Kangume Lyrics by Gravity Omutujju ft. King Saha
Gravity
Byonna by’oyitamu
Bikwase Mukama kuba abisobola
Ian Pro
King Saha
Kaŋŋume
Kuba nazaalwa
Ŋŋume
Mu nsi eno bw’eti
Kaŋŋume
Ejjudde obulyake
Naakolaki nga gwe afuga eyo
Kaŋŋume
Mukama yamba
Ŋŋumye
Mpone okudaaga
Nze nfubye nkole
Nzinoonya maama
Naakolaki buli omu azikaaba
Gravity
(Bikwase Mukama)
Embeera ya Ghetto y‘eyongera kwonooneka
Nnyumba etonnya enkuba bw’ejja n’osisimuka
Neighbour ngyazika ebikopo nina okulembeka
Mabaati gaatalagga gajjamu n’enjatika
Ebiku n’enkukunyi anti ebisenge bya ttaka
Enkuyege omulyango zaaguzimbamu amaka
Nsombabyuma zaamanyiira tezeekweka
Ebiyenje byagejja ate nga bya black
Ttooyi yajjula dda erabika ewezezza mwaka
Ebidiba omwala gutwala n’emikeeka
Oba opoye olowooza kyakolera ntunuka
Muliraanwa afumbira ku nku akussa omukka
Oba oli awo council ereese emmotoka
Ng’esenda ennyumba tebaakola na ntegeka
Gavumenti egamba mwalina okusenguka
Byakuviirako okunywa enjaga osobole okwebaka
Gravity
Akasuka dice team ki ezisamba?
Obusajja bwalumba bukutte ne zi kamba
Badduse beekwese emmanju w’akayumba
Akasenge akaali okumpi baakazimba
Nina okubuukawo okuwona looye kyemugamba
Bw’abuuka okutuuka wansi baamugimba
Batuuni n’engwala walaayi baamusamba
Naakava emida ko Afande bya bulimba
Amulaga endagamuntu bambi nnyamba
Toa viato olabika ozannya katemba
Amukutte mu nsawo omuda ogubaddemu aguwamba
Amuta awoza omulundi gwe ogusemba
Musajja wattu oluusi atunda mmamba
Deemu we agenda zaala ali mimba
Ab’ekibiina baagala ez’obwammemba
Byantabudde ne nsalawo nkole akayimba
Gravity
(Ebyaddala)
Ow’ekikomando akeera okukuma sigiri
Ayagala addeyo eke n’akatimba k’ensiri
Ow’ekibanda akiggulawo ssaawa bbiri
Yeebaka wansi asonda ezigula obuliri
Ow’amakongo naye abeerawo ku santiri
Otwala ya mpanka oba nkuwe y’alaali?
Tagaba bbanja yakoowa dda ebya ttabbiri
Yeetamwa ba kasitoma abasaba ennaali
Mukyalawe alina church atunda ne safari
Asobole okudda eka agule sukaali
Asuubula amayirungi agatunda ku bbali
Sizoni ng’eri fiiti asiba n’agebbiri
Mukiibi ssaawa emu asikayo eggaali
Mwesige avuga boda naye alina ebiviiri
Bamuwaayirizza nti abbey emmaali
Basibye wa bwereere bondi ya mida abiri
Sabula
Read Very Well Lyrics by Slick Stuart and DJ Roja ft. King Saha
Share Kaŋŋume Lyrics by Gravity Omutujju ft. King Saha
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.