiza ekifaananyi
Kyo, (ke kanzijukiza ekifaananyi kyo,)
Katambaala ke mpuyiriza njagala okkulaba.
Yaa…
“(internode)”
Oluusi nneebuuza oba wagenderera okkaleka,
Mikwano gyange ginsekerera lwa katambala,
Oluusi ntambula nako mpaka eyo gyensiiba,
Ebinnyiiza byonna nga nsikayo katambaala.
Katambaala kempunyiriza a aa.
Katambaala kempunyiriza nga njagala okkulaba
Katambaala ke kanzijukiza ekifaananyi
Kyo, (ke kanzijukiza ekifaananyi kyo,)
Katambaala ke mpuyiriza aa… njagala okkulaba.
Katambaala ke mpuyiriza nze nze nze nze nno, nze nno katambaala.
Nga njagala okkulaba. (Whispers) uuuh
Ke kanzijukiza ekifaananyi kyo
Nga njagala okkulaba

Read Katambala Lyrics by Kenneth Mugabi

Share Katambala Lyrics by Kenneth Mugabi

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.