Obulungi bwo ssebo
Jim wange
K’onzigye ewaffe
Nze Jane sikyaddayo
Olwaleero kankubuulire
Ekyama kyange
Gwe gwe nasiima
Anaakuumanga obulamu bwange
Bonna abaali bakwesunga
Bambi abo nze mbasaasidde
Ebibyo babiwummule
Tebandaba nti nze nkwekutte
Sekako mwattu
Ku kaseko kange
Ebibyo by’ebyange
Wenna nze nkweyagalira

Awo
Kyekyo
Byebyo
Era yenze

Olowooza otya ku maka gaffe?
Tukole tutya okubeera omu?
Tusonyiwagane nga mu nsobi zaffe
Tusabenga nnyo Katonda waffe
Olugambo butwa olwo lwewalenga
Emikwano gipime kinaatuyamba
Essente mukisa zijja ne ziddayo
Nkuba nkukube obwo si bufumbo

Awo
Kyekyo
Byebyo
Era yenze

Weewalenga nnyo
Okuyingira ekiro
Ensonga z’awaka
Zibe nga za mu nju mwokka
Bwobanga onyiize
Jim tokuba
Ndi mwana wa mu bantu
Jjukira gye wanzigya
Toyombanga mu bantu
Kuuma ekitiibwa kyo
Bwenkanya bwokka
Na mazima bye nnoonya
Nze ndaba byebyo
Okukuuma obufumbo bwaffe

Jim olowooza otya ku maka gaffe?
Tukole tutya okubeera omu?
Tusonyiwagane nga mu nsobi zaffe
Tusabenga nnyo Katonda waffe
Olugambo butwa olwo lwewalenga
Emikwano gipime ginaatuyamba
Essente mukisa zijja ne ziddayo
Nkuba nkukube obwo si bufumbo

Jane nze wuwo (yenze)
Oba bafa bafe (awo)
Gwe w’abaana bange
Bwe bulamu bwange (kyekyo)

Repeat to fade

See: Afrigo Band – Yantamiiza Lyrics

Share: Jim Lyrics by Afrigo Band

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.