Kabisi Ku Ndagala by David LutaloKabisi Ku Ndagala by David Lutalo

Kabisi Ka Ndagala Lyrics by David Lutalo
Intro
Ohoooo wuuuuu.
Baby girl , eheee
Davie Lutalo.

Verse 1
Kabisi ka ndagala, konna tukanywa kawoomerera .
Honey manya ekibi nze bwenjagala, nookukola kulema ndebera
Bwenkulaba nga ndaluka, nga byonna byensiba biwandagala
Omukwankogwo ddala ddagala, nookulya olumu emmere ssiyoya
Alina omumwa ayogera, nze bwova wendi baby ndaluka
Yadde nga beekaniikirira
Teri akusinga honey ntunula
eheeeee
baby girl , wabula nkwagala ebyaddala haloooo
pretty girl , ye nga nalyoka nenva mu kyalo
eheeeeee
katinno konkutte tonta .
buli wamu wenninnya wookya
njagala kubeera nga wooba
ggw’angabira love empeweeza

Chorus
tolekera bikole bwotyo
sinnasanga bwezigoolo
Eyali amanyi byonna birooto.
nawona endwadde z’okumwoyo
Nze kanzikalire mu lyato.
ndi mugumu alibonga bwongo.

Verse Two
oba bayagala bakolime .
ffe omukwano gwaffe guli mu bire .
ekinugu kibapika batulike .
whuuuuu
bayagala kusanga bisibe .
nga tebamanyi na kumanya gyebiyise
temutuwabula kati mutuleke
ohoo no no no noooo
Ansundira bbongo
love ye entakula mbwongo
omukwano nange mmuwa kkonko
ndi wano nneesunga bu toto
Yalungiwa Akira akaliba k’emmondo
nze yanfuula na zzonto
tuba Waka nga twenzannyira tteppo
ng’ampuusa ku ssupu w’empombo
mheeeee
Nkwagala bwotyo ng’otibula
ng’okola byejo.
Ebibala by’omukwano nga nnyongera kkungula .
ng’okola bwotyo .

Chorus
tolekera bikole bwotyo
sinnasanga bwezigoolo
Eyali amanyi byonna birooto
nawona endwadde z’okumwoyo
Nze kanzikalire mu lyato
ndi mugumu alibonga bwongo

Verse Three
Namatira onsobola
N’omutima gubuguumirira
Love yo mazima teguba
wakola ki okuntamya abalala
Nkizudde bwotapapa
ofuna birungi olya ku mpogola
Beera ng’onjagala …..
Ensulo z’omukwano nga ngogola
Baby ssirikyuka …
Nkijjira ddala munze Munda
Ababi emitwe bazimbya
Lubeerera tuli wamu balimba

bazungana nga mpewo
Bamanye , balemesezza njolo
eheeee
bataga nga nkoko.
ffe tubakutule ebiwawaatiro.
Chorus
umhuuuu nananana
umhuuuu nananana

Video Visuals By NG Films
Song Produced By Yaled Pro

Read Am in Love Lyrics – David Lutalo ft. Shakira Shakiraa
Hellena Lyrics by Radio And Weasel Ft. David Lutalo
Ensi Lyrics by David Lutalo

Share Kabisi Ka Ndagala Lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.