Iryn Namubiru

Verse 1
Mwami, mwami mwami… mwami…
Mbadde ndi awo nelalikirira
Nga manyi ebyange biserengerera
Nendowooza nti oba nina, okukyusa kubyokulya
Nendya buli kimu nga wa, ko nze bino no byagala ddagala
Omubiri gwange gwona, nga kukoze gunzigwako
Nenumba Mulago mu b’omusaayi bwoba gw’olowooza kyi
Omusawo nangamba nin’ekiwundu
Ekiwundu ekitetagisa okutunga
Nangamba kiri ku mutima
Ate nga kiva ku bwongo, ko ye bambi oyinza nokufa
Kukyendabye naye nno…

Ebyo birowoozo, birowoozo by’ono eyagenda natadda
Birowoozo, bindi bubi era simanyi ob’alidda
Birowoozo, birowoozo by’ono eyagenda natadda
Birowoozo, bindi bubi era simanyi oba alidda

Chorus
Bino birowoozo, birowoozo eby’oyo ayagenda natadda
Birowoozo, bindi bubi ela simanyi ob’alidda
Birowoozo, birowoozo by’ono eyagenda natadda
Birowoozo, bindi bubi era simanyi oba alidda

Verse 2
Omutima gunuma nentuula nendowooza nti oba gwe mulwadde
Bwempita mu kubo nabamu basembelayo anti ning’omuzoole
Naye wagenda wa, oba wagenda wa mwami wange… mwami wange
Okukomba kungulu, silikiddamu, kyenakola
Kubanga binuma binuma binuma, bindi bubi…

Chorus
Bino birowoozo, birowoozo eby’oyo ayagenda natadda
Birowoozo, bindi bubi era simanyi ob’alidda
Birowoozo, birowoozo by’ono eyagenda natadda
Birowoozo, bindi bubi era simanyi oba alidda

Verse 3
Mwami, mwami mwami…
Mwami mwami tonumy’obwongo
Mwami wange tonumy’obwongo…
Mwami, mwami mwami…
Mwami, mwami mwami…
Kati sagala munyiize, sagala mukabye, sagala muswaze
Sagala munyiize, bwoba ng’omusanze, mugambe nagonze
Kubanga gunuma… omutima gunuma…
Omutwe gunuma… n’egyendya tewooma…
Mugambe mulinze, ewange mulinze…

Chorus
Bino birowoozo, birowoozo by’oyo ayagenda natadda
Birowoozo, bindi bubi era simanyi ob’alidda
Bino birowoozo, birowoozo by’ono eyagenda natadda
Birowoozo, bindi bubi era simanyi oba alidda

Submit lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.