Gwe Byonna Lyrics by Joseph Ngoma

Oh naye Mukama
Kale oba singa nali malayika
Nandibuusenga ne nzija eyo gy’oli
Ne nkuwa ku bye nina
Naye era mmanyi Mukama
Kabaka ssebo
Gwe nga bw’okebera emitima
Ekyo nakyo okimanyi
Mazima omuntu omulungi
Ataleka abayi mu muliro nze oba nkuwe ki?
Omuntu omulungi atakuleka
Ne bwoba magombe ye Mukama
Ye ani alina obuvumu oh oh?
Nga gwe ssebo
Ayimirira n’abantu bo
Ne bwe baba nga bali mu katyabaga
Ne bwaba taata k’abe maama
Empologoma ng’ebagobye
Adduka emisinde n’akulekawo awo
Awonye obulamu
Kale sirirekayo kuyimba
Ku linnya lyo Mukama
Gwe atakyuka ekiseera kyonna
Obeerawo n’eno ku zero gye tusooka

Gwe byonna mu byonna
Olina byonna ensi bye yetaaga
Endwadde ezaalumanga
Wafuuka musawo asinga
Abayala bakkuta dda
Yeggwe mmere ensi gye yetaaga
Obwavu bwadduka nabwo
Buli mulamu ensi gwe yetaaga
Abataalina mikwano ku nsi
Wafuuka mukwano gwabwe
Abataalina bazadde ku nsi
Wafuuka muzadde asinga x 2

Eno ensi erimu ebibuuzo
Naye Mukama ayanukudde abantu
N’aba siriimu mbalabyeko nga bawona
Era mu Mukama
Okwagala okukwe Mukama
Tekusosola mu mawanga
Kukimye n’ababadde eyo kasasiro
Ne kubafuula ab’omuwendo
Teyeerabira taata yadde omaze ebbanga
Mu maziga
Yajjukira Lazaalo
N’amuwonya amagombe naawe akumanyi
Tatwagala lwa ndabika ze tulabika
Oba lwa ssente
Kabaka Dawudi yamuggya mu kiraalo
Gwe linda Mukama
Akyusa bootasuubira, n’abaggyamu ekiramu
Oyo Mukama
Sitaani be yali yawamba nga balinga Saul
Abaggyako obuzibe
Kale sirirekayo kutenda
Linnya lyo Mukama
Gwe ajjulula ensozi mu buyinza bwo Kabaka
Ate nazo nezitamanya

Gwe byonna mu byonna (gwe byonna)
Olina byonna ensi bye yetaaga (ssebo taata)
Endwadde ezaalumanga (oooh)
Wafuuka musawo asinga (eeeh, Yesu)
Abayala bakkuta dda (oh, oh, oh)
Yeggwe mmere ensi gye yetaaga (weebale)
Obwavu bwadduka nabwo (bwadduka nabwo)
Buli mulamu ensi gwe yetaaga (hmmm)
Abataalina mikwano ku nsi (tetwalina mikwano)
Wafuuka mukwano gwabwe (oh Yesu)
Abataalina bazadde ku nsi (mazima Yesu)
Wafuuka muzadde asinga (oh, oh, oh)
Gwe byonna mu byonna (gwe byonna taata)
Olina byonna ensi bye yetaaga (olina byonna)
Endwadde ezaalumanga (ssebo wange)
Wafuuka musawo asinga (mazima osaanidde)
Abayala bakkuta dda (bakkuta dda kati)
Yeggwe mmere ensi gye yetaaga (tukgyetaaga)
Obwavu bwadduka nabwo (mukwano)
Buli mulamu ensi gwe yetaaga (eeh Yesu)
Abataalina mikwano ku nsi (tetwalina twafuna)
Wafuuka mukwano gwabwe (ooh)
Abataalina bazadde ku nsi (hmmm)
Wafuuka muzadde asinga

Read Nze Tombuulira Mulala Lyrics by Joseph Ngoma

Share Gwe Byonna Lyrics by Joseph Ngoma

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.