Kamala Byona Lyrics by Maureen Nantume

Verse I
Mazima omuntu akeela eyo musuulwe,
ayingile ekibuga anoonye akawogo
Kuba eno ensi yamukweka esente,
ela kyava azinoonya nga omukono tassa
Ebewuwe aleka munyumba,
ayingire empeewo,
Akeela mbunyonyi mumawugulu afune eddiba
Nga obulamu bwe nusu,
akimanyi yemala ennaku
Stress nezimukuba yena nakulubuka
Bagelaaa atalina sente tagya mu bantu,
nemunkiiko tateesa nsonga…..
Nebelabira kamala byona
Ali omu Katonda akira sente

Chorus
Oli kamala wensonga ggwe ateesa
Notukiriza abalala balimba
Oli kamala byona tokyuuka,
Oli kamala w’ensonga munange
Ebyensi makoola na mpewo,
Yegwe asooka, gwe asemba kuluggi
Ebyensi biyugula tama,
Naye nga temuli temuli temuli bulamu
Oli nkonge kwenasiba olukoba,
Eno gyentuuse wandaga omukono

Verse II
Eno ensi tukungula nkuba,
Tunoga ko makoola netulya
Singa tukimanyi waatali Katonda
Ebitwewanisa malya ga mere
Naye nga onzilikilaki omutima,
Nga ate siigwe eyetonda
Manya obulamu businga eganduula
lya kabaka mbilombe bya sente
Tunulira ebinyonyi mubanga
Tebisiga mere naye bilya bilimba,
Kati gwe asinga wakasanke,
Okaaba ki dala okufanana amayuba
Olaba yayambazaa amalanga,
Enyonyi tezibulwa ebisu byazoo
Bwatyo bwakuwambatira
Liziki yamukama kimanye tegulwa maziga

Chorus
Oli kamala wensonga ggwe ateesa
Notukiriza abalala balimba
Oli kamala byona tokyuuka,
Oli kamala w’ensonga munange
Ebyensi makoola na mpewo,
Yegwe asooka, gwe asemba kuluggi
Ebyensi biyugula tama,
Naye nga temuli temuli temuli bulamu
Oli nkonge kwenasiba olukoba,
Eno gyentuuse wandaga omukono

Verse III
Mu’ggulu ewatali nnyenjje,
Ebyo byokolerela kweka eyo…
Kyanaku okukola noteweeza
Nga byokungula mpawo
For I know you’re hurting
And your soul is wailing
But you God is waiting yimusa amaaso
Sonda sonda amaanyi
Samba samba ennyike
Tewerabila kamala byona
Ali omu Katonda akila esente

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *