Ye Kani Kani
Ono omuwala Kani
Eh eh Ye Kani
Yeh yeh eh
Bakulu mubadde bulungi
Nange nasuze bulungi
Naye nnina omuwala eyantabude mubwongo
So no tubadde bulungi
Nga tutegeka na mbaga ah
Eeeh (eh eeh)
Omuwala takyanjagala
Kati ayagala nsimbi, bugagga na bintu birungi
Buli bwajja ewange aba aliko kyeyetaaga
Mummy kwekujja gyoli nga nkusaba onyambe
Eeeh (eh eeh)
Omuwala takyanjagala
Namusanga mu dwaliro eKololo
Nga obulamu bwe bugenderera
Nga mikwano gye gyerarikirira
Ne bazadde be berarikirira
Entaana emwesunga (eh)
Kwekuyita omusawo nemubuuza ogubadde?
Omusawo nangamba nti aweddemu omusaayi (maama)
N’ebanja ddene ate bazadde be baavu
Oh (eh eh)
Ko nze kambawe ogwange (uhm)
Mukama yabadde mulungi musaayi gwange gwamuyambye
Laba bwensasula ebanja lyonna lyebabanja
Muwala nga aba bulungi
Nga atuyita ku kabaga (eh)
Nembasubiza sijja koma ku musaayi
Nja mutwaala n’ewaffe mwanjulire abanzaala
Eh eh
Nga muli mpulira mwagala
Ebintu bibadde bulungi entegeka zibadde nnungi
Naye
Eeeh (eh eeh)
Omuwala takyanjagala
Anfudde bank gyatereka ensimbize
Bakulu sula bubi (eh eh)
Yanfuula askari nze akuuma ewuwe
akomawo munaana
Anfudde Kuuma ka sente ayitayo mubuzibu Kani
Kani Kani
Omuwala takyanjagala
Mpulira mwagala
Kati yafuuka malaya asoka kusasulwa
Omuwala akusobera
Buli lwomuwa ebirungi nasinza erinya lyo (eh)
Ate bwotomuwa
Bwotomuwa sente awo wewali obuzibu ye Kani
Eh maama
Bwatakyuse muleka
Ayambala obugoye obwabaana abato Eh
Obugoye tebumutuuka
Eeh eh
Ate amakundi gali bweeru
Nomubuuza nyabo oyambadde olagawa?
Agenda ku church nga agenda mu ndongo
Nomubuuza Kani yo baibuli eriwa?
Akuddamu nessanyu nze sigyetaaga
Ndaba ne pastor takyagisoma
Netaaga mikono gyange ntoole buli kyebampa
Bwagamba nti toola nga naawe otoola bible yaaki?
Oli omuwala answaaza
Bwotamuwa kyayagala oba omuyise kuyomba
Nze leero nkitwaala bwotakimpa nyiize
Asabiriza Eh
Ko nze kiikyo twaala Kiikyo twaala Eh eh
Sikuba omuwala anziika
Nebwomukubira essimu era aba asabiriza
Kani nkwagala! Nange nkwagala Eh
Mpaayo omutwaalo eh yi yeh
Ono omuwala takyanjagala
Kani nkwagala! Nange nkwagala
Eh eh
Nsabayo akakaaga yiiiii
Ono omuwala takyanjagala
Naye Kani mbuuza
Wenakuweera omusaayi gwange, kiki ekinanema?
Kani eh
Kani Kani Kani
Bwenalabye akyuuse nengenda ewaabwe
Nembuuza taata we ono omuwala yabaaki?
Kitaawe nangamba ebwoyo biwanvu
Twamuzaala ku Sunday nga nenkuba etonya
Netusanyuka nyo nyo netumutuuma erinya
Olw’essanyu eringi
Erinya lye panvu
Bwetwalaba panvu eeh
Kwekulitema
Erinya lye etuufu ye KanisayaYeesu
Bwetwalaba panvu nyo, kwekumutuuma Kani
Ekanisa ekyuuse eyamabala bubi nyo
Tekyaafa ku musaayi gwe
Musaayi gwegwatunaaza
Gwegwatununula twali bakufa
Tuli munkitwaala
Bwotakimpa nyiize
Tudde kumusaayi gwe
Nze ngamba gwatunaaza
Musaayi gwegwatununula
Twali bakufa
Mukama tumufudde bank gyetutereka ensimbi zaffe
Kati bwoba gwe owulira otya?
Twamufuula askari yakuuma ewaffe
Ekanisa eserera
Tumufudde kuuma ka sente tuyitayo mubuzibu
(egwerayo)
Ye Kani kiruma
Omuwala takyanjagala
Ngamba twenenye
Twafuuka bamalaaya tusooka kusasulwa
Ne Sitaani atwewuunya
Buli lwatuwa ebirungi netusinza erinya lye (eh)
Werabira otya eyakutaasa? (eh)
Bwatatuwa sente awo we wali obuzibu ye Kani
Wadde atwagala nyo Yesu
Bwetakyuuse atuleka
Twenenye tunaaze engoye zaffe
Bwetutakyuuse atuleka
Bakulu twenenye eh
Bwetutakyuuse atuleka
Eeh
Eh yi yeh
omuwala takyanjagala
Ye Kani
uhm uhm wuuhm
Share: Kani lyrics by Pr. Wilson Bugembe
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.